Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 18

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.

18 Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.

(A)Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
    ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
    ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
(B)Nkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
    era amponya eri abalabe bange.

(C)Emiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
    embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
(D)Ebisiba eby’amagombe byanneetooloola;
    n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
(E)Mu nnaku yange nakoowoola Mukama;
    ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
    omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.

(F)Emisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
    ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
    kubanga yali asunguwadde.
(G)Omukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
    Omuliro ne guva mu kamwa ke,
    ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
(H)Yayabuluza eggulu n’akka wansi;
    ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 (I)Yeebagala kerubi n’abuuka,[a]
    n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 (J)Yafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
    okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 (K)Okumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
    n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 (L)Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
    mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 (M)Yalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
    n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 (N)Ebiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
    n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
    n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.

16 (O)Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
    n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 (P)Yamponya abalabe bange ab’amaanyi,
    abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 (Q)Bannumba nga ndi mu buzibu,
    naye Mukama n’annyamba.
19 (R)N’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
    kubanga yansanyukira nnyo.
20 (S)Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 (T)Kubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
    ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 (U)Ddala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
    era ne siva ku biragiro bye.
23 Sisobyanga mu maaso ge
    era nneekuuma obutayonoona.
24 (V)Noolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.

25 (W)Eri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
    n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 (X)Eri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
    n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 (Y)Owonya abawombeefu,
    naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 (Z)Okoleezezza ettaala yange;
    Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 (AA)Bwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
    nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.

30 (AB)Katonda byonna by’akola bigolokofu;
    Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
    bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 (AC)Kale, ani Katonda, wabula Mukama?
    Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 (AD)Oyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33 (AE)Ebigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
    n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
34 (AF)Anjigiriza okulwana entalo,
    ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
35 (AG)Ompadde obulokozi bwo okuba engabo yange;
    era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;
    weetoowazizza n’ongulumiza.
36 Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,
    obukongovvule bwange ne butanuuka.

37 (AH)Nagoba abalabe bange embiro,
    ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38 (AI)Nababetenta ne batasobola na kugolokoka,
    ne mbalinnyako ebigere byange.
39 Ompadde amaanyi ag’okulwana;
    abalabe bange ne banvuunamira.
40 (AJ)Okyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,
    ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41 (AK)Baalaajana naye tewaali yabawonya;
    ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42 Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;
    ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.

43 (AL)Omponyezza obulumbaganyi bw’abantu;
    n’onfuula omufuzi w’amawanga.
    Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44 (AM)Olumpulira ne baŋŋondera,
    bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45 (AN)Bannamawanga baggwaamu omutima
    ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46 (AO)Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
    era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
47 (AP)Ye Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
    era akakkanya amawanga ne ngafuga.
    Amponyeza abalabe bange.
48 (AQ)Ayi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
    n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 (AR)Noolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
    era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50 (AS)Awa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,
    amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,
    eri Dawudi n’eri ezzadde lye.

Yobu 8:1-10

Birudaadi Ayogera

Awo Birudaadi Omusukusi n’addamu n’agamba nti,

(A)“Onookoma ddi okwogera ebintu bino?
    Era ebigambo bino by’oyogera n’akamwa ko binaakoma ddi okuba ng’empewo ey’amaanyi?
(B)Katonda akyusakyusa mu nsala ye?
    Oba oyo Ayinzabyonna akyusakyusa amazima?
(C)Abaana bo bwe baayonoona eri Mukama,
    n’abawaayo eri empeera y’ekibi kyabwe.
(D)Kyokka bw’onoonoonya Katonda,
    ne weegayirira oyo Ayinzabyonna,
(E)bw’onooba omulongoofu era ow’amazima,
    ddala ddala anaakuddiramu
    n’akuzzaayo mu kifo kyo ekituufu.
(F)Wadde ng’entandikwa yo yali ntono,
    embeera yo ey’enkomerero ejja kuba nnungi ddala.
(G)Buuza ku mirembe egy’edda,
    era onoonyereze ku bakitaabwe bye baayiga;
(H)kubanga ffe twazaalibwa jjuuzi era tetulina kye tumanyi,
    era ne nnaku ze twakamala ku nsi ziri ng’ekisiikirize.
10 Tebaakulage bakumanyise era bakutegeeze ebigambo bye mitima gyabwe
    oba by’okutegeera kwabwe?

Yobu 8:20-22

20 (A)Mazima ddala Katonda talekerera muntu ataliiko musango,
    era tanyweza mukono gw’abakola ebibi.
21 (B)Ajja kuddamu ajjuze akamwa ko enseko,
    n’emimwa gyo amaloboozi ag’essanyu.
22 (C)Abalabe bo balijjula obuswavu,
    era n’ennyumba z’abakozi b’ebibi zirimalibwawo.”

Ebikolwa by’Abatume 10:17-33

17 (A)Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi 18 nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.

19 (B)Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya. 20 (C)Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”

21 Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”

22 (D)Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.” 23 (E)Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.

Peetero mu maka ga Koluneeriyo

24 (F)Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero. 25 Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza. 26 (G)Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”

27 N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde. 28 (H)Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu. 29 Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”

30 Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana. 31 N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu. 32 Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’ 33 Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”

Yokaana 7:14-36

Yesu Ayigiriza ku Mbaga

14 (A)Awo mu makkati g’embaga Yesu n’ayambuka mu Yeekaalu n’ayigiriza. 15 (B)Abakulembeze b’Abayudaaya ne beewuunya nga bagamba nti, “Omuntu ono ayinza atya okumanya okusoma so nga tasomangako?”

16 (C)Awo Yesu kwe kubaddamu nti, “Nze sibayigiriza byange ku bwange, wabula eby’oyo eyantuma. 17 (D)Buli ayagala okukola Katonda by’ayagala, ategeera obanga bye njigiriza byange ku bwange oba bya Katonda. 18 (E)Ayogera ku bubwe anoonya kitiibwa kye, naye oyo anoonya ekitiibwa ky’oyo eyantuma wa mazima so n’obutali butuukirivu tebuba mu ye. Musa teyabawa amateeka? 19 (F)Ku mmwe tekuliiko n’omu akwata mateeka. Kale lwaki musala amagezi okunzita?”

20 (G)Ekibiina ky’abantu ne baddamu nti, “Oliko dayimooni! Ani asala amagezi okukutta?” 21 Yesu n’addamu nti, “Nakola ekikolwa kimu ku Ssabbiiti buli muntu ne yeewuunya. 22 (H)Musa kyeyava abalagira okukomolebwa, okukomolebwa tekwatandikira ku Musa wabula kwatandikira ku bajjajjammwe; ne ku Ssabbiiti mukomola omuntu. 23 Obanga mukomola ku Ssabbiiti etteeka lya Musa lireme okumenyebwa, kale lwaki Nze munsunguwalira olw’okuwonya omuntu ku Ssabbiiti, n’aba mulamu ddala? 24 (I)Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw’ensonga.”

Yesu ye Kristo

25 Awo abantu abamu ab’omu Yerusaalemi ne beebuuzaganya nga bagamba nti, “Ono si ye muntu gwe banoonya okutta? 26 (J)Kale wuuno ayigiriza lwatu, ate tebaliiko kye bamugambako. Osanga abakulembeze bategedde nti omuntu ono ye Kristo! 27 (K)Naye tumanyi omuntu ono gy’ava; so nga Kristo bw’alijja tewaliba n’omu amanya gy’ava.”

28 (L)Awo Yesu bwe yali ng’akyayigiriza mu Yeekaalu n’akangula ku ddoboozi n’agamba nti, “Ddala mummanyi ne gye nva mumanyiiyo. Sajja ku bwange wabula ekituufu nti oyo eyantuma gwe mutamanyi. 29 (M)Nze mmumanyi, kubanga nava gy’ali, era ye yantuma.”

30 (N)Awo ne basala amagezi okumukwata, kyokka tewaali amukwatako, kubanga ekiseera kye kyali tekinnaba kutuuka. 31 (O)Naye bangi mu bibiina by’abantu ne bamukkiriza, ne bagamba nti, “Kale Kristo bw’alijja, alikola eby’amagero ebisinga eby’ono byakoze?”

32 Awo Abafalisaayo ne bawulira abantu nga boogera ku Yesu mu bwama. Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne batuma abaweereza baabwe okumukwata. 33 (P)Awo Yesu n’agamba nti, “Nzija kumala nammwe ebbanga ttono, ndyoke nzireyo eri oyo eyantuma. 34 (Q)Mulinnoonya, naye temugenda kundaba, nga gye ndi, mmwe temuyinza kutuukayo.”

35 (R)Awo Abayudaaya ne beebuuzaganya nti, “Omuntu ono alaga wa gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Buyonaani, ayigirize Abayonaani? 36 Ategeeza ki bw’agamba nti, ‘Mulinnoonya, naye temulindaba?’ Era nti, ‘Gye ndaga temuyinza kutuukayo?’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.