Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
2 Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
n’agizimba ku mazzi amangi.
3 (B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
4 (C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
atasinza bakatonda abalala,
era atalayirira bwereere.
5 Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
6 (D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
Ayi Katonda wa Yakobo.
7 (E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
8 (F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
omuwanguzi mu ntalo.
9 Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
Mukama Ayinzabyonna;
oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.
Zabbuli ya Dawudi.
29 (A)Mutendereze Mukama, mmwe abaana b’ab’amaanyi.
Mutendereze Mukama n’ekitiibwa n’amaanyi.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ekitiibwa ekisaanira erinnya lye;
musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutukuvu bwe.
3 (C)Eddoboozi lya Mukama liwulirwa ku mazzi;
Katonda ow’ekitiibwa abwatuka,
n’eddoboozi lye ne liwulirwa ku mazzi amangi.
4 (D)Eddoboozi lya Mukama ly’amaanyi;
eddoboozi lya Mukama lijjudde ekitiibwa.
5 (E)Eddoboozi lya Mukama limenya emivule;
Mukama amenyaamenya emivule gya Lebanooni.
6 (F)Aleetera Lebanooni okubuukabuuka ng’akayana,
ne Siriyooni[a] ng’ennyana y’embogo.
7 Eddoboozi lya Mukama
libwatukira mu kumyansa.
8 (G)Eddoboozi lya Mukama likankanya eddungu;
Mukama akankanya eddungu lya Kadesi.
9 (H)Eddoboozi lya Mukama linyoolanyoola emivule,
n’emiti mu bibira ne gitasigalako makoola.
Mu Yeekaalu ye, abantu bonna boogerera waggulu nti, “Ekitiibwa kibe eri Mukama!”
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (A)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (B)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (C)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (D)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (E)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (F)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (G)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
84 (A)Eweema zo nga nnungi,
Ayi Mukama ow’Eggye!
2 (B)Omwoyo gwange guyaayaana,
gwagala na kuzirika,
olw’empya za Mukama,
omutima gwange n’omubiri gwange bikoowoola Katonda omulamu.
3 (C)Weewaawo,
ne nkazaluggya yeekoledde ekisu,
n’akataayi ennyumba mwe binaakulizanga abaana baabyo
awo okumpi n’Ebyoto byo,
Ayi Mukama Ayinzabyonna, Kabaka wange, era Katonda wange.
4 Balina omukisa ababeera mu nnyumba yo,
banaakutenderezanga.
5 (D)Alina omukisa omuntu eyeesiga amaanyi go,
era assaayo omwoyo okutambulira mu makubo go.
6 (E)Bayita mu kiwonvu Baka,
ne bakifuula ekifo ky’ensulo;
n’enkuba ya ddumbi n’ejjuza ebidiba byakyo.
7 (F)Bagenda beeyongera amaanyi,
okutuusa lwe batuuka mu maaso ga Katonda mu Sayuuni.
8 Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye;
mpuliriza, Ayi Katonda wa Yakobo.
9 (G)Ayi Katonda, Engabo yaffe,
tunuulira kabaka wo n’okusaasira oyo gwe wafukako amafuta.
10 (H)Okumala olunaku olumu mu mpya zo,
kisinga okubeera emyaka olukumi mu bifo ebirala.
Njagala okuba omuggazi mu nnyumba ya Katonda wange,
okusinga okubeeranga mu weema z’abakola ebibi.
11 (I)Kubanga Mukama Katonda ye njuba yaffe era ye ngabo yaffe;
atuwa emikisa gye awamu n’ekitiibwa;
tewaliiwo kirungi na kimu ky’ataawa
abo abatambulira mu makubo ge nga tebaliiko kyakunenyezebwa.
12 (J)Ayi Mukama ow’Eggye
alina omukisa omuntu akwesiga.
Mukama Ayogera
38 (A)Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,
18 (A)Wali otegedde obugazi bw’ensi?
Byogere, oba bino byonna obimanyi.
19 “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?
N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
20 (B)Ddala, osobola okubitwala gye bibeera?
Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
21 (C)Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi,
kubanga wali wazaalibwa dda!
22 (D)“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23 (E)Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
24 Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
25 (F)Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26 (G)Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
eddungu omutali muntu yenna,
27 (H)n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
n’okulimezaako omuddo?
28 (I)Enkuba erina kitaawe waayo?
Ani azaala amatondo ag’omusulo?
29 (J)Omuzira guva mu lubuto lw’ani?
Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
30 (K)amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?
31 (L)“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32 Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
33 (M)Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?
34 (N)“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35 (O)Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36 (P)Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37 Ani alina amagezi agabala ebire?
Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
38 enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
era amafunfugu ne geegattira ddala?
Okugwa kwa Babulooni
18 (A)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina. 2 (B)N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!
Kifuuse empuku ya baddayimooni,
n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,
n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,
n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
3 (C)Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe.
Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye.
Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna
bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”
4 (D)Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti,
“ ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’
muleme kwegatta mu bibi bye,
muleme kubonerezebwa wamu naye.
5 (E)Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu,
era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.
6 (F)Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala;
mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi.
Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.
7 (G)Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya,
bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze,
kubanga ayogera mu mutima gwe nti,
‘Ntudde nga kabaka omukazi,
siri nnamwandu,
era sirina nnaku.’
8 (H)Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu,
era alizikirizibwa n’omuliro;
kubanga Mukama Katonda
amusalidde omusango.
Etteeka ly’Obutemu
21 (A)“Mwawulira ab’edda bwe baagambibwa nti, ‘Tottanga, na buli anattanga, anaawozesebwa.’ 22 (B)Naye mbagamba nti Buli alisunguwalira muganda we aliwozesebwa. Na buli anaagambanga muganda we nti, ‘Laka,’ anaatwalibwa mu lukiiko lw’abakulembeze b’Abayudaaya n’awozesebwa. Na buli anaagambanga nti, ‘Musirusiru,’ asaanidde okusuulibwa mu muliro ogwa ggeyeena.
23 “Bw’obanga oli mu maaso ga Katonda, ng’omuleetedde ekirabo eky’okuwaayo nga ssaddaaka, n’ojjukira nga waliwo gw’olinako ensonga, 24 ekirabo kyo sooka okireke awo oddeyo omale okumwetondera mutegeeragane, olyoke okomewo oweeyo ekirabo kyo eri Katonda.
25 “Tegeeragananga mangu n’oyo akuwawaabira nga mukyali mu kkubo aleme kukutwala wa mulamuzi, n’omulamuzi okukuwaayo eri omuserikale, n’omuserikale okukuteeka mu kkomera. 26 Nkutegeeza nti Olibeera omwo okutuusa lw’olimalayo byonna by’obanjibwa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.