Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 5-6

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
    olowooze ku kunyolwa kwange.
(A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
    Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
    kubanga ggwe gwe nsaba.

(B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
    buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
    ne nnindirira onziremu.
(C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
    n’ebitasaana tobigumiikiriza.
(D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
    kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
(E)Abalimba bonna obazikiriza;
    Mukama akyawa abatemu
    era n’abalimba.
(F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
    nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
    n’okutya okungi.

(G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
    olw’abalabe bange,
    ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
(H)Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;
    emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.
Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:
    akamwa kaabwe koogera bya bulimba.
10 (I)Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;
    baleke bagwe mu mitego gyabwe.
Bagobe
    kubanga baakujeemera.
11 (J)Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;
    ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,
obakuumenga,
    abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.

12 (K)Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;
    era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.

Eri Omukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(L)Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;
    so tombonereza mu kiruyi kyo.
(M)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.
    Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.
(N)Emmeeme yange ejjudde ennaku.
    Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

(O)Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;
    omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.
(P)Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.
    Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

(Q)Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.

Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange
    n’omutto ne gutoba.
(R)Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,
    tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

(S)Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;
    kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.
(T)Mukama awulidde okwegayirira kwange,
    n’okusaba kwange akukkirizza.
10 (U)Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;
    bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.

Zabbuli 10-11

10 (A)Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
    Lwaki otwekwese mu biseera eby’emitawaana?

Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
    muleke agwe mu nkwe ezo z’asaze.
(B)Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
    agabula aboomululu n’avuma Mukama.
(C)Omubi mu malala ge
    tanoonya Katonda.
Buli ky’akola kimugendera bulungi.
    Amateeka go tagafaako,
    era n’abalabe be abanyooma.
(D)Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
    nzija kusanyuka emirembe gyonna.”

(E)Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
    ebigambo bye bya mutawaana era bibi.
(F)Yeekukuma mu byalo
    okutemula abantu abataliiko musango.
    Yeekweka ng’aliimisa b’anatta.
(G)Asooba mu kyama ng’empologoma,
    ng’alindirira okuzinduukiriza abateesobola.
    Abakwasa n’abatwalira mu kitimba kye.
10 B’abonyaabonya bagwa wansi
    ne babetentebwa ng’amaanyi g’omubi gabasukkiridde.
11 (H)Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
    era takyaddayo kubiraba.”

12 (I)Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
    abanaku tobeerabiranga.
13 Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
    n’agamba mu mutima gwe nti
    “Sigenda kwennyonnyolako?”
14 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
    era ojja kubikolako.
Ateesobola yeewaayo mu mikono gyo,
    kubanga gwe mubeezi w’abatalina bakitaabwe.
15 (K)Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
    muyite abyogere ebyo
    ebibadde bitajja kuzuulwa.

16 (L)Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe.
    Amawanga galizikirizibwa mu nsi ye.
17 (M)Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe;
    otege okutu kwo obaanukule.
18 (N)Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa;
    omuntu obuntu ow’oku nsi n’ataddayo kubatiisa.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

11 (O)Mu Mukama mwe neekweka;
    ate muyinza mutya okuŋŋamba nti,
    “Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
(P)Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe
    egy’obusaale,
balase abalina omutima
    omulongoofu.
(Q)Emisingi nga gizikirizibwa,
    omutuukirivu ayinza kukola ki?”

(R)Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu;
    Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu.
Amaaso ge gatunuulira
    era geetegereza abaana b’abantu.
(S)Mukama akebera abatuukirivu
    naye omutima gwe gukyawa ababi,
    n’abakola eby’obukambwe.
(T)Ababi alibayiwako
    amanda ag’omuliro;
    n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.

(U)Kubanga Mukama mutuukirivu
    era ayagala eby’obutuukirivu;
    abo abalongoofu be balimulaba.

Yona 1

Yona Ajeemera Katonda

(A)Awo Mukama n’ayogera ne Yona omwana wa Amittayi ng’agamba (B)nti, “Situka ogende e Nineeve mu kibuga ekyo ekinene obatuuseeko obubaka buno obubanenya, kubanga ebibi byabwe birinnye eno waggulu ne bintukako.”

(C)Naye Yona n’adduka okuva mu maaso ga Mukama, n’aserengeta okulaga e Talusiisi. N’aserengeta e Yopa gye yasanga ekyombo, n’akirinnya okugenda e Talusiisi. Ng’amaze okusasulira etikiti ye, n’asaabala mu kyombo ekiraga e Talusiisi ng’adduka okuva mu maaso ga Mukama.

(D)Awo Mukama n’aleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’ekyombo Yona mwe yali ne kyagala okusaanawo. (E)Entiisa ey’amaanyi n’ekwata abalunnyanja bonna, buli omu n’akaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula n’emigugu egy’ebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo.

Mu kiseera ekyo, Yona yali mu tulo wansi mu ntobo y’ekyombo. (F)Naye omugoba omukulu ow’ekyombo n’aserengeta gye yali n’amugamba nti, “Oyinza otya okuba nga weebase? Situka okaabirire katonda wo, oboolyawo anaatukwatirwa ekisa n’atulokola.”

(G)Awo abalunnyanja ne boogeraganya nti, “Mujje tukube obululu, tuvumbule omuntu yennyini avuddeko omutawaana guno.” Ne bakuba obululu, akalulu ne kagwa ku Yona.

Abalunnyanja ne babuuza Yona nti, “Tubuulire, lwaki otuleetedde akabi akafaanana bwe kati, kiki ky’okoze? Okola mulimu ki? Ova wa era oli wa nsi ki, n’abantu bo be b’ani?”

(H)Yona n’agamba nti, “Ndi Mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda w’eggulu eyakola eggulu n’ensi.”

10 Awo ne batya nnyo ne babuuza nti, “Kiki kino ky’otukoze?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka mu maaso ga Katonda nga bwe yali amaze okubategeeza.

11 Awo ne bamugamba nti, “Tukukole tutya ennyanja erongooke?” Kubanga ennyanja yali yeeyongera bweyongezi okufuukuuka.

12 (I)N’abagamba nti, “Munsitule munsuule mu nnyanja ennyanja eneeteeka, kubanga esiikuuse ku lwange.”

13 (J)Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale, kyokka ne batayinza, kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi. 14 (K)Kyebaava bakaabirira Mukama ng’abagamba nti, “Tukwegayiridde Ayi Mukama, totuleka kufa olw’obulamu bw’omusajja ono, era totuteekako musango olw’omusaayi gwe n’okufa kwe, kubanga oleese omuyaga olw’esonga.” 15 (L)Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja eyali eyira. Amangwago omuyaga ne gusirika. 16 (M)Abasajja ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ekiweebwayo gy’ali ne beeyama obweyamo.

17 (N)Mukama yateekateeka ekyennyanja ekinene ennyo ne kimira Yona; Yona n’amala mu kyennyanja ekyo ennaku ssatu emisana n’ekiro.

Ebikolwa by’Abatume 26:24-27:8

24 (A)Awo Pawulo bwe yali akyawoza Fesuto n’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Pawulo, olaluse! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!”

25 (B)Pawulo n’addamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima. 26 (C)Era ebintu bino Kabaka Agulipa abitegeera, noolwekyo nnyinza okubimubuulira nga seekomoma. Era nkakasa nga tewali na kimu ku bintu bino ky’ataamanya, kubanga tebyakolerwa mu nkiso! 27 Kabaka Agulipa, bannabbi obakkiriza? Mmanyi ng’obakkiriza.”

28 (D)Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Onsendasenda nfuuke Omukristaayo mu kaseera kano akatono bwe kati?” 29 (E)Pawulo n’addamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”

30 (F)Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, n’abalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma. 31 (G)Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina ky’akoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.”

32 (H)Agulipa kwe kugamba Fesuto nti, “Omusajja ono yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaali.”

Pawulo Agenda e Ruumi

27 (I)Awo bwe kyasalibwawo tusaabale ku nnyanja tugende mu Italiya, Pawulo n’abasibe abalala ne bakwasibwa omuserikale omukulu w’ekitongole ky’abaserikale ekikumi, erinnya lye Yuliyo, eyali ow’omu kibinja kya Kayisaali Agusito. (J)Ekyombo eky’e Adulamutiyo ekyali kinaatera okuseeyeya ku lubalama lwa Asiya; ne tusitula nga ne Alisutaluuko Omumakedoni ow’e Sessaloniika ali naffe.

(K)Ku lunaku olwaddirira ne tugoba ku mwalo gw’e Sidoni, Yuliyo n’akolera Pawulo eky’ekisa n’amukkiriza n’agenda ku lukalu eri mikwano gye ne bamusembeza. (L)Bwe twasitula, empewo n’etufuluma mu maaso, ne tusaabala ne tuyita ku mabbali ga Kupulo. (M)Bwe twamala okuva mu nnyanja wakati ne tuyita ku lubalama lwa Kirukiya ne Panfuliya, ne tugoba ku mwalo Mula ogw’e Lukiya. (N)Eyo omukulu w’ekitongole n’alabawo ekyombo ekyali kiva mu Alegezanderiya nga kiraga mu Italiya, n’atusaabaza omwo. (O)Twamala ennaku nnyingi ng’ennyanja yeefuukudde, nga tugenda mpola, ne tusemberera olubalama lw’e Kunido mu buzibu bungi naye ne tuteeyongerayo mu maaso ng’omuyaga gutuyitiridde, ne tusala ne tugenda ku luuyi olumu olwa Kuleete nga tuva ku mwalo gwa Salumone. Ne tusaabala mu buzibu bungi ne tuyita ku lubalama okumpi n’ekifo ekiyitibwa Emyalo Emirungi ekiriraanye ekibuga Laseya.

Lukka 8:40-56

Muwala wa Yayiro n’Omukazi Omulwadde

40 Yesu bwe yakomawo ekibiina ky’abantu ne bamwaniriza n’essanyu kubanga bonna baali bamulindirira. 41 (A)Mu kiseera ekyo ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulembeze w’ekkuŋŋaaniro, n’agwa ku bigere bya Yesu n’amwegayirira ajje mu maka ge, 42 kubanga muwala we omu yekka gwe yalina, eyali aweza emyaka nga kkumi n’ebiri yali afa.

Yesu n’agenda naye, naye ng’ekibiina kimunyigiriza. 43 (B)Mu kibiina ky’abantu ekyo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi n’ebiri ng’alwadde ekikulukuto ky’omusaayi. Yali atambudde nnyo mu basawo era nga bamumazeeko ebintu bye byonna ng’abasasula, naye ne watabaawo asobola kumuwonya. 44 (C)Omukazi ono n’asemberera Yesu ng’amuvaako emabega, n’akoma ku lukugiro lw’ekyambalo kya Yesu, ekikulukuto ky’omusaayi ne kiwona mu kaseera ako kennyini!

45 (D)Yesu n’abuuza nti, “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana, naye Peetero n’agamba nti, “Mukama waffe, ekibiina ky’abantu kinene abakwetoolodde era abantu bangi bakunyigiriza.” 46 (E)Naye Yesu n’addamu nti, “Waliwo ankutteko kubanga mpulidde ng’amaanyi ganvaamu.” 47 Awo omukazi bwe yategeera ng’avumbuddwa, n’ajja ng’akankana n’agwa awo mu maaso ga Yesu, n’annyonnyola mu maaso g’abantu bonna ensonga kyeyavudde amukwatako, era nti n’obulwadde bwe bwawoneddewo!

48 (F)Yesu n’agamba omukazi nti, “Muwala wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe.” 49 (G)Awo Yesu bwe yali ng’akyayogera omuntu n’atuuka ng’ava mu maka g’omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’agamba Yayiro nti, “Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya.”

50 Naye Yesu bwe yakiwulira n’amugamba nti, “Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu.”

51 (H)Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, n’atakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe w’omwana, ne nnyina. 52 (I)Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu n’abagamba nti, “Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!”

53 Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ng’omuwala afudde. 54 (J)Naye Yesu n’akwata omuwala eyali afudde ku mukono, n’akoowoola ng’agamba nti, “Mwana wange, golokoka!” 55 Amangwago n’aba mulamu, n’asituka n’ayimirira. Yesu n’abalagira bamuwe ekyokulya. 56 (K)Bazadde b’omuwala ne beewuunya, naye Yesu n’abakuutira obutabuulirako muntu yenna ebibaddewo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.