Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 30

Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.

30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
    kubanga wannyimusa;
    n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
(B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
    n’omponya.
(C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
    n’omponya ekinnya.

(D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
    mutendereze erinnya lye ettukuvu.
(E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
    naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
    essanyu ne lijja nga bukedde.

Bwe namala okunywera
    ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
(F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
    wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
    ne neeraliikirira.
Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
    ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
(G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
    ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
    n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
    Ayi Mukama, onnyambe.”

11 (H)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
    onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12 (I)Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.
    Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Zabbuli 32

Zabbuli ya Dawudi.

32 (A)Alina omukisa oyo
    asonyiyiddwa ebyonoono bye
    ekibi ne kiggyibwawo.
(B)Alina omukisa omuntu oyo
    Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
    ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

(C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
    ne nkogga,
    kubanga nasindanga olunaku lwonna.
(D)Wambonerezanga
    emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
    ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.

(E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
    ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
    “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
    n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

(F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
    bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
    ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
(G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
    ononkuumanga ne situukwako kabi
    era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

(H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
    nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
(I)Temubeeranga ng’embalaasi
    oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
    ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
    naye abeesiga Mukama bakuumirwa
    mu kwagala kwe okutaggwaawo.

11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
    era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

Zabbuli 42-43

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
    omponye eggwanga eritatya Katonda
    ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
(K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
    Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
    nga nnyigirizibwa omulabe?
(L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
    binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
    mu kifo mw’obeera.
(M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
    eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
    Ayi Katonda, Katonda wange.

(N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era Katonda wange.

Yoswa 6:1-14

Ekibuga Yeriko kizingizibwa

(A)Ekibuga Yeriko kyali kigaddwawo ng’enzigi zonna zisibiddwa be gulugulu olw’okutya Abayisirayiri era nga tewali afuluma wadde ayingira. (B)Mukama n’agamba Yoswa nti, “Laba, Yeriko ne kabaka waakyo n’abasajja baamu bakirimaanyi mbawaddeyo mu mukono gwammwe. Basajja bammwe abalwanyi bonna bajja ku kyetooloolanga omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. (C)Bakabona musanvu bajja kwambaliranga amakondeere agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume, nga bakulembedde Essanduuko. Ku lunaku olw’omusanvu balyetooloola ekibuga emirundi musanvu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe. (D)Olunaawulira amakondeere nga gavuga, Abayisirayiri bonna baleekaanire waggulu era amangwago ekisenge kya bbugwe ekyetoolodde kineegonnomola wansi; amangwago Abayisirayiri bonna beefubitike ekibuga.”

Bw’atyo Yoswa mutabani wa Nuuni n’ayita bakabona n’abagamba nti, “Musitule Essanduuko ey’Endagaano ne bakabona musanvu bakulembere Essanduuko ya Mukama nga bambalidde amakondeere musanvu agaakolebwa mu mayembe g’endiga ennume.” (E)N’alagira Abayisirayiri nti, “Mweyongere mu maaso, mwetooloole ekibuga abalina ebyokulwanyisa nga bakulembeddemu Essanduuko ya Mukama.”

Nga Yoswa bwe yabakalaatira, bwe batyo bakabona omusanvu ne bakulemberamu nga bwe bafuuwa amakondeere gaabwe omusanvu ezaakolebwa mu mayembe g’endiga eza sseddume, eno nga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama bw’ebavaako emabega. (F)Abasajja abambalidde ebyokulwanyisa ne bakulemberamu bakabona ab’amakondeere, olwo eggye ery’emabega ne ligoberera Essanduuko ng’eno amakondeere bwe ganyaanyaagira. 10 (G)Awo Yoswa n’alagira Abayisirayiri nti, “Temuleekaana wadde okwogerera waggulu, mutambule kasirise okutuusa ku lunaku olwo lwe ndibalagira.” 11 Bw’etyo Essanduuko ya Mukama ne yeetooloozebwa ekibuga omulundi gumu olunaku olwo, ne beddirayo mu lusiisira lwabwe ne beebaka.

12 Yoswa n’akeera nnyo mu makya, ne bakabona ne basitula Essanduuko ya Mukama, 13 ne bakabona omusanvu abafuuyi b’amakondeere ne batambula, abalwanyi nga babakulembedde, eggye ery’emabega lyo nga ligoberera Essanduuko ya Mukama, eno amakondeere nga bwe gafuuyibwa. 14 Ku lunaku olwokubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira. Ne bakola bwe batyo okumala ennaku mukaaga.

Abaruumi 13:1-7

13 (A)Buli muntu awulirenga abafuzi, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda, era n’abafuzi abaliwo Katonda ye yabalonda. Noolwekyo abawakanya abafuzi, bawakanya buyinza bwa Katonda. Era baba bawakanya kiragiro kye, bwe batyo ne beereetako bokka omusango. (B)Kubanga abafuzi baba tebalwanyisa bikolwa birungi naye ebibi. Oyagala obutakangibwa wa buyinza, kola bulungi osiimibwe, (C)kubanga muweereza wa Katonda ku lw’obulungi bwo. Naye bw’onookolanga ekibi, osaanidde otye kubanga ekitala ky’alina si kya bwereere, kubanga muweereza wa Katonda awoolera eggwanga eri oyo akola ekibi. Noolwekyo kibagwanira okuba abawulize, si lwa busungu bwokka, naye n’olw’okumanya nga kye kituufu.

Era kyemuva muwa omusolo kubanga abakozi abo baweereza ba Katonda nga banyiikirira emirimu gyabwe. (D)Abantu bonna basasulenga ebibabanjibwa; musasulenga emisolo eri abo be muteekwa okuwa omusolo, n’ow’empooza mumuwenga empooza; n’oyo ateekwa okutiibwa mumutyenga, n’oyo ateekwa okuweebwa ekitiibwa mumuwenga ekitiibwa.

Matayo 26:26-35

26 (A)Bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati n’agusabira omukisa, n’agumenyaamenyamu n’agabira abayigirizwa be, n’agamba nti, “Mutoole mulye, kubanga guno gwe mubiri gwange.”

27 Bw’atyo n’asitula ekikompe, ne yeebaza Katonda, n’abawa ng’agamba nti, “Munywe ku kino mwenna, 28 (B)kubanga guno gwe musaayi gwange ogw’endagaano oguyiika ku lw’abantu abangi, olw’okusonyiyibwa ebibi. 29 (C)Era mbagamba nti, Sigenda kuddayo kunywa ku kibala kino okutuusa ku lunaku olwo lwe ndikinywa nammwe nga kiggya mu bwakabaka bwa Kitange.”

30 (D)Bwe baamala okuyimbayo oluyimba ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana

31 (E)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ekiro kya leero mwenna mujja kunjabulira.

“Kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Ndikuba omusumba
    n’endiga z’omu kisibo kye ne zisaasaana.’

32 (F)Naye bwe ndimala okuzuukizibwa ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.” 33 Peetero n’amuddamu nti, “Abalala bonna bwe banaakwabulira, nze sijja kukwabulira.”

34 (G)Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti, Mu kiro kino kyennyini enkoko eneeba tennakookolima, onooneegaana emirundi esatu.” 35 (H)Peetero n’amugamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abayigirizwa be abalala bonna ne boogera bwe batyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.