Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 66-67

Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.

66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
    (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
    Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
(C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
    Olw’amaanyi go amangi
    abalabe bo bakujeemulukukira.
(D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
    bakutendereza,
    bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”

(E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
    mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
(F)Ennyanja yagifuula olukalu.
    Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
    kyetuva tujaguza.
(G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
    amaaso ge agasimba ku mawanga,
    ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.

(H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
    eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
(I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
    n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
    n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
    n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
    ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
    n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.

13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
    akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
    mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
    mpeeyo ente ennume n’embuzi.

16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
    mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
    ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
    Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
    atagobye kusaba kwange,
    wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.

67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
    era otwakize amaaso go.
(T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
    n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.

Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.
(U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
    Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
    n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.

(V)Ensi erireeta amakungula gaayo;
    era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
(W)Katonda anaatuwanga omukisa;
    n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Zabbuli 19

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
    ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
(B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
    era liraga amagezi ge buli kiro.
Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
    era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
(C)Naye obubaka bwabyo
    bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
    Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
    era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
(D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
    ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
    era tewali kyekweka bbugumu lyayo.

(E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
    era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
    ligeziwaza abatalina magezi.
(F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
    kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
    bye galaba.
(G)Okutya Mukama kirungi,
    era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
    era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
    okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
    okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
    era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
    Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
    bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
    nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
    bisiimibwe mu maaso go,
    Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.

Zabbuli 46

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
    omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
(B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
    ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
(C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
    ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.

(D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
    kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
(E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
    Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
(F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
    ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.

(G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

(H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
    mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
(I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
    akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
    amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
    Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
    Nnaagulumizibwanga mu nsi.

11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
    Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.

Balam 11:1-11

11 (A)Yefusa Omugireyaadi yali mulwanyi w’amaanyi; kitaawe yamuzaala mu malaaya. Mukazi wa Gireyaadi yali amuzaalidde abaana aboobulenzi, era abaana b’omukazi oyo bwe baakula, ne bagobaganya Yefusa nga bagamba nti, “Tolisikira wamu naffe ku bintu bya kitaffe, kubanga kitaffe yakuzaala mu mukazi mulala.” (B)Awo Yefusa n’adduka baganda be, n’agenda n’abeera mu nsi ye Tobu. Abasajja abataaliko kigendererwa ne bakuŋŋaana gy’ali ne bamugoberera.

(C)Oluvannyuma lw’ebbanga abaana ba Amoni ne bakola olutalo ku Isirayiri. Awo abaana ba Amoni bwe baali nga balwana ne Isirayiri, abakadde ab’e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa mu nsi ya Tobu. Ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere tulwanyise abaana ba Amoni.”

(D)Yefusa n’agamba abakadde b’e Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Lwaki kaakano mujja gye ndi nga mulina ekizibu?”

(E)Abakadde b’e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tuzze gy’oli kaakano, ojje ogende naffe, olwanyise abaana ba Amoni, n’oluvannyuma onoobeera mukulembeze w’abo bonna ababeera mu Gireyaadi.”

Yefusa n’abaddamu nti, “Singa munzizaayo ne nnwana n’abaana ba Amoni, Mukama n’abampangusiza, n’abeera omukulembeze wammwe?”

10 (F)Abakadde b’e Gireyaadi ne baddamu Yefusa nti, “Mukama ye mujulirwa waffe, bwe tutaatuukirize kigambo ekyo.” 11 (G)Awo Yefusa n’agenda n’abakadde b’e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulembeze waabwe era omuduumizi, n’addamu ebigambo byonna bye yayogera mu maaso ga Mukama mu Mizupa.

Balam 11:29-40

29 (A)Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’ajja ku Yefusa; Yefusa n’asomoka Gireyaadi ne Manase, n’ayita ne mu Mizupa eky’e Gireyaadi, era mu Mizupa eky’e Gireyaadi gye yava okulumba abaana ba Amoni. 30 (B)Yefusa ne yeeyama eri Mukama Katonda ng’agamba nti, “Bw’onogabula abaana ba Amoni mu mukono gwange, 31 ekintu kyonna ekirifuluma mu nzigi z’ennyumba yange nga nkomyewo mu buwanguzi, ne kinyaniriza nga nva mu baana ba Amoni, ndikiwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”

32 Awo Yefusa n’alumba abaana ba Amoni n’abalwanyisa, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwe. 33 (C)N’abakuba okuva ku Aloweri okutuuka e Minnisi, bye bibuga amakumi abiri, n’okutuukira ddala ku Aberukeramimu; n’abakubira ddala era abaana ba Isirayiri ne bawangulira ddala abaana ba Amoni.

34 (D)Awo Yefusa bwe yakomawo e Mizupa mu maka ge, laba muwala we n’ajja okumukulisaayo ng’akuba ebitaasa era ng’amuzinira. Ye mwana yekka gwe yalina. 35 (E)Yefusa bwe yamulaba, n’ayuza engoye ze, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zinsaze muwala wange. Onnakuwazizza nnyo, era ondeetedde ennaku, kubanga neeyama eri Mukama Katonda, so siyinza kukimenyawo.”

36 (F)Awo muwala we n’amugamba nti, “Kitange weeyama eri Mukama. Kola ekyo kye weeyama eri Mukama Katonda, kubanga awooledde eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.” 37 N’agamba kitaawe nti, “Nkusaba ekintu kimu kyokka, onzikirize ŋŋende ne mikwano gyange mu nsozi okumala emyezi ebiri, ne kaabireko kubanga ndi mbeerera.”

38 N’amugamba nti, “Genda.” N’agenda n’amala emyezi ebiri mu nsozi ng’ali ne bawala banne nga yeekaabirako olw’okuba yali mbeerera. 39 Oluvannyuma lw’emyezi ebiri, omuwala n’akomawo eri kitaawe, era kitaawe n’amuwaayo, nga bwe yeeyama. Yali muwala mbeerera.

Era okwo kwe kwava empisa mu Isirayiri 40 okuva mu biro ebyo, nti abawala mu Isirayiri bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi okumala ennaku nnya buli mwaka.

2 Abakkolinso 11:21-31

21 (A)Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola. 22 (B)Bo Baebbulaniya? Nange bwe ndi. Bagamba nti Bayisirayiri? Nange bwe ntyo. Bazzukulu ba Ibulayimu? Nange bwe ndi. 23 (C)Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa. 24 Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egy’enjawulo etaano. 25 (D)Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba. 26 (E)Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda; 27 (F)mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. 28 Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri. 29 Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bw’agwa mu kibi, nange njaka munda yange.

30 (G)Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olw’ebyo ebiraga obunafu bwange! 31 (H)Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba.

Makko 4:35-41

Yesu Akkakkanya Omuyaga

35 Ku lunaku olwo obudde nga buwungedde Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Tuwunguke tulage emitala.” 36 (A)N’aleka awo ekibiina, abayigirizwa be ne balinnya mu lyato Yesu mwe yali ne bagenda naye. Abantu abamu ne babagobera mu maato agaabwe. 37 Amangwago omuyaga mungi nnyo ne gukunta n’amayengo amagulumivu ne geeyiwa mu lyato ne libulako katono okujjula amazzi. 38 Yesu yali agalamidde emabega mu lyato nga yeezizise omutto yeebase. Awo abayigirizwa be ne bamuzuukusa nga bagamba nti, “Omuyigiriza, ggwe tofaayo nga ffenna tugenda okusaanawo?”

39 N’azuukuka n’aboggolera omuyaga n’agamba ennyanja nti, “Tteeka, sirika.” Omuyaga ne gusirika n’ennyanja n’eteekera ddala.

40 (B)N’ababuuza nti, “Lwaki mutidde? Temunnaba kubeera na kukkiriza?”

41 Ne batya nnyo, ne beebuuza nti, “Ono ye ani, embuyaga n’ennyanja gwe bigondera?”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.