Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 116

116 (A)Mukama mmwagala,
    kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
(B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
    kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

(C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
    n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
    ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
(D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
    “Ayi Mukama, ndokola.”

(E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
    Katonda waffe ajjudde okusaasira.
(F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
    bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

(G)Wummula ggwe emmeeme yange,
    kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
(H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
    n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
    n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
(I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
    mu nsi ey’abalamu.

10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
    “Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
    “Abantu bonna baliraba.”

12 Mukama ndimusasula ntya
    olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
    onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
    nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
    wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.

Zeffaniya 3:14-20

Oluyimba olw’Essanyu

14 (A)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
    yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
    ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (B)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
    agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
    tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (C)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
    “Totya, ggwe Sayuuni;
    emikono gyo gireme okuddirira.
17 (D)Mukama Katonda ali naawe,
    ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
    alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
    alikusanyukira n’okuyimba.”

18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
    ndigibaggyako;
    kubanga kibafuukidde omugugu.
19 (E)Laba, mu biro ebyo ndibonereza
    abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
    ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
    mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 (F)Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
    mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
    mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
    nga mulaba,”
    bw’ayogera Mukama.

Makko 15:47-16:7

47 (A)Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.

16 (B)Oluvannyuma lwa Ssabbiiti, Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo, ne bagula ebyakaloosa eby’okusiiga omulambo gwa Yesu. Mu makya nnyo ku lunaku olusooka olwa wiiki ng’enjuba yaakavaayo, ne bagenda nabyo ku ntaana. (C)Awo ne bagenda nga bwe beebuuzaganya gye banaggya omuntu anaabayiringisiza ejjinja eddene lityo okuliggya ku mulyango gw’entaana.

Naye bwe baatuukawo, ne balaba ng’ejjinja lyayiringisiddwa. Ejjinja lyali ddene nnyo. (D)Bwe baayingira mu ntaana, ne balaba omusajja omuvubuka, ng’ayambadde engoye enjeru, ng’atudde ku ludda olwa ddyo! Ne bawuniikirira nnyo!

(E)Naye n’abagamba nti, “Temutya. Munoonya Yesu, Omunnazaaleesi eyakomererwa. Wano taliiwo! Azuukidde. Mulabe, omulambo gwe we gwali gugalamiziddwa. (F)Kale mugende mutegeeze abayigirizwa be, ne Peetero, ebigambo bino nti, ‘Yesu abakulembeddemu okugenda e Ggaliraaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe yabagamba.’ ”

Zabbuli 30

Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.

30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
    kubanga wannyimusa;
    n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
(B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
    n’omponya.
(C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
    n’omponya ekinnya.

(D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
    mutendereze erinnya lye ettukuvu.
(E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
    naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
    essanyu ne lijja nga bukedde.

Bwe namala okunywera
    ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
(F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
    wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
    ne neeraliikirira.
Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
    ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
(G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
    ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
    n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
    Ayi Mukama, onnyambe.”

11 (H)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
    onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12 (I)Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.
    Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Zabbuli 149

149 (A)Mutendereze Mukama!

Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
    mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.

(B)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
    n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
(C)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
    bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
(D)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
    n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
(E)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
    bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.

(F)Batenderezenga Katonda waabwe,
    bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
bawoolere eggwanga,
    babonereze n’amawanga,
bateeke bakabaka baago mu njegere,
    n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
(G)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
    Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.

Mutendereze Mukama.

2 Abakkolinso 1:3-7

(A)Katonda oyo Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow’okusaasira era Katonda azaamu bonna amaanyi yeebazibwe, (B)atuzaamu amaanyi mu kubonaabona kwonna kwe tuyitamu, tulyoke tugumye abalala abayita mu kubonaabona okwa buli ngeri, olw’okugumya kwe tufuna nga Katonda atuzaamu amaanyi. (C)Kubanga nga bwe tugabana ku kubonaabona kwa Kristo, ne Kristo bw’atyo bw’atuzzaamu amaanyi. (D)Bwe tubonaabona, tubonaabona mulyoke muzibwemu amaanyi era mulokolebwe; oba ne bwe tuba nga tuzzibwamu endasi nammwe muzibwamu endasi, mulyoke mugumire okubonaabona kwe kumu kwe tuyitamu. (E)Essuubi lyaffe gye muli linywevu, nga tumanyi nti nga bwe mugabanira awamu naffe mu kubonaabona, bwe mutyo bwe mugabanira awamu naffe mu kuzibwamu amaanyi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.