Book of Common Prayer
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.
83 (A)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
2 (B)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
3 (C)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
4 (D)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
5 (E)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
beegasse wamu bakulwanyise.
6 (F)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
7 (G)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
8 (H)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
okuyamba bazzukulu ba Lutti.
9 (I)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (J)abaazikiririra mu Endoli
ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (K)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (L)abaagamba nti, “Ka tutwale
amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
13 (M)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (N)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (O)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (P)Baswaze nnyo,
balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (I)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
Yakobo omuddizza ebibye.
2 (B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
3 (C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.
4 (D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
oleke okutusunguwalira.
5 (E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
6 (F)Tolituzaamu ndasi,
abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
7 Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
era otuwe obulokozi bwo.
8 (G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
9 (H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.
10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.
Okusaba kwa Dawudi.
86 (L)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
kubanga ndi mwavu atalina kintu.
2 (M)Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
Katonda wange, ondokole
nze omuddu wo akwesiga.
3 (N)Onsaasire, Ayi Mukama,
kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
4 (O)Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
kubanga omwoyo gwange
nguyimusa eyo gy’oli.
5 (P)Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
6 Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
7 (Q)Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
kubanga ononnyanukulanga.
8 (R)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
9 (S)Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda
ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;
era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 (T)Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
ggwe wekka ggwe Katonda.
11 (U)Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,
ntambulirenga mu mazima go;
ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana,
ntyenga erinnya lyo.
12 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13 Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;
wawonya omwoyo gwange amagombe.
14 (V)Ayi Katonda, ab’amalala bannumba,
ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita,
be bantu abatakufiirako ddala.
15 (W)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16 (X)Onkyukire, onsaasire,
ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17 Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,
abalabe bange bakalabe baswale;
kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.
22 Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.” 23 (A)Naye Gidyoni n’abaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama y’anaabafuganga.” 24 (B)Gidyoni n’abagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.”
25 Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu n’ateekako empeta ze yanyaga. 26 Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe. 27 (C)Awo Gidyoni n’addira zaabu n’amusaanuusa n’amukolamu ekifaananyi eky’ekkanzu (efodi), n’akiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni n’enju ye yonna omutego.
28 (D)Awo Midiyaani n’ewangulwa abaana ba Isirayiri, era n’etaddayo kubalumba. Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula. 29 (E)Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi, n’addayo ewaabwe. 30 (F)Gidyoni yazaala abaana aboobulenzi nsanvu mu bakazi abangi be yalina. 31 (G)N’omuzaana we ow’omu Sekemu yamuzaalira omwana wabulenzi, era n’amutuuma Abimereki. 32 (H)Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’afa, ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula eky’Ababiezeri.
33 (I)Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi[a] katonda waabwe. 34 (J)Abaana ba Isirayiri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna. 35 (K)Ne batalaga kusiima eri ab’enju ya Yerubbaali, ye Gidyoni, olw’ebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.
Peetero ne Yokaana mu Lukiiko lw’Abayudaaya Olukulu
4 (A)Awo Peetero ne Yokaana baali bakyayogera eri abantu, bakabona, n’omukulu w’abakuumi ba Yeekaalu n’Abasaddukaayo ne bajja gye bali, 2 (B)nga basunguwadde nnyo okuwulira nga Peetero ne Yokaana bayigiriza abantu, ku bwa Yesu, okuzuukira mu bafu. 3 (C)Ne bakwata Peetero ne Yokaana, naye olwokubanga obudde bwali buyise ne babaggalira mu kkomera okutuusa enkeera. 4 (D)Kyokka abantu bangi ku abo abaali bawuliriza abatume ne bakkiriza, era omuwendo gw’abasajja bokka abakkiriza ne guba ng’enkumi ttaano!
5 (E)Enkeera, abafuzi n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi. 6 (F)Baali ne Ana Kabona Asinga Obukulu, ne Kayaafa, ne Yokaana, ne Alegezanda n’abalala bangi abaalina oluganda ne Kabona Asinga Obukulu. 7 Awo abatume bombi ne baleetebwa ne basimbibwa mu maaso g’Olukiiko. Ne bababuuza nti, “Buyinza ki oba linnya ly’ani kwe musinzidde okukola kino?”
8 (G)Awo Peetero bwe yajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Abafuzi, n’abakulembeze b’abantu, 9 (H)obanga tubuuzibwa nsonga ey’omusajja eyawonyezeddwa, 10 (I)mutegeere mmwe mwenna n’abantu bonna mu Isirayiri, omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza, era kaakano mulamu.
11 (J)“ ‘Oyo ly’Ejjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’
12 (K)Tewali mu mulala yenna bulokozi, era tewali linnya ddala na limu mu mannya gonna agaaweebwa abantu, wansi w’eggulu, mwetugwanira okulokolebwa.”
Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri
43 (A)Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
44 (B)Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. 45 (C)Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”
46 (D)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?”
Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”
47 (E)Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”
48 Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?”
Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.”
49 (F)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”
50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51 (G)Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.