Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 1-4

EKITABO I

Zabbuli 1–41

(A)Alina omukisa omuntu
    atatambulira mu kuteesa kw’ababi,
era atayimirira mu kibiina ky’ababi,
    newaakubadde okutuula n’abo abanyooma ebya Katonda.
(B)Naye asanyukira okugondera amateeka ga Mukama,
    era mu mateeka ago mw’alowooleza emisana n’ekiro.
(C)Afaanana ng’omuti ogwasimbibwa ku mabbali g’omugga,
    ogubala ebibala byagwo mu ntuuko zaabyo,
n’ebikoola byagwo tebiwotoka.
    Na buli ky’akola kivaamu birungi byereere.

(D)Naye abakola ebibi tebakola bwe batyo.
    Bali ng’ebisusunku ebifuumuuliddwa.
(E)Noolwekyo abakola ebibi tebaligumira lunaku lwa kusalirako musango;
    newaakubadde aboonoonyi okuyimirira mu kibiina ky’abatuukirivu.

(F)Kubanga Mukama alabirira ekkubo ly’abatuukirivu,
    naye ekkubo ly’abakola ebibi liribula.
(G)Lwaki amawanga geegugunga
    n’abantu ne bateganira obwereere okusala enkwe?
(H)Bakabaka ab’ensi bakuŋŋaanye,
    n’abafuzi ne bateeseza wamu
ku Mukama
    ne ku Kristo we, nga bagamba nti,
(I)“Ka tukutule enjegere zaabwe,
    era tweyambulemu ekikoligo kyabwe.”

(J)Naye Katonda oyo atuula mu ggulu,
    abasekerera busekerezi, n’enkwe zaabwe ezitaliimu zimusesa.
(K)N’alyoka abanenya ng’ajjudde obusungu,
    n’abatiisa nnyo ng’aswakidde.
N’abagamba nti, “Ddala ddala nateekawo kabaka owange
    ku lusozi lwange Sayuuni olutukuvu.”

(L)Nzija kulangirira ekiragiro kya Mukama:

kubanga yaŋŋamba nti, “Ggwe oli Mwana wange,
    olwa leero nfuuse kitaawo.
(M)Nsaba,
    nange ndikuwa amawanga gonna okuba obusika bwo,
    era n’ensi yonna gy’ekoma okuba amatwale go.
(N)Olibafugisa omuggo ogw’ekyuma,
    era olibabetenta ng’entamu y’omubumbi.”

10 Kale nno mubeere n’amagezi mmwe bakabaka;
    muyige okulabulwa mmwe abafuzi b’ensi.
11 (O)Muweereze Mukama nga mumutya,
    era musanyuke n’okukankana.
12 (P)Mwanirize Omwana, mumusembeze Mukama aleme okubasunguwalira
    n’okubazikiriza nga muli mu kkubo lyammwe;
kubanga obusungu bwe bubuubuuka mangu.
    Kyokka bonna abaddukira gy’ali balina omukisa.

Zabbuli ya Dawudi bwe yadduka mutabani we Abusaalomu.

Ayi Mukama, abalabe bange nga beeyongedde obungi!
    Abanfubutukiddeko okunnumba nga bangi!
(Q)Bangi abanjogerako nti,
    “Katonda tagenda kumununula.”

(R)Naye ggwe, Ayi Mukama, ggwe ngabo yange enkuuma;
    ggwe kitiibwa kyange, era gw’onzizaamu amaanyi.
(S)Nkoowoola Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka,
    n’annyanukula ng’asinziira ku lusozi lwe olutukuvu.

(T)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
    kubanga Mukama ye ampanirira.
(U)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
    abanneetoolodde, okunnumba.

(V)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

(W)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
    Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Ya mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

(X)Bwe nkukoowoola onnyanukule,
    Ayi Katonda wange omutuukirivu.
Bwe mba mu nnaku, onnyambe.
    Onkwatirwe ekisa owulire okusaba kwange.

(Y)Mmwe abaana b’abantu, mulituusa wa okuswazanga ekitiibwa kyange?
    Mulituusa ddi okugoberera okwagala ebitaliimu, n’okunoonya eby’obulimba?
(Z)Naye mutegeere nga Mukama yeerondeddemu abo abamugondera.
    Bwe nnaamukoowoolanga anampuliranga era anannyanukulanga.

(AA)Ne bwe munyiiga ennyo, temusaana kwonoona; musiriikirire,
    mwekebere era mufumiitirize mu mitima gyammwe nga mugalamidde ku bitanda byammwe.
(AB)Muweeyo ebiweebwayo ebisaanidde;
    era mwesigenga Mukama.

(AC)Waliwo bangi abasaba nti, “Oyongere okutulaga ebirungi, Ayi Mukama,
    otumulisize omusana gw’amaaso go.”
(AD)Ondeetedde essanyu lingi mu mutima gwange
    erisinga ne lye bafuna mu makungula nga batunuulira ku bibala byabwe ebingi.

(AE)Nnaagalamira ne nneebaka mirembe;
    kubanga ggwe wekka, Ayi Mukama,
    ggwe ondabirira akabi ne katantuukako.

Zabbuli 7

Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.

(A)Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
    ngobaako bonna abangigganya era omponye,
(B)si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
    ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.

(C)Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
    era ng’engalo zange ziriko omusango,
obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
    oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
    bankube wansi banninnyirire,
    banzitire mu nfuufu.

(D)Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
    Golokoka, Ayi Katonda wange,
    onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
    obafuge ng’oli waggulu ennyo.
    (E)Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
    asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
    era n’amazima agali mu nze bwe gali.
(F)Ayi Katonda omutukuvu,
    akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
    era onyweze abatuukirivu.

10 (G)Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
    alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 (H)Katonda mulamuzi wa mazima;
    era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 (I)Mukama awagala ekitala kye
    n’aleega omutego gwe
    ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
    era akozesa obusaale obw’omuliro.

14 (J)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
    n’azaala obulimba.
15 (K)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
    ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
    n’obukambwe bwe bumuddire.

17 (L)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
    nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Okubala 32:1-6

Ekika kya Lewubeeni n’ekya Gaadi Bituula mu Gireyaadi

32 (A)Batabani ba Lewubeeni ne batabani ba Gaadi baalina amagana g’ente n’ebisibo by’endiga; ebisolo byabwe nga bingi nnyo. Baatunuulira ensi ya Yazeri n’ensi ya Gireyaadi, ne balaba ng’ekitundu ekyo kituufu okulundiramu ebisolo byabwe. Ne bajja awali Musa ne Eriyazaali kabona, n’eri abakulembeze b’ekibiina ne babagamba nti, (B)“Ebitundu bino: Atalisi, ne Diboni, ne Yazeri, ne Nimula, ne Kesuboni, ne Ereyale, ne Sebamu, ne Nebo ne Beoni, (C)bye bitundu by’ensi Mukama Katonda gye yawangulira mu maaso g’abaana ba Isirayiri, nsi nnungi okulundiramu; ate ng’abaweereza bammwe tulina ebisolo byaffe bingi.” Ne bagamba nti, “Bwe kuba nga kwe kusiima kwammwe, mukkirize ebitundu by’ensi bino bituweebwe, ffe abaweereza bammwe, bibeere obutaka bwaffe. Temutusomosa Yoludaani.”

Musa n’agamba batabani ba Gaadi ne batabani ba Lewubeeni nti, “Mwagala baganda bammwe bagende batabaale, nga mmwe mwetuulidde wano?

Okubala 32:16-27

Ebika Ebirala Bigabana ku Bugwanjuba bwa Yoludaani

16 (A)Ne bamusemberera ne bamuddamu nti, “Twagala tuzimbe wano ebiraalo eby’ebisibo by’ebisolo byaffe, tuzimbe n’ebigo eby’abaana baffe abato. 17 (B)Naye ffe tubagalire ebyokulwanyisa, tukulembere abaana ba Isirayiri tubatuuse mu bifo byabwe. Olwo abaana baffe abato balisigala mu bibuga bye tuzimbyeko ebigo ebinywevu, kubanga mu nsi muno mulimu abantu baamu. 18 (C)Tetugenda kudda mu maka gaffe okutuusa ng’abaana ba Isirayiri buli omu amaze okuweebwa obutaka bwe. 19 (D)Ffe tetugenda kugabana nabo ku butaka obwo obuli emitala wa Yoludaani n’okweyongerayo; kubanga obutaka bwaffe tuliba tubufunye ku ludda luno olwa Buvanjuba bwa Yoludaani.”

20 (E)Awo Musa n’abagamba nti, “Bwe munaakola bwe mutyo, ne mukwata ebyokulwanyisa mu maaso ga Mukama Katonda nga mwetegekedde olutalo, 21 ne musomoka Yoludaani n’ebyokulwanyisa byammwe mu maaso ga Mukama Katonda, okutuusa ng’agobye abalabe be mu maaso ge, 22 (F)n’ensi ng’ewanguddwa mu maaso ga Mukama Katonda, olwo muliyinza okukomawo nga temuliiko kya kuvunaanyizibwa eri Mukama n’eri Isirayiri. Ekitundu ky’ensi kino ne kibeera omugabo gwammwe mu maaso ga Mukama.

23 (G)“Naye bwe mutalikola bwe mutyo, muliba musobezza nnyo awali Mukama Katonda, era mutegeerere ddala ng’ekibi kyammwe ekyo kiribayigga ne kibakwasa. 24 (H)Kale muzimbire abaana bammwe abato ebibuga eby’ebigo ebinywevu, n’ebisolo byammwe mubizimbire ebiraalo, era mukole n’ebyo bye musuubizza.”

25 Abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti, “Ffe abaweereza bo tujja kukola nga ggwe mukama waffe bw’otulagidde. 26 (I)Abaana baffe abato ne bakazi baffe, n’ebisibo byaffe eby’endiga n’ebiraalo byaffe eby’ente byonna bijja kusigala wano mu bibuga bya Gireyaadi. 27 Naye abaweereza bo, buli musajja eyeewaddeyo okutabaala ajja kusomoka alwanire mu maaso ga Mukama Katonda, nga ggwe mukama waffe bw’ogambye.”

Abaruumi 8:26-30

26 (A)N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka. 27 (B)Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli. 28 (C)Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi. 29 (D)Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi. 30 (E)Abo be yalonda, n’okubayita yabayita, n’abo be yayita, yabawa obutuukirivu, n’abo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.

Matayo 23:1-12

23 Awo Yesu n’ayogera eri ebibiina n’abayigirizwa be ng’agamba nti, (A)“Abawandiisi n’Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa. Noolwekyo mukole era mwekuume buli kye babagamba wabula temugoberera bikolwa byabwe. Kubanga boogera naye ne batakola bye bagamba. (B)Basiba emigugu emizito ne bagitikka abalala, so nga bo n’okugezaako tebagezaako kukwatako n’engalo yaabwe.

(C)“Buli kye bakola bakikola abantu babalabe. Bambala ku mikono gyabwe obusawo[a] omuli ennyiriri eziva mu Byawandiikibwa, ne bawanvuya amatanvuuwa ku byambalo byabwe, agajjukiza abagambala okudda eri Mukama, nga babikola okulaga ababalaba. (D)Baagala nnyo ebifo eby’oku mwanjo ku mbaga, ne mu bifo eby’ekitiibwa mu makuŋŋaaniro. (E)Banyumirwa nnyo okuweebwa ekitiibwa mu butale n’okuyitibwa ‘Labbi.’

“Temweyitanga ‘Labbi[b] ,’ kubanga Katonda yekka ye Muyigiriza wammwe, naye mmwe muli baaluganda. (F)Era temuyitanga muntu yenna ku nsi ‘Kitammwe,’ kubanga Katonda ali mu ggulu ye yekka gwe muteekwa okuyita bwe mutyo. 10 Era temuganyanga muntu yenna kubayita ‘bayigiriza,’ kubanga omuyigiriza wammwe ali omu yekka, ye Kristo. 11 (G)Oyo ayagala abantu okumussaamu ekitiibwa. Asaana abeere muweereza waabwe. 12 (H)Naye buli alyegulumiza alikkakkanyizibwa, na buli alyetoowaza aligulumizibwa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.