Book of Common Prayer
ז Zayini
49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
nfunye emikisa gyo mingi.
ח Esi
57 (F)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
nasuubiza okukugonderanga.
58 (G)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (H)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
so seekunya.
61 (I)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
naye seerabirenga mateeka go.
62 (J)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (K)Ntambula n’abo abakutya,
abo bonna abakwata amateeka go.
64 (L)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
onjigirize amateeka go.
ט Teesi
65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (M)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (N)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
onjigirize amateeka go.
69 (O)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (P)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
ndyoke njige amateeka go.
72 (Q)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
49 (A)Muwulire mmwe amawanga gonna,
mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
2 Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
muwulirize ebigambo byange.
3 (B)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
4 (C)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.
5 (D)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
6 (E)abantu abeesiga obugagga bwabwe
beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
7 Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
wadde okwegula okuva eri Katonda.
8 (F)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
tewali n’omu agusobola;
9 (G)alyoke awangaale ennaku zonna
nga tatuuse magombe.
10 (H)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (I)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
baafuna ettaka mu mannya gaabwe.
12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
alifa ng’ensolo bwe zifa.
13 (J)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (K)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
obulungi bwabwe ne bubula,
amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (L)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
tomutyanga,
17 (M)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (N)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (O)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
n’ayingira mu kizikiza ekikutte.
20 (P)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
53 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
tewali n’omu akola kirungi.
2 (B)Katonda atunuulira abaana b’abantu
ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
era abamunoonya.
3 (C)Bonna bamukubye amabega
ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
tewali n’omu.
4 Aboonoonyi tebaliyiga?
Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Katonda.
5 (D)Balitya okutya okutagambika;
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
kubanga Katonda yabanyooma.
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
Ekyoto kizimbwa ku lusozi Ebali
30 (A)Oluvannyuma Yoswa n’azimbira Mukama Katonda wa Isirayiri, ekyoto ku lusozi Ebali. 31 (B)Nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yakuutira Abayisirayiri era nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka ga Musa, “Ekyoto eky’amayinja agataabajjibwa muntu ng’akozesa ekyuma.” Bwe kyaggwa ne batandika okukiweerako Mukama ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. 32 (C)Era n’awandiikira eyo ku mayinja mu maaso g’Abayisirayiri bonna, amateeka Musa ge yasooka okuwandiikira abaana ba Isirayiri. 33 (D)Abayisirayiri bonna n’abakulembeze baabwe, abalamuzi, n’abakungu ne bannaggwanga bonna ab’omu Isirayiri ne bayimirira eruuyi n’eruuyi w’Essanduuko okwolekera bakabona Abaleevi abaasitulanga Essanduuko y’Endagaano ya Mukama. Ne beegabanyaamu, ekitundu ekimu ne bayimirira mu maaso g’olusozi Gerizimu, ate abalala ne bayimirira mu maaso g’olusozi Ebali, nga Musa omuddu wa Mukama bwe yabalagira mu kusooka nti, “Kibagwanidde okusabira Abayisirayiri omukisa.”
34 (E)Oluvannyuma Yoswa n’abasomera ebigambo byonna eby’omu mateeka, emikisa n’ebikolimo nga byonna bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky’Amateeka. 35 (F)Tewali kigambo na kimu Musa kye yalagira, Yoswa ky’ataasomera Bayisirayiri bonna, abaali bakuŋŋaanye abasajja n’abakazi n’abaana abato ssaako ne bannaggwanga be baabeeranga nabo.
Okwesittaza Abalala
13 (A)Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi. 14 (B)Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo. 15 (C)Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira. 16 (D)Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa. 17 (E)Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. 18 (F)Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.
19 (G)Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka. 20 (H)Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala. 21 (I)Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.
22 (J)Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu. 23 (K)Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.
Yesu mu maaso g’Olukiiko
57 (A)Awo ekibiina ne kitwala Yesu ewa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya gye baali bakuŋŋaanidde. 58 (B)Mu kiseera ekyo ne Peetero yali agoberera kyokka ng’ali walako emabega w’ekibiina; n’atuuka mu luggya lw’ennyumba ya Kabona Asinga Obukulu, n’atuula awaali abaweereza ng’alinda okutegeera ebinaavaayo. 59 (C)Bakabona abakulu n’Abasaddukaayo bonna ne banoonya obujulizi obw’obulimba ku Yesu obunamuweesa ekibonerezo eky’okufa. 60 (D)Kyokka ne bafunayo batono ab’obujulirwa obw’obulimba. N’evumbukayo babiri 61 (E)abeesimbawo okugamba nti, “Omuntu ono yagamba nti, ‘Nsobola okumenyawo Yeekaalu ya Katonda, ate ne ngizimba ne ngimalira mu nnaku ssatu.’ ”
62 Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino abasajja bano bye bakuloopa?” 63 (F)Naye Yesu n’asirika busirisi.
Ate Kabona Asinga Obukulu, n’amuddira ng’amugamba nti, “Nkulagira, mu linnya lya Katonda omulamu otutegeeze obanga Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.”
64 (G)Yesu n’addamu nti, “Okyogedde. Naye mbagamba nti, okuva ne kaakano mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’akomawo ku bire eby’eggulu.” 65 (H)Kabona Asinga Obukulu, n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Kuno kuvvoola! Ate kati tukyetaagira ki abajulirwa abalala? Mwenna mumuwulidde ng’akyogera! 66 (I)Mumusalira mutya?” Ne baddamu nti, “Gumusinze! Asaanidde kufa!”
67 (J)Olwo ne bawandira Yesu amalusu mu maaso, abamu ne bamukuba ebikonde ne bamukuba empi, 68 (K)nga bwe bamugamba nti, “Tutegeeze, Kristo, akukubye y’aluwa?”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.