Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 70-71

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

70 (A)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
    Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.

(B)Abo abannoonya okunzita
    batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
    bagobebwe nga baswadde.
Abagamba nti, “Kasonso,”
    badduke nga bajjudde ensonyi.
Naye bonna abakunoonya
    basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    “Katonda agulumizibwenga!”

(C)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
    oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
    Ayi Mukama, tolwa!
71 (D)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
    tondeka kuswazibwa.
(E)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
    ontegere okutu ondokole.
(F)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
    ekifo eky’amaanyi;
ondokole
    kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
(G)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
    omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.

(H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
    ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
(I)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
    ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
    Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
(J)Eri abangi nafuuka;
    naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
(K)Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
    nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.

(L)Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
    Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10 (M)Kubanga abalabe bange banjogerako;
    abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11 (N)Bagamba nti, “Katonda amulese,
    ka tumugobe tumukwate,
    kubanga taliiko anaamuwonya.”
12 (O)Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
    yanguwa ojje ombeere.
13 (P)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
    abanoonya okunnumya baswale
    era banyoomebwe.

14 (Q)Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
    Era nneeyongeranga okukutenderezanga.

15 (R)Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
    nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
    wadde siyinza kubupima.
16 (S)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
    era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17 (T)Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
    n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18 (U)Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
    tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
    n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.

19 (V)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
    Ggw’okoze ebikulu,
    Ayi Katonda, ani akwenkana?
20 (W)Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
    ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
    n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21 (X)Olinnyongerako ekitiibwa
    n’oddamu okunsanyusa.

22 (Y)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
    olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
    Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 (Z)Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
    nga nkutendereza,
    nze gw’onunudde!
24 (AA)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
    obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
    otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.

Zabbuli 74

Zabbuli ya Asafu.

74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
    Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
(B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
    ekika kye wanunula okuba ababo.
    Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
    Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.

(C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
    ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
(D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
    abatema emiti mu kibira.
(E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
    era ne babissessebbula n’obubazzi.
Bookezza awatukuvu wo;
    ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
(F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
    Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.

(G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
    So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
    Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
    Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?

12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
    gw’oleeta obulokozi mu nsi.

13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
    omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
    n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
    ate n’okaza n’emigga
    egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
    ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
    ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.

18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
    n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
    so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
    kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
    era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
    n’okuleekaana okwa buli kiseera.

Yobu 28

28 “Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
    n’ekifo gye balongooseza effeeza.
(A)Ekyuma kisimibwa mu ttaka,
    n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.
(B)Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
    asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.
Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
    mu bifo eteyita bantu,
    ewala okuva abantu gye bayita.
(C)Ensi evaamu emmere,
    naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.
Safira eva mu mayinja gaayo,
    era enfuufu yaayo erimu zaabu.
Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
    wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.
Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
    tewali mpologoma yali eyiseeyo.
Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
    n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.
10 Asima ensalosalo ku njazi;
    n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.
11 Anoonya wansi mu migga,
    n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.

12 (D)“Naye amagezi gasangibwa wa?
    Okutegeera kuva wa?
13 (E)Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
    tegasangibwa mu nsi y’abalamu.
14 Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
    ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’
15 (F)Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
    wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.
16 Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
    mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.
17 (G)Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
    so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.
18 (H)Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
    omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.
19 (I)Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
    tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.

20 (J)“Kale amagezi gava ludda wa?
    N’okutegeera kubeera ludda wa?
21 Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
    era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.
22 (K)Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
    ‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’
23 (L)Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
    era ye yekka y’amanyi gye gabeera,
24 (M)kubanga alaba enkomerero y’ensi
    era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.
25 (N)Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
    n’apima n’amazzi,
26 (O)bwe yateekera enkuba etteeka
    era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,
27 olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
    n’agateekawo, n’agagezesa.
28 (P)N’agamba omuntu nti,
    ‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,
    n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”

Ebikolwa by’Abatume 16:25-40

25 (A)Awo ekiro mu ttumbi Pawulo ne Siira bwe baali nga basaba, era nga bwe bayimba n’ennyimba ez’okutendereza Katonda, nga n’abasibe abalala bawuliriza, 26 (B)amangwago ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo. Emisingi gy’ekkomera ne ginyeenyezebwa, n’enzigi z’ekkomera zonna ne zibanduka ne zeggula, era n’enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka ne zigwa eri! 27 (C)Omukuumi w’ekkomera n’azuukuka, n’alaba ng’enzigi zonna nzigule, n’alowooza nti abasibe bonna badduse, n’asowolayo ekitala kye yette! 28 Naye Pawulo n’aleekaana nti, “Teweekola kabi!”

29 Omukuumi w’ekkomera n’akankana nnyo ng’ajjudde entiisa nnyingi, n’alagira ne baleeta ettaala, n’afubutuka n’ayingira munda, n’agwa wansi mu maaso ga Pawulo ne Siira ng’akankana. 30 (D)Awo n’abafulumya, n’ababuuza nti, “Bassebo, nkole ki okulokolebwa?”

31 (E)Ne bamugamba nti, “Kkiriza Mukama waffe Yesu onoolokolebwa, ggwe n’ennyumba yo yonna.” 32 Awo ne bamubuulira Ekigambo kya Mukama waffe, ye n’ab’omu maka ge bonna. 33 (F)Mu kiseera ekyo kyennyini n’abatwala n’abanaaza ebiwundu. Era ye n’ab’omu maka ge bonna ne babatizibwa. 34 (G)Omukuumi w’ekkomera n’abatwala mu nnyumba ye, n’abawa emmere, era amaka gonna ne gajjula essanyu kubanga baali bakkirizza Katonda.

35 Awo obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale eri omukuumi w’ekkomera ne bamugamba nti, “Abasajja abo basumulule.” 36 (H)Omukuumi w’ekkomera n’ategeeza Pawulo nti, “Abalamuzi balagidde muteebwe. Noolwekyo kaakano mugende mirembe.”

37 (I)Naye Pawulo n’addamu nti, “Ekyo ffe tetukikkiriza! Baatukubidde mu lujjudde lw’abantu nga tebamaze na kutuwozesa, ne batusiba mu kkomera, ng’ate tuli Baruumi! Olwo kaakano baagala batusumulule mu kyama? Nedda! Bo bennyini be baba bajja batuggye mu kkomera!”

38 (J)Abaserikale abaatumibwa ne bazzaayo ebigambo eri abalamuzi. Naye bwe baawulira nti Pawulo ne Siira Baruumi ne batya nnyo. 39 (K)Ne bajja mu kkomera ne basaba Pawulo ne Siira bagende, ne babaggya mu kkomera ne babeegayirira babaviire mu kibuga kyabwe. 40 (L)Pawulo ne Siira bwe baava mu kkomera ne bagenda mu maka ga Ludiya, ne bongera okubuulira abooluganda ekigambo kya Katonda nga babanyweza, n’oluvannyuma ne basitula ne bagenda.

Yokaana 12:27-36

Yesu Ayogera ku Kufa kwe

27 (A)“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino. 28 (B)Kitange gulumiza erinnya lyo.”

Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.” 29 Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.” 30 (C)Yesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange. 31 (D)Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru. 32 (E)Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.” 33 (F)Ekyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.

34 (G)Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” 35 (H)Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga. 36 (I)Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.