Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 105

105 (A)Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye;
    amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
(B)Mumuyimbire, mumutendereze;
    muyimbe ku byamagero bye.
Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza;
    emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
(C)Munoonye Mukama n’amaanyi ge;
    mumunoonyenga ennaku zonna.

(D)Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola,
    ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
(E)mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be
    mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
Ye Mukama Katonda waffe;
    ye alamula mu nsi yonna.

(F)Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna,
    kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
(G)ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu,
    era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 (H)Yakikakasa Yakobo ng’etteeka,
    n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 (I)“Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani
    okuba omugabo gwo.”

12 (J)Bwe baali bakyali batono,
    nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala,
    ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 (K)Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi;
    n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 (L)“Abalonde bange,
    ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”

16 (M)Yaleeta enjala mu nsi,
    emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 (N)N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso,
    ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 (O)ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya,
    obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 (P)okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira,
    okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 (Q)Kabaka n’atuma ne bamusumulula;
    omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge,
    n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 (R)okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga,
    n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.

23 (S)Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri;
    Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 (T)Mukama n’ayaza nnyo abantu be;
    ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 (U)n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be,
    ne basalira abaweereza be enkwe.
26 (V)Yatuma abaweereza be Musa
    ne Alooni, be yalonda.
27 (W)Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo;
    ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 (X)Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata,
    kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 (Y)Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi,
    ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 (Z)Ensi yaabwe yajjula ebikere,
    ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 (AA)Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja,
    n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 (AB)Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira;
    eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 (AC)Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu,
    n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 (AD)Yalagira, enzige ne zijja
    ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe,
    na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 (AE)N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe,
    nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 (AF)Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu;
    era bonna baali ba maanyi.
38 (AG)Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze,
    kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 (AH)Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka,
    n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 (AI)Baamusaba, n’abaweereza enkwale
    era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 (AJ)Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika,
    ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.

42 (AK)Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu
    kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 (AL)Abantu be yabaggyayo nga bajaguza,
    abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 (AM)Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala,
    ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 (AN)balyoke bakwatenga amateeka ge,
    era bagonderenga ebiragiro bye.

Mumutendereze Mukama.

Koseya 5:8-6:6

(A)Mufuuwe eŋŋombe mu Gibea,
    n’ekkondeere mu Laama.
Muyimuse amaloboozi e Besaveni;
    mutukulembere mmwe Benyamini.
(B)Efulayimu alifuuka matongo
    ku lunaku olw’okubonerezebwa.
Nnangirira ebiribaawo
    mu bika bya Isirayiri.
10 (C)Abakulembeze ba Yuda bali ng’abo
    abajjulula ensalo,
era ndibafukako obusungu bwange
    ng’omujjuzo gw’amazzi.
11 (D)Efulayimu anyigirizibwa,
    era omusango gumumezze,
    kubanga yamalirira okugoberera bakatonda abalala.
12 (E)Kyenvudde nfuuka ng’ennyenje eri Efulayimu,
    n’eri ennyumba ya Yuda n’emba ng’ekintu ekivundu.

13 (F)“Efulayimu bwe yalaba obulwadde bwe,
    ne Yuda n’alaba ekivundu kye,
Efulayimu n’addukira mu Bwasuli,
    n’atumya obuyambi okuva eri kabaka waayo omukulu.
Naye tasobola kubawonya
    newaakubadde okubajjanjaba ebiwundu byabwe.
14 (G)Kyendiva mbeera ng’empologoma eri Efulayimu,
    era ng’empologoma ey’amaanyi eri ennyumba ya Yuda.
Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;
    ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15 (H)Ndiddayo mu kifo kyange,
    okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.
Balinnoonya,
    mu buyinike bwabwe, balinnoonya n’omutima gwabwe gwonna.”

Obujeemu bwa Isirayiri

(I)“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
    naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
    naye ebiwundu alibinyiga.
(J)Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku
    olwokusatu alituzza buggya,
    ne tubeera balamu mu maaso ge.
(K)Tumanye Mukama;
    tunyiikire okumumanya.
Ng’enjuba bw’evaayo enkya,
    bw’atyo bw’alirabika;
alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,
    era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”

(L)Nkukolere ki, Efulayimu?
    Nkukolere ki, Yuda?
Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,
    era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.
(M)Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,
    ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,
    era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.
(N)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
    era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.

Ebikolwa by’Abatume 21:27-36

Pawulo Akwatibwa

27 (A)Awo ekiseera eky’ennaku omusanvu bwe kyali kiri kumpi okuggwaako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya ne balaba Pawulo mu Yeekaalu, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bakwata Pawulo 28 (B)nga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ng’ayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ng’agireetamu Abayonaani.” 29 (C)Kubanga baamulabako ng’atambula mu kibuga ne Tulofiimo, eyava mu Efeso, ne balowooza nti Pawulo yamutwala ne mu Yeekaalu.

30 (D)Ekibuga kyonna ne kijagalala olw’okuwulira ebigambo ebyo, era abantu ne bajja nga badduka okuva mu buli nsonda y’ekibuga. Ne bakwata Pawulo ne bamufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi. 31 Naye bwe baayagala okumutta, amawulire ne gatuuka ku mukulu w’ekitongole ky’abaserikale Abaruumi nti Yerusaalemi kiguddemu akeegugungo. 32 (E)Amangwago n’asindika abaserikale n’abaduumizi baabwe, ne badduka okugenda eri ekibiina ky’abantu. Awo bwe baalaba omuduumizi n’abaserikale nga bajja, ne balekeraawo okukuba Pawulo.

33 (F)Awo omukulu w’abaserikale n’akwata Pawulo n’alagira asibibwe mu njegere bbiri, n’alyoka abuuza nti, “Y’ani, era akoze ki?” 34 (G)Ne bamuddamu nga baleekaana, ng’abamu bamugamba kino n’abalala nga bagamba kiri. N’alemwa okubaako ekiramu ky’aggyamu olw’okuleekaana okungi. Kyeyava alagira batwale Pawulo mu nkambi y’abaserikale. 35 (H)Bwe yamutuusa ku madaala, ekibiina ky’abantu ne bayitirira obukambwe, abaserikale ne basitula Pawulo. 36 (I)Ekibiina ky’abantu abaali bagoberera ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mumutte!”

Lukka 6:1-11

Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti

(A)Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu n’abayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba by’emmere ey’empeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya. (B)Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”

(C)Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma n’abo be yali nabo? (D)Yayingira mu nnyumba ya Katonda, n’addira emigaati egy’okulaga, n’atoola n’alyako, n’awaako ne be yali nabo ne balya so ng’ekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.” (E)N’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.”

Yesu Awonya Omusajja ow’Omukono Ogukaze

(F)Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ng’ayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu n’omusajja eyalina omukono ogukaze. (G)Abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko n’ekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango. (H)Naye Yesu n’ategeera ebirowoozo byabwe. N’agamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” N’asituka n’ayimirira.

Yesu n’alyoka agamba Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”

10 N’abeetoolooza amaaso kinnoomu, n’alyoka agamba omusajja nti, “Golola omukono gwo.” Omusajja n’agolola omukono gwe ne guwona. 11 (I)Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.