Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 2

(A)Lwaki amawanga geegugunga
    n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
(B)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
    n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
    ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
(C)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
    era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

(D)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
    abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
(E)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
    n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
    ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

(F)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:

kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
    olwa leero nfuuse kitaawo.
(G)Nsaba,
    nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
    era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
(H)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
    era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
    muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (I)Muweereze Mukama nga mumutya,
    era musanyuke n’okukankana.
12 (J)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
    n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
    Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Zabbuli 24

Zabbuli ya Dawudi.

24 (A)Ensi ya Mukama n’ebigirimu byonna,
    n’ensi zonna n’abo abazibeeramu.
Kubanga yasimba emisingi gyayo mu nnyanja,
    n’agizimba ku mazzi amangi.

(B)Alyambuka ku lusozi lwa Mukama ye afaanana atya?
    Era wa ngeri ki aliyingira n’ayimirira mu nnyumba ye entukuvu?
(C)Oyo alina omutima omulongoofu, nga n’emikono gye mirongoofu;
    atasinza bakatonda abalala,
    era atalayirira bwereere.

Oyo Mukama anaamuwanga omukisa,
    n’obutuukirivu okuva eri Katonda ow’obulokozi bwe.
(D)Ogwo gwe mulembe gw’abo abakunoonya,
    Ayi Katonda wa Yakobo.

(E)Mweggulewo, mmwe bawankaaki!
    Muggulwewo, mmwe enzigi ez’edda,
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
(F)Kabaka ow’ekitiibwa ye ani?
    Ye Mukama ow’amaanyi era ow’obuyinza,
    omuwanguzi mu ntalo.
Mweggulewo, mmwe bawankaaki,
    muggulwewo mmwe enzigi ez’edda!
    Kabaka ow’ekitiibwa ayingire.
10 Kabaka ow’ekitiibwa oyo ye ani?
    Mukama Ayinzabyonna;
    oyo ye Kabaka ow’ekitiibwa.

Okuva 24:12-18

12 (A)Mukama n’agamba Musa nti, “Yambuka eno gye ndi ku lusozi, obeere wano olinde; nzija kukuwa ebipande eby’amayinja okuli amateeka g’empandiise ogayigirize abantu.”

13 (B)Awo Musa n’asituka n’omuweereza we Yoswa; Musa n’ayambuka ku lusozi lwa Katonda. 14 N’agamba abakulembeze b’abantu nti, “Mugira mutulindako wano nga naffe bwe tukomawo. Mbalekedde Alooni ne Kuuli; buli anaaba n’ensonga yonna agende gye bali, bajja kugimumalira.”

15 (C)Awo Musa n’alinnyalinnya olusozi, ekire ne kirubikka. 16 (D)Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku Lusozi Sinaayi. Ekire ne kibikka olusozi okumala ennaku mukaaga; ku lunaku olw’omusanvu Mukama n’ayita Musa ng’asinziira wakati mu kire. 17 (E)Abaana ba Isirayiri bwe baatunuulira ekitiibwa kya Mukama, ne kibalabikira ng’omuliro ogw’amaanyi ennyo ku ntikko y’olusozi. 18 (F)Musa n’ayingira mu kire ng’agenda alinnyalinnya olusozi. Ku lusozi yamalako ennaku amakumi ana.

2 Abakkolinso 4:1-6

Eby’obugagga eby’omuwendo mu bibya eby’ebbumba

(A)Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira. (B)Twaleka ebikisibwa eby’ensonyi, nga tetutambulira mu bukuusa, wadde okukyamya ekigambo kya Katonda, wabula okuggyayo amazima nga bwe gali, nga tweraga eri buli ndowooza y’omuntu mu maaso ga Katonda. (C)Naye obanga ddala Enjiri yaffe ekwekeddwa, ekwekeddwa eri abo ababula. (D)Katonda w’emirembe gino yazibikira ebirowoozo by’abo abatakkiriza, obutabamulisiza njiri ey’ekitiibwa kya Kristo, ye nga kye kifaananyi kya Katonda. (E)Kubanga tetweyogerako wabula Kristo Yesu Mukama, naffe tuli baddu bammwe ku lwa Yesu. (F)Kubanga Katonda oyo ye yagamba nti, “Omusana gwake mu kizikiza,” ye yayaka mu mitima gyaffe, okuleetera abantu ekitangaala eky’okumanya ekitiibwa kya Katonda ekirabikira mu Yesu Kristo.

Zabbuli 72

Zabbuli ya Sulemaani.

72 Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
    ne mutabani we omuwe obutuukirivu,
(A)alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
    n’abaavu abalamulenga mu mazima.

Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
    n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.
(B)Anaalwaniriranga abaavu,
    n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,
    n’omujoozi n’amusaanyaawo.
Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
    okwaka mu mirembe gyonna.
(C)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
    afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.
(D)Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
    n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

(E)Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,[a]
    n’okuva ku mugga Fulaati[b] okutuuka ku nkomerero z’ensi!
Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
    n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.
10 (F)Bakabaka b’e Talusiisi[c] n’ab’oku bizinga eby’ewala
    bamuwenga omusolo;
bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba[d]
    bamutonerenga ebirabo.
11 Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
    amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12 Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
    n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.
13 Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
    n’awonya obulamu bwa kateeyamba.
14 (G)Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
    kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

15 (H)Awangaale!
    Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.
Abantu bamwegayiririrenga
    era bamusabirenga emikisa buli lunaku.
16 (I)Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
    ebikke n’entikko z’ensozi.
Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;
    n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.
17 (J)Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
    n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,
    era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

18 (K)Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
    oyo yekka akola ebyewuunyisa.
19 (L)Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
    Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.
Amiina era Amiina!

20 Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

Yokaana 12:27-36

Yesu Ayogera ku Kufa kwe

27 (A)“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino. 28 (B)Kitange gulumiza erinnya lyo.”

Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.” 29 Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.” 30 (C)Yesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange. 31 (D)Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru. 32 (E)Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.” 33 (F)Ekyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.

34 (G)Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” 35 (H)Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga. 36 (I)Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.