Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
2 (B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
3 (C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
4 (D)Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
5 (E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
6 (F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.
7 (G)Siriikirira awali Mukama,
ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
8 (H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
9 (I)Kubanga ababi balisalibwako,
naye abeesiga Mukama baligabana ensi.
10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.
12 (L)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
ne babalumira obujiji.
13 (M)Naye Mukama asekerera ababi,
kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.
14 (N)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (O)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.
16 (P)Ebitono omutuukirivu by’alina
bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (Q)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.
18 (R)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.
20 (S)Naye ababi balizikirira;
abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.
21 (T)Ababi beewola, ne batasasula;
naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (U)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
naye abo b’akolimira balizikirizibwa.
23 (V)Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
aluŋŋamya entambula ye.
24 (W)Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.
25 (X)Nnali muto kati nkaddiye,
naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 (Y)Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
27 (Z)Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 (AA)Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 (AB)Abatuukirivu baligabana ensi
ne babeeranga omwo emirembe gyonna.
30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 (AC)Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
era ebigere bye tebiseerera.
32 (AD)Omubi ateega omutuukirivu
ng’anoonya okumutta,
33 (AE)naye Mukama taliganya babi kuwangula,
wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.
34 (AF)Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
ababi bwe balisalirwako olikitegeera.
35 (AG)Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 (AH)naye teyalwawo n’abula,
ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.
Mukama Ayisa Abayisirayiri mu Mugga Yoludaani
14 (A)Awo Abayisirayiri ne basimbula weema zaabwe okusomoka Yoludaani nga bakulembeddwamu bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama. 15 (B)Omugga Yoludaani gwanjaala mu kiseera eky’amakungula kyonna. Mu kiseera ekyo bakabona abasitudde Essanduuko we baalinnyira ebigere byabwe ku Yoludaani. 16 (C)Amangwago amazzi agaali gakulukuta ne gayimirira ne geetuuma eri ewala okuliraana ekibuga Adamu ku ludda lwa Zaresaani. N’ago agaali gaserengeta okweyiwa mu Araba Ennyanja ey’Omunnyo ne gasalikako, abantu ne basomokera Yoludaani ku ttaka ekkalu, mu maaso ga Yeriko. 17 (D)Bakabona abasitudde Essanduuko ya Mukama ne bayimirira wakati mu Yoludaani awatakyali mazzi okutuusa Abayisirayiri bonna lwe baasomoka.
Amayinja Ekkumi n’Abiri ag’Ekijjukizo
4 (E)Awo Abayisirayiri bonna bwe baamala okusomoka omugga Yoludaani, Mukama n’agamba Yoswa nti, 2 (F)“Yungula abasajja kkumi na babiri mu buli kika ng’olondamu omu omu.” 3 (G)Obakuutire nti, “Mulonde amayinja kkumi n’abiri nga mugaggya wakati mu mugga Yoludaani awo wennyini bakabona we balinnye ebigere byabwe, mugende nago okutuukira ddala we munaasula ekiro kino.”
4 Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri be yalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, n’abagamba nti, 5 “Mukulembere mu maaso g’Essanduuko ya Mukama Katonda wammwe era buli omu ku mmwe alonde ejjinja limu ng’aliggya mu mugga guno Yoludaani alyetikke ku kibegabega kye. 6 (H)Kano kalyoke kababeerere akabonero gye muli era mu mirembe ejijja, abaana bammwe bwe balibabuuza amayinja gano kye gategeeza, 7 (I)mulibagamba nti essanduuko y’Endagaano ya Mukama bwe yali ng’esomosebwa omugga Yoludaani, amazzi gaagwo ne geetuuma ng’ogusenge okutuusa Essanduuko bwe yamala okuyisibwawo. Kale amayinja gano, Abayisirayiri galibabeerera ekijjukizo emirembe gyonna.”
Ssaddaaka Ennamu
12 (A)Noolwekyo abooluganda mbeegayirira olw’okusaasira kwa Katonda, muwengayo emibiri gyammwe nga ssaddaaka ennamu entukuvu esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw’omwoyo. 2 (B)So temwefaananyirizanga ba mirembe gino, naye mukyusibwe olw’okudda obuggya mu birowoozo byammwe okukakasibwa okusiimibwa kwa Katonda, okusanyusa era okw’amazima.
3 (C)Kubanga njogera olw’ekisa kye naweebwa, eri buli muntu mu mmwe, obuteerowooza okusinga ekyo ky’asaanidde okulowooza, naye okulowoozanga nga yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky’okukkiriza. 4 (D)Kubanga nga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu, ebitundu ebyo byonna bikola emirimu gya njawulo. 5 (E)Noolwekyo nga bwe tuli omubiri ogumu mu Kristo, buli muntu kitundu ku mubiri ogumu ogwo. 6 (F)Tulina ebirabo, ng’ekisa kye tulina bwe kyatuweebwa mu ngeri ey’enjawulo, oba bunnabbi, ng’ekigera ky’okukkiriza bwe kiri, 7 (G)oba buweereza, mu buweereza, oba omu okuyigiriza, mu kuyigiriza; 8 (H)oba omulala okugumya banne mu kubazzaamu amaanyi, oba omulala mu kugaba, oba omulala, okufuga n’obunyiikivu, n’omulala okulaga ekisa nga musanyufu.
Olukwe olw’Okutta Yesu
26 (A)Awo Yesu bwe yamala okwogera ebyo byonna, n’agamba abayigirizwa be nti, 2 (B)“Nga bwe mumanyi, ebulayo ennaku bbiri tutuuke ku mbaga ey’Okuyitako. Omwana w’Omuntu aliweebwayo akomererwe.”
3 (C)Mu kiseera ekyo kyennyini, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya baali bakuŋŋaanye mu lubiri lwa Kayaafa, Kabona Asinga Obukulu, 4 (D)nga bakola olukwe mwe banaayita okukwata Yesu bamutte. 5 (E)Naye baasalawo kireme kubaawo mu kiseera eky’Embaga, si kulwa nga wabaawo akeegugungo mu bantu.
6 (F)Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Simooni Omugenge e Besaniya, 7 ng’ali ku mmeeza, omukazi n’ajja gy’ali ng’alina eccupa y’amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi,[a] n’agafuka ku mutwe gwa Yesu.
8 Abayigirizwa be bwe baakiraba ne banyiiga. Ne bagamba nti, “Lwaki okwonoona amafuta ag’omuwendo gatyo! 9 Kubanga yandisobodde okugatundamu ensimbi nnyingi n’azigabira abaavu.”
10 Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’abagamba nti, “Lwaki mutawanya omukazi? Ankoledde ekintu ekirungi. 11 (G)Bulijjo abaavu muli nabo, naye nze sijja kuba nammwe bulijjo. 12 (H)Anfuseeko amafuta gano okuteekateeka omubiri gwange okuguziika. 13 Ddala ddala mbagamba nti, bulijjo ajjanga kujjukirwa olw’ekikolwa kino. Ekikolwa ky’omukazi ono kijjanga kwogerwako wonna wonna mu nsi Enjiri gy’eneebuulirwanga.”
14 (I)Awo Yuda Isukalyoti omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri n’agenda eri bakabona abakulu. 15 (J)N’ababuuza nti, “Munampa ki okubalaga Yesu mulyoke mumukwate?” Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza amakumi asatu. 16 Okuviira ddala mu kiseera ekyo Yuda n’anoonya akakisa konna alyemu Yesu olukwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.