Book of Common Prayer
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5 (E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 (F)Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 (G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
8 (H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 (I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.
16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
Omusota Ogw’Ekikomo
4 (A)Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza. 5 (B)Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.”
6 (C)Awo Mukama n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa. 7 (D)Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu.
8 (E)Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” 9 (F)Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.
11 (A)Ddala ddala nkugamba nti twogera kye tumanyi, ne tutegeeza kye twalaba, so temukkiriza bujulirwa bwaffe. 12 Naye obanga temukkiriza bwe mbabuulira eby’ensi, kale munaasobola mutya okukkiriza bwe nnaababuulira eby’omu ggulu? 13 (B)Kubanga tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, okuggyako eyava mu ggulu, ye Mwana w’Omuntu. 14 (C)Era nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n’Omwana w’Omuntu kimugwanira okuwanikibwa, 15 (D)buli amukkiriza alyoke afune obulamu obutaggwaawo.
16 (E)“Kubanga Katonda bwe yayagala ensi, bw’atyo n’awaayo Omwana we omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme kuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo. 17 (F)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.
118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Kale Isirayiri ayogere nti,
“Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
3 N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4 Abo abatya Mukama boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
5 (C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
n’annyanukula, n’agimponya.
6 (D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
Abantu bayinza kunkolako ki?
7 (E)Mukama ali nange, ye anyamba.
Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.
8 (F)Kirungi okwesiga Mukama
okusinga okwesiga omuntu.
9 (G)Kirungi okuddukira eri Mukama
okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.
15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.
22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.
26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.
28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
17 (A)Okubonyaabonyezebwanga olw’okukola obulungi, bwe kuba nga kwe kusiima kwa Katonda, kusinga okubonyaabonyezebwa olw’okukola ekibi. 18 (B)Kubanga ddala Kristo yabonyaabonyezebwa olw’ebibi omulundi gumu, Omuntu Omutuukirivu ku lw’abatali batuukirivu, alyoke abaleete eri Katonda bwe yattibwa mu mubiri, kyokka n’abeera mulamu mu mwoyo. 19 (C)Era omwoyo gwe, gwe gwagenda okubuulira Enjiri emyoyo egyali mu kkomera. 20 (D)Egyo gy’emyoyo egy’abo edda abaagaana okuwulira Katonda ng’akyabagumiikiriza, mu kiseera Nuuwa kye yazimbiramu eryato, abantu abatono, omunaana gwokka, mwe baawonyezebwa amazzi. 21 (E)Amazzi ago gaali kabonero ak’okubatizibwa mulyoke mulokolebwe kaakano. Kubanga okubatizibwa tekitegeeza kunaazibwako kko lya mubiri, wabula kitegeeza kwewaayo eri Katonda nga tumaliridde okukola by’ayagala, ng’atuwadde omutima omulongoofu olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo, 22 (F)eyalinnya mu ggulu era atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’afuga bamalayika n’aboobuyinza, n’abaamaanyi ab’omu ggulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.