Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

140 (A)Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,
    omponye abantu abakambwe;
(B)abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;
    abanoonya entalo buli kiseera.
(C)Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;
    ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

(D)Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;
    omponye abantu abakambwe
    abateesa okunkyamya.
(E)Abantu ab’amalala banteze omutego;
    banjuluzza ekitimba kyabwe;
    ne batega emitego mu kkubo lyange.

(F)Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”
    Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!
(G)Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,
    ggwe engabo yange mu lutalo.
(H)Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,
    era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;
    baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

(I)Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe
    zibeekyusizeeko baboneebone.
10 (J)Amanda agaaka omuliro gabagwire;
    basuulibwe mu muliro,
    bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.
11 (K)Tokkiriza balimba kweyongera bungi;
    abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12 (L)Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.
13 (M)Abatuukirivu banaakutenderezanga,
    era w’oli we banaabeeranga.

Zabbuli 142

Okusaba kwa Dawudi bwe yali mu mpuku.

142 (A)Nkaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka;
    neegayirira Mukama ansaasire.
(B)Mmutegeeza byonna ebinneemulugunyisa,
    ne mmwanjulira ebinteganya byonna.

(C)Omwoyo gwange bwe gunnennyika,
    gw’omanyi eky’okunkolera.
Banteze omutego mu kkubo lyange mwe mpita.
(D)Bwe ntunula ku mukono gwange ogwa ddyo, sirabayo anambeera;
    sirina wa kwekweka, era tewali n’omu anfaako.

(E)Nkaabirira ggwe, Ayi Mukama,
    nga ŋŋamba nti, “Ggwe kiddukiro kyange,
    ggwe mugabo gwange mu nsi muno.”

(F)Owulire okukaaba kwange,
    kubanga njeezebwa nnyo!
Mponya abanjigganya,
    kubanga bansinza nnyo amaanyi.
(G)Nziggya mu kkomera,
    ndyoke nkwebaze nga ntendereza erinnya lyo.
Abatuukirivu balinneetooloola,
    ng’onkoledde ebyekisa ekingi ebingi.

Zabbuli 141

Zabbuli Ya Dawudi.

141 (A)Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
    Owulire eddoboozi lyange, nga nkukoowoola.
(B)Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
    n’okugolola emikono gyange gy’oli kubeere nga ssaddaaka ey’akawungeezi.

Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
    era bwe njogera onkomeko.
(C)Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
    n’okwemalira mu bikolwa ebibi;
nneme okwetaba n’abantu abakola ebitali bya butuukirivu,
    wadde okulya ku mmere yaabwe.

(D)Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
    muleke annenye, ekyo kinaaba ng’amafuta amalungi agafukiddwa ku mutwe gwange;
    sijja kugagaana.
Naye nnaasabanga bulijjo nga sikkiriziganya na babi wadde n’ebikolwa byabwe.
    Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
    olwo ne balyoka bayiga nti ebigambo byange bya mazima.
(E)Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
    n’amagumba gaffe bwe galisaasaanyizibwa bwe gatyo mu kamwa k’emagombe.”

(F)Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
    mu ggwe mwe neekwese, tondeka nga sirina anambeera!
(G)Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
    n’ebitimba by’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
10 (H)Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.

Zabbuli 143

Zabbuli Ya Dawudi.

143 (A)Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama,
    wulira okwegayirira kwange!
Ggwe omwesigwa
    era omutuukirivu jjangu ombeere.
(B)Tonsalira musango,
    kubanga mu maaso go tewali n’omu atuukiridde.
Omulabe wange angoba n’ankwata n’ansuula wansi;
    anteeka mu kizikiza ne nfaanana ng’abaafa edda.
(C)Noolwekyo omwoyo gwange guweddemu endasi,
    n’omutima gwange gwennyise.
(D)Nzijukira ennaku ez’edda,
    ne nfumiitiriza ku ebyo bye wakola byonna,
    ne ndowooza ku mirimu gy’emikono gyo.
(E)Ngolola emikono gyange gy’oli,
    ne nkuyaayaanira ng’ettaka ekkalu bwe liyaayaanira enkuba.

(F)Yanguwa okunziramu, Ayi Mukama,
    kubanga omwoyo gwange guggwaamu amaanyi.
Tonkisa maaso go,
    nneme okufaanana ng’abafu.
(G)Obudde nga bukedde, nsaba ondage okwagala kwo okutaggwaawo;
    kubanga ggwe gwe neesiga.
Njigiriza ekkubo lye nsaana okutambuliramu,
    kubanga omwoyo gwange gwonna guli gy’oli.
(H)Mponya, Ayi Mukama, abalabe bange,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
10 (I)Njigiriza okukola by’oyagala,
    kubanga ggwe Katonda wange!
Omwoyo wo omulungi ankulembere,
    antambulize mu kkubo eddungi ery’omuseetwe.

11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama, onkuume,
    mu butuukirivu bwo onzigye mu kabi.
12 (K)Omalewo abalabe bange olw’okwagala kwo,
    ozikirize n’abanjigganya bonna,
    kubanga nze ndi muddu wo.

Okubala 24:1-13

24 (A)Awo Balamu bwe yalaba nga Mukama Katonda asiimye okuwa Isirayiri omukisa, n’ataddayo kunoonya bya bulaguzi, nga bwe yakola ku mirundi emirala, naye n’ayolekeza amaaso ge eddungu. (B)Balamu n’alengera ewala, n’alaba Isirayiri gye yasiisira ng’ebika bwe byali, n’ajjirwa Omwoyo wa Katonda, n’alagula nti,

“Okulagula kwa Balamu mutabani wa Byoli,
    okulagula kw’omuntu azibuddwa amaaso,
(C)okulagula kw’oyo awulira ekigambo kya Katonda
    alaba okwolesebwa kw’Ayinzabyonna,
    eyeeyaze wansi, n’amaaso ge nga gatunula:

“Eweema zo nga nnungi, Ayi Yakobo,
    ebifo byo mw’obeera, Ayi Isirayiri!

(D)“Byeyaliiridde ng’ebiwonvu,
    ng’ennimiro ku mabbali g’omugga,
ng’emigavu egisimbiddwa Mukama
    ng’emivule egiri okumpi n’amazzi.
(E)Amazzi ganaakulukutanga mu bulobo bwabwe; ne gabooga
    ensigo zaabwe zirifunanga amazzi mangi.

“Kabaka waabwe aliba wa kitiibwa okukira Agagi
    obwakabaka bwabwe bunaagulumizibwanga.

(F)“Katonda ye yabaggya mu Misiri
    balina amaanyi nga aga sseddume ey’omu nsiko.
Basaanyaawo amawanga g’abalabe
    ne bamenyaamenya amagumba gaabwe mu butundutundu,
    ne babalasa n’obusaale bwabwe.
(G)Ng’empologoma ensajja, beekulula ne bagalamira wansi,
    ng’empologoma enkazi; ani ayaŋŋanga okubagolokosa?

“Akusabiranga omukisa aweebwenga omukisa
    n’oyo akukolimira akolimirwenga!”

10 (H)Awo obusungu bwa Balaki ne bubuubuukira ku Balamu. N’akuba mu ngalo omulundi gumu, n’amugamba nti, “Nakuyita okolimire abalabe bange, naye obasabidde mukisa emirundi gino gyonsatule. 11 (I)Kale nno situka oddeyo ewammwe! Nagamba nti nnandikuwadde ebitiibwa bingi, naye Mukama akuziyizza okuweebwa ebitiibwa ebyo.”

12 (J)Balamu n’agamba Balaki nti, “Ababaka bo be wantumira, saabagamba nti, 13 (K)‘Balaki ne bw’alimpa ennyumba ye ng’ejjudde zaabu ne ffeeza, sigenda kusukka kiragiro kya Mukama ne nkola ekyange ku bwange oba nga kirungi oba nga kibi, wabula nga ndyogera ebyo byokka Mukama by’alindagira okwogera?’

Abaruumi 8:12-17

12 Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira. 13 (A)Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa eby’omubiri, muliba balamu, 14 (B)kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. 15 (C)Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.” 16 (D)Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. 17 (E)Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

Matayo 22:15-22

Okuwa Kayisaali Omusolo

15 Awo Abafalisaayo ne bagenda ne bateesa engeri gye banaategamu Yesu bamukwase mu bigambo. 16 (A)Ne bamutumira abayigirizwa baabwe awamu n’Abakerodiyaani nga bagamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ng’oli mulungi, era oyigiriza mazima awatali kutya muntu yenna, kubanga tososola mu bantu. 17 (B)Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”[a]

18 Naye Yesu bwe yamanya obutali butuukirivu bwabwe, n’abagamba nti, “Bannanfuusi mmwe, Lwaki mungezesa? 19 Kale, mundeetere wano ku nsimbi ze muweesa omusolo ndabe.” Ne bamuleetera eddinaali. 20 N’ababuuza nti, “Kino ekifaananyi n’obuwandiike ebiriko by’ani?”

21 (C)Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”

22 (D)Bwe baawulira ebigambo ebyo ne beewuunya ne bamuleka ne bagenda.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.