Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 33

Zabbuli ya Dawudi.

33 (A)Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
    kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
(B)Mutendereze Mukama n’ennanga,
    mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
(C)Mumuyimbire oluyimba oluggya;
    musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.

(D)Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
    mwesigwa mu buli ky’akola.
(E)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
    Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

(F)Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
    n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
    agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
(G)Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
    n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
(H)kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
    n’alagira n’eyimirira nga nywevu.

10 (I)Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
    alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11 (J)Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
    n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.

12 (K)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
    ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (L)Mukama asinziira mu ggulu
    n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (M)asinziira mu kifo kye mw’abeera
    n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (N)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
    ne yeetegereza byonna bye bakola.

16 (O)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
    era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (P)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
    newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (Q)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
    abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (R)abawonya okufa,
    era abawonya enjala.

20 (S)Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,
    kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
21 (T)Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,
    kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
22 Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,
    Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.

Error: Book name not found: Sir for the version: Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Error: Book name not found: Sir for the version: Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yakobo 5:7-10

Okugumiikiriza

(A)Noolwekyo abooluganda mugumiikirize, okutuusa amadda ga Mukama waffe, ng’omulimi bw’agumiikiriza ng’alindirira enkuba eya ddumbi n’eya ttoggo okukuza ebibala bye biryoke byengere. (B)Mugumiikirize, era mugume omwoyo, kubanga amadda ga Mukama waffe gali kumpi. (C)Temwemulugunyizagananga mwekka na mwekka, muleme okusalirwa omusango, kubanga Omulamuzi ayimiridde ku luggi.

10 (D)Ekyokulabirako eky’okugumiikiriza n’okubonaabona, be bannabbi abaayogeranga mu linnya lya Mukama.

Zabbuli 107:1-32

EKITABO V

Zabbuli 107–150

107 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo;
    abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
(C)abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba,
    n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.

(D)Abamu baataataaganira mu malungu
    nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
Baalumwa ennyonta n’enjala,
    obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
(E)Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
(F)Yabakulembera butereevu
    n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
(G)Kubanga abalina ennyonta abanywesa,
    n’abayala abakkusa ebirungi.

10 (H)Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
11 (I)kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda,
    ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
12 (J)Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike;
    baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
13 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe,
    era n’abawonya;
14 (K)n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa;
    n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
15 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
16 Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa,
    n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.

17 (L)Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe;
    ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
18 (M)Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
19 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo,
    n’abawonya.
20 (N)Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe;
    n’abalokola mu kuzikirira.
21 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
22 (O)Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza,
    era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.

23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja;
    baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
24 Baalaba Mukama bye yakola,
    ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
25 (P)Kubanga yalagira omuyaga
    ne gusitula amayengo waggulu.
26 (Q)Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi;
    akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala;
    n’amagezi ne gabaggwaako.
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu;
    n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
29 (R)Omuyaga yagusirisa,
    ennyanja n’etteeka.
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka;
    n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo,
    n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
32 (S)Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye,
    era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.

Okubikkulirwa 21:1-7

Yerusaalemi Ekiggya

21 (A)Awo ne ndaba eggulu eriggya n’ensi empya. Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo nga n’ennyanja tekyaliwo. (B)Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe. (C)Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe. (D)Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

(E)Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti, “Laba, ebintu byonna mbizzizza buggya.” Era n’aŋŋamba nti, “Wandiika bino, kubanga bigambo bya bwesigwa era bya mazima!”

(F)N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.