Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:145-176

ק Koofu

145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
    Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
    nkwate ebiragiro byo.
147 (A)Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 (B)Seebaka ekiro kyonna
    nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
    ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
    kyokka bali wala n’amateeka go.
151 (C)Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
    era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 (D)Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
    nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

ר Leesi

153 (E)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
    kubanga seerabira mateeka go.
154 (F)Ompolereze, onnunule,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (G)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
    kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (H)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (I)Abalabe abanjigganya bangi,
    naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (J)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
    kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
    Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
    n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

161 (K)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
    naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (L)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
    ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
    naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
    olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (M)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
    tewali kisobola kubeesittaza.
166 (N)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
    mbyagala nnyo nnyini.
168 (O)Buli kye nkola okimanyi,
    era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

ת Taawu

169 (P)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
    ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (Q)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
    onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (R)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
    kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
    kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (S)Omukono gwo gumbeerenga,
    kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (T)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (U)Ompe obulamu nkutenderezenga,
    era amateeka go gampanirirenga.
176 (V)Ndi ng’endiga ebuze.
    Onoonye omuddu wo,
    kubanga seerabidde mateeka go.

Zabbuli 128-130

Oluyimba nga balinnya amadaala.

128 (A)Balina omukisa abatya Katonda;
    era abatambulira mu makubo ge.
(B)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
    oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
(C)Mu nnyumba yo,
    mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
    nga beetoolodde emmeeza yo.
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
    omuntu atya Mukama.

(D)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
    era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
    (E)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

129 (F)Isirayiri ayogere nti,
    “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
(G)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
    naye tebampangudde.
Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
    era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
(H)kyokka Mukama mutuukirivu;
    amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

(I)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
    era bazzibweyo emabega nga baswadde.
(J)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
    oguwotoka nga tegunnakula.
Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
(K)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
    “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
    Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Oluyimba nga balinnya amadaala.

130 (L)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
    (M)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
    eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

(N)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
    ani eyandiyimiridde mu maaso go?
(O)Naye osonyiwa;
    noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

(P)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
    era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
(Q)Emmeeme yange erindirira Mukama;
    mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
    okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.

(R)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
    kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
    era y’alina okununula okutuukiridde.
(S)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
    mu byonoono bye byonna.

Okubala 22:41-23:12

41 (A)Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali[a], n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.

Okulagula kwa Balamu Okusooka

23 (B)Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.” (C)Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

(D)Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.

(E)Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”

(F)Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”

(G)N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu. (H)Balamu n’alagula nti,

“Balaki ye yanzigya mu Alamu,
    kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba.
N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo;
    jjangu oboole Isirayiri.’
(I)Nnyinza okukolimira
    abo Mukama Katonda batakolimidde?
Nnyinza okuboola
    abo Mukama Katonda baatabodde?
(J)Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi
    mbalengera nga nsinziira ku nsozi.
Ndaba abantu abeeyawuddeko
    abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
10 (K)Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo,
    oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri?
Leka nfe okufa okw’omutuukirivu,
    n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”

11 (L)Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”

12 (M)N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”

Abaruumi 7:13-25

13 Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.

14 (A)Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi. 15 (B)Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola. 16 (C)Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi. 17 (D)Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze. 18 (E)Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola. 19 (F)Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola. 20 (G)Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

21 (H)Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi. 22 (I)Mu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda. 23 (J)Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange. 24 (K)Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa? 25 Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Nze kennyini mu birowoozo byange, ndi muddu w’amateeka ga Katonda era gwe mpeereza, newaakubadde ng’okwegomba kwange okw’omubiri, mpeereza etteeka ly’ekibi.

Matayo 21:33-46

Olugero olw’Abalimi

33 (A)“Muwulirize olugero olulala. Waaliwo omusajja ssemaka eyalina emizabbibu, n’agyetoolooza olukomera, n’asimamu essogolero, n’azimbamu n’omunaala, n’agipangisa abalimi, n’agenda olugendo. 34 (B)Ekiseera ky’amakungula bwe kyatuuka, n’atuma abaddu be eri abalimi banone ebibala byamu.

35 (C)“Naye abalimi ne badda ku baddu be, omu ne bamukuba, n’omulala ne bamutta, n’omulala ne bamukasuukirira amayinja. 36 (D)Ate n’abatumira abaddu abalala nga bangiko okusinga abaasooka, era nabo ne babayisa mu ngeri y’emu nga bali abaasooka. 37 Oluvannyuma n’abatumira mutabani we, ng’alowooza nti, ‘Bajja kumussaamu ekitiibwa.’

38 (E)“Naye abalimi bwe baalaba omwana ng’ajja ne bateesa nti, ‘Ono y’agenda okusika, ka tumutte, ebyobusika bwe biriba byaffe!’ 39 Bwe batyo ne bamufulumya ebweru w’ennimiro y’emizabbibu ne bamutta. 40 Kale nannyini nnimiro y’emizabbibu bw’alikomawo alibakola atya?”

41 (F)Ne bamuddamu nti, “Abantu abo ababi bwe batyo alibazikiririza ddala, ennimiro y’emizabbibu n’agipangisa abalimi abalala abanaamuwanga ebibala mu ntuuko zaabyo.”

42 (G)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Temusomanga ku Kyawandiikibwa kino nti,

“ ‘Ejjinja abazimbi lye baagaana
    lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
Kino kyava eri Mukama
    era kya kyewuunyo.’

43 (H)“Kyenva mbagamba nti, Obwakabaka bwa Katonda bulibaggyibwako ne buweebwa eggwanga eribala ebibala byabwo. 44 (I)Oyo alyesitala n’agwa ku jjinja eryo, alibetentebwa, na buli gwe lirigwako lirimubetenta.”

45 Awo bakabona abakulu n’Abafalisaayo bwe baabiwulira ne bategeera nga Yesu bo b’ayogerako. 46 (J)Ne baagala bamukwate, naye ne batya ekibiina, kubanga abantu Yesu baamukkiriza, nga nnabbi.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.