Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 78

Oluyimba lwa Asafu.

78 (A)Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange,
    musseeyo omwoyo ku bye njogera.
(B)Ndyogerera mu ngero,
    njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda,
(C)ebintu bye twawulira ne tumanya;
    ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza.
(D)Tetuubikisenga baana baabwe,
    naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo
ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo,
    n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola.
(E)Yawa Yakobo ebiragiro,
    n’ateeka amateeka mu Isirayiri;
n’alagira bajjajjaffe
    babiyigirizenga abaana baabwe,
(F)ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye,
    n’abaana abalizaalibwa,
    nabo babiyigirize abaana baabwe,
(G)balyoke beesigenga Katonda,
    era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola;
    naye bagonderenga ebiragiro bye.
(H)Baleme okuba nga bajjajjaabwe,
    omulembe ogw’abakakanyavu
era abajeemu abatali bawulize,
    ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda.

(I)Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa,
    naye ne badduka mu lutalo,
10 (J)tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda;
    ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama.
11 (K)Beerabira ebyo bye yakola,
    n’ebyamagero bye yabalaga.
12 (L)Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali
    mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani.
13 (M)Ennyanja yajaawulamu,
    amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge.
14 (N)Emisana yabakulemberanga n’ekire,
    n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro.
15 (O)Yayasa enjazi mu ddungu,
    n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja.
16 Yaggya ensulo mu lwazi,
    n’akulukusa amazzi ng’emigga.

17 (P)Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona,
    ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu.
18 (Q)Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu,
    nga bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19 (R)Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti,
    “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu?
20 (S)Weewaawo yakuba olwazi,
    amazzi ne gakulukuta ng’emigga;
naye anaatuwa emmere?
    Anaawa abantu be ennyama?”
21 (T)Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo;
    omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo,
    n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri.
22 (U)Kubanga tebakkiriza Katonda,
    era tebeesiga maanyi ge agalokola.
23 (V)Naye era n’alagira eggulu;
    n’aggulawo enzigi z’omu ggulu.
24 (W)N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye.
    Yabawa emmere eyava mu ggulu.
25 Abantu ne balya emmere ya bamalayika;
    Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala.
26 (X)N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu,
    era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge.
27 Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu;
    n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja.
28 Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe;
    okwetooloola eweema zaabwe.
29 (Y)Awo ne balya ne bakkuta nnyo;
    kubanga yabawa kye baali bayaayaanira.
30 (Z)Naye bwe baali nga bakyalulunkana,
    nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe,
31 (AA)obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako,
    n’abattamu abasajja abasinga amaanyi;
    abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa.

32 (AB)Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona;
    newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza.
33 (AC)Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe,
    n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa.
34 (AD)Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya,
    ne beenenya ne badda gy’ali.
35 (AE)Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe;
    era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe.
36 (AF)Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe,
    nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe,
37 (AG)so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe,
    era nga tebatuukiriza ndagaano ye.
38 (AH)Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
    n’abasonyiwanga,
    n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
    n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 (AI)Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
    ng’empewo egenda n’etedda!

40 (AJ)Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
    ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 (AK)Ne baddamu ne bakema Katonda,
    ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe;
    wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
    n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 (AL)yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
    ne batanywa mazzi gaagyo.
45 (AM)Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
    n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 (AN)Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
    ne bulusejjera.
47 (AO)Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
    era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 (AP)Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
    n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 (AQ)Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
    n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
    N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe,
    n’atabasonyiwa kufa,
    n’abasindikira kawumpuli.
51 (AR)Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
    nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 (AS)N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
    n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 (AT)N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
    ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 (AU)N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
    ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 (AV)Yagobamu amawanga nga balaba,
    n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
    n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda;
    ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
    ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 (AW)Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
    ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 (AX)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
    ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (AY)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (AZ)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
    eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (BA)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
    n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
    n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (BB)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
    ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (BC)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

65 (BD)Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
    ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 (BE)N’akuba abalabe be ne badduka;
    n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
    n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 (BF)naye n’alonda ekika kya Yuda,
    lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
    ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 (BG)Yalonda Dawudi omuweereza we;
    n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (BH)Ave mu kuliisa endiga,
    naye alundenga Yakobo, be bantu be,
    era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 (BI)N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
    n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.

Eseza 5

Eseza Yeegayirira Kabaka

(A)Awo ku lunaku olwokusatu, Kabaka yali atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu kisenge ekinene ekyolekera omulyango, Eseza n’ayambala ebyambalo bye ebyobwannabagereka, n’ayimirira mu luggya olw’omunda olwokubiri okwolekera ekisenge ekyo ekinene. (B)Kabaka bwe yalengera Nnabagereka Eseza ng’ayimiridde mu luggya, n’aganja mu maaso ge era n’amugololera omuggo ogwa zaabu ogwali mu mukono gwe. Awo Eseza n’asembera n’akoma ku musa gw’omuggo.

(C)Kabaka n’alyoka amubuuza nti, “Oyagala ki Nnabagereka Eseza? Era kiki ky’osaba? Onookiweebwa ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka.”

Awo Eseza n’addamu nti, “Kabaka bw’anaasiima, ajje ne Kamani leero ku mbaga gye nfumbidde Kabaka.”

Amangwago Kabaka n’agamba nti, “Mwanguwe okuyita Kamani ajje tugende ku mbaga Eseza gyateeseteese.” (D)Awo bwe baali banywa wayini, Kabaka n’addamu n’abuuza Eseza nti, “Wegayirira ki era osaba ki? Kinaakuweebwa. Ne bwe kinaaba ekitundu ky’obwakabaka kinaakuweebwa.”

Eseza n’amugamba nti, “Kye negayirira era kye nsaba kye kino. (E)Obanga ŋŋanze mu maaso ga Kabaka era ng’anaasiima okuddamu okusaba kwange, n’okutuukiriza kye neegayirira, nkusaba kabaka ne Kamani mujje enkya ku mbaga gye nnaabategekera. Olwo nno, nzija kuddamu ekibuuzo kya kabaka.”

Kamani Asunguwalira Moluddekaayi

(F)Ku lunaku olwo Kamani n’afuluma nga musanyufu era ng’ajaguza mu mwoyo. Naye bwe yalaba Moluddekaayi mu wankaaki wa Kabaka, nga tayimuse wadde okulaga nti amussaamu ekitiibwa, Kamani n’asunguwalira nnyo Moluddekaayi. 10 (G)Wakati mu ebyo byonna Kamani n’azibiikiriza era n’addayo eka.

Oluvannyuma n’atumya mukyala we Zeresi ne mikwano gye, 11 (H)era n’abeewaanirako ekitiibwa n’obugagga bwe, bwe byenkana obungi, n’abaana be bwe benkana obungi, n’ebitiibwa byonna Kabaka bye yamuwa, ate ne bwe yakuzibwa okusinga abakungu ba Kabaka n’abaana be. 12 (I)“Ate si ekyo kyokka,” Kamani n’ayongerako na kino nti, “Nnabagereka Eseza teyaganyizza muntu mulala n’omu kuwerekera Kabaka ku mbaga gye yategese, wabula nze; era n’enkya ampise ŋŋende wamu ne Kabaka. 13 (J)Naye ebyo byonna tebimpa mirembe nga nkyalaba Moluddekaayi Omuyudaaya ng’atudde ku wankaaki wa Kabaka.”

14 (K)Awo mukazi we Zeresi ne mikwano gye gyonna ne bamugamba nti, “Bazimbe akalabba obuwanvu bwako, mita amakumi abiri mu ssatu, enkya bw’onooyogera ne Kabaka, Moluddekaayi anaawanikibwa okwo, kale olyoke ogende ku mbaga ne Kabaka ng’oli musanyufu.” Ekirowoozo ekyo kyasanyusa nnyo Kamani, era akalabba ne kazimbibwa.

Ebikolwa by’Abatume 18:12-28

12 (A)Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango. 13 Ne bamuwawaabira nti, “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka.” 14 Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza. 15 (B)Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo.” 16 Bw’atyo n’abagoba mu mbuga z’amateeka. 17 (C)Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.

Pulisikira ne Akula

18 (D)Pawulo n’amala mu kibuga omwo ennaku eziwerako, oluvannyuma n’asiibula abooluganda n’asaabala ku nnyanja n’agenda e Siriya, ng’atutte Pulisikira ne Akula. Naye yali tannasaabala, enviiri ze ne bazisalirako e Kenkereya olw’obweyamo bwe yali akoze. 19 (E)Bwe baatuuka mu Efeso, banne n’abaleka awo n’agenda n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro. 20 Ne bamusaba abeere nabo ennaku eziwerako, naye n’atakkiriza. 21 (F)N’abagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka n’abasuubiza nti agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bw’atyo n’asaabala ku nnyanja okuva mu Efeso. 22 (G)Pawulo bwe yagoba mu Kayisaliya, n’akyalira Ekkanisa n’oluvannyuma n’aserengeta mu Antiyokiya.

23 (H)Eyo n’amalayo ekiseera, n’asitula n’atambula n’ayitaayita mu bibuga ebiri mu bitundu bya Ggalatiya ne Fulugiya, ng’akyalira abayigirizwa bonna ng’abanyweza mu kukkiriza.

Apolo mu Efeso ne mu Kkolinso

24 (I)Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezanderiya eky’omu Misiri, n’atuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ng’amanyi nnyo Ebyawandiikibwa. 25 (J)Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga w’amaanyi mu mwoyo, era yayogeranga n’ayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ng’amanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka. 26 N’atandika okubuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi eby’Ekkubo lya Katonda.

27 (K)Awo Apolo n’ayagala okuwunguka agende mu Akaya mu Buyonaani, n’abooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize n’essanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda n’amukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa, 28 (L)kubanga yasambajja n’amaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, n’asinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti ddala Yesu ye Kristo.

Lukka 3:15-22

15 (A)Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo. 16 (B)Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu; 17 (C)n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.” 18 Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.

19 (D)Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze, 20 (E)ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.

Okubatizibwa kwa Yesu

21 (F)Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka, 22 (G)Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.