Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
2 (B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
3 (C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
4 (D)Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
5 (E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
6 (F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.
7 (G)Siriikirira awali Mukama,
ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
8 (H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
9 (I)Kubanga ababi balisalibwako,
naye abeesiga Mukama baligabana ensi.
10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.
12 (L)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
ne babalumira obujiji.
13 (M)Naye Mukama asekerera ababi,
kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.
14 (N)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (O)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.
16 (P)Ebitono omutuukirivu by’alina
bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (Q)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.
18 (R)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.
20 (S)Naye ababi balizikirira;
abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.
21 (T)Ababi beewola, ne batasasula;
naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (U)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
naye abo b’akolimira balizikirizibwa.
23 (V)Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
aluŋŋamya entambula ye.
24 (W)Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.
25 (X)Nnali muto kati nkaddiye,
naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 (Y)Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
27 (Z)Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 (AA)Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 (AB)Abatuukirivu baligabana ensi
ne babeeranga omwo emirembe gyonna.
30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 (AC)Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
era ebigere bye tebiseerera.
32 (AD)Omubi ateega omutuukirivu
ng’anoonya okumutta,
33 (AE)naye Mukama taliganya babi kuwangula,
wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.
34 (AF)Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
ababi bwe balisalirwako olikitegeera.
35 (AG)Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 (AH)naye teyalwawo n’abula,
ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.
16 Nzenna mmyuse amaaso olw’okukaaba,
ekisiikirize ekikwafu ennyo kyetoolodde amaaso gange,
17 (A)newaakubadde ng’emikono gyange tegirina bibi bye gikoze,
n’okusaba kwange nga kutukuvu.
18 (B)“Ggwe ensi, tobikka ku musaayi gwange;
nneme okusirisibwa!
19 (C)Era kaakano omujulirwa wange ali mu ggulu;
omuwolereza wange ali waggulu nnyo ddala.
20 (D)Mikwano gyange bansekerera,
amaaso gange nga gakulukusa amaziga eri Katonda.
21 (E)Ku lw’omuntu, yeegayirira eri Katonda
ng’omuntu bwe yeegayiririra mukwano gwe.
13 (A)Amagombe bwe gaba nga ge maka mwe nnina essuubi,
bwe njala obuliri bwange mu kizikiza,
14 (B)ne ŋŋamba amagombe nti, ‘Ggwe kitange,’
era n’eri envunyu nti, ‘Ggwe mmange,’ oba nti, ‘Ggwe mwannyinaze,’
15 (C)kale essuubi lyange liba ludda wa?
Ani ayinza okuliraba?
16 (D)Nalyo lirigenda eri enzigi z’emagombe
Oba tuligenda ffenna mu nfuufu?”
Balunabba ne Sawulo batumibwa
13 (A)Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. 2 (B)Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.” 3 (C)Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.
4 (D)Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo. 5 (E)Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.
6 (F)Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa. 7 (G)Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 8 (H)Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza. 9 (I)Naye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza, 10 (J)n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? 11 (K)Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.”
Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono. 12 (L)Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.
Yesu Awonya Omuzibe w’Amaaso
9 Awo Yesu bwe yali ng’atambula, n’alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe w’amaaso. 2 (A)Abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Labbi, ani eyayonoona, ono oba bazadde be alyoke azaalibwe nga muzibe w’amaaso?”
3 (B)Yesu n’addamu nti, “Ku bonna omusajja ono newaakubadde bazadde be tekuliiko yayonoona, wabula kino kyabaawo emirimu gya Katonda girabikire ku ye. 4 (C)Kale kitugwanidde okukola emirimu gy’oyo eyantuma, obudde nga bukyali misana. Ekiro kijja omuntu mw’atasobolera kukola. 5 (D)Kyokka Nze bwe mbeera mu nsi mba musana gwa nsi.”
6 (E)Yesu bwe yamala okwogera bw’atyo, n’awanda amalusu ku ttaka n’atabula, n’alisiiga ku maaso g’omusajja oyo. 7 (F)N’amugamba nti, “Genda onaabe mu kidiba kya Sirowamu,” amakulu nti, “Eyatumibwa”. Awo omusajja n’agenda, n’anaaba, n’adda ng’alaba.
8 (G)Baliraanwa b’oyo eyawonyezebwa era n’abalala abaali bamumanyi nga muzibe w’amaaso, asabiriza, ne beebuuzaganya nti, “Ono si ye musajja oli eyatuulanga wali ng’asabiriza?” 9 Abamu ne bagamba nti, “Ye ye,” abalala ne bagamba nti, “Nedda, anaamufaanana bufaananyi.” Kyokka ye n’abagamba nti, “Ye nze ddala.” 10 Bo kwe ku mubuuza nti, “Kale amaaso go gaazibuse gatya?” 11 (H)N’abategeeza nti, “Omuntu ayitibwa Yesu, yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, n’andagira nti, ‘Genda e Sirowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda ne naaba, ne nsobola okulaba.”
12 Ne bamubuuza nti, “Ali ludda wa?” N’addamu nti, “Simanyi.”
Abafalisaayo Bakemekkereza Eyawonyezebwa
13 Awo ne batwala omusajja eyali omuzibe w’amaaso eri Abafalisaayo. 14 (I)Olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka n’azibula omusajja oyo amaaso, lwali lwa Ssabbiiti. 15 (J)Abafalisaayo nabo ne babuuza omuntu oyo engeri gye yazibuka amaaso. Awo n’ababuulira ng’agamba nti, “Yesu yatabula ettaka n’alinsiiga ku maaso, ne naaba, kaakano ndaba.”
16 (K)Abamu ku bo ne bagamba nti, “Omusajja oyo Yesu teyava wa Katonda kubanga takwata Ssabbiiti.” Kyokka abalala ne bagamba nti, “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola eby’amagero ebifaanana bwe bityo?” Ne wabaawo okwawukana kunene mu bo.
17 (L)Awo Abafalisaayo ne bakyukira omusajja eyali omuzibe w’amaaso ne bamubuuza nti, “Omuntu oyo eyakuzibula amaaso olowooza wa ngeri ki?”
Omusajja n’addamu nti, “Ndowooza nnabbi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.