Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 106

106 (A)Mumutendereze Mukama!

Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
    kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.

(B)Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo,
    oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
(C)Balina omukisa abalina obwenkanya,
    era abakola ebituufu bulijjo.

(D)Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi;
    nange onnyambe bw’olibalokola,
(E)ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi,
    nsanyukire wamu n’eggwanga lyo,
    era ntendererezenga mu bantu bo.

(F)Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola;
    tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
(G)Bakadde baffe
    tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri;
n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira,
    bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
(H)Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye,
    alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
(I)Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira;
    n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 (J)Yabawonya abalabe baabwe;
    n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 (K)Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe;
    ne wataba n’omu awona.
12 (L)Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza;
    ne bayimba nga bamutendereza.

13 (M)Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola;
    ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 (N)Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira;
    ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 (O)Bw’atyo n’abawa kye baasaba,
    kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.

16 (P)Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa
    ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 (Q)Ettaka ne lyasama ne limira Dasani;
    Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 (R)Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe;
    ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 (S)Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana;
    ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 (T)Ekitiibwa kya Katonda
    ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 (U)Ne beerabira Katonda eyabanunula,
    eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 (V)ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu,
    n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 (W)N’agamba nti,
    Ajja kubazikiriza.
Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge
    n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.

24 (X)Baanyooma eby’ensi ennungi,
    kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 (Y)Beemulugunyiriza mu weema zaabwe,
    ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 (Z)Kyeyava yeerayirira
    nti alibazikiririza mu ddungu,
27 (AA)era nga n’abaana baabwe
    balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.

28 (AB)Baatandika okusinza Baali e Peoli;
    ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi;
    kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 (AC)Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda,
    kawumpuli n’agenda.
31 (AD)Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu
    emirembe gyonna.
32 (AE)Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama,
    ne baleetera Musa emitawaana;
33 (AF)kubanga baajeemera ebiragiro bye,
    ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.

34 (AG)Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza
    nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 (AH)naye beetabika n’abannaggwanga ago
    ne bayiga empisa zaabwe.
36 (AI)Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago
    ne bibafuukira omutego.
37 (AJ)Baawaayo batabani baabwe
    ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 (AK)Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe
    abataliiko musango,
be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola,
    ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 (AL)Beeyonoona olw’ebyo bye baakola,
    ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.

40 (AM)Mukama kyeyava asunguwalira abantu be,
    n’akyawa ezzadde lye.
41 (AN)N’abawaayo eri amawanga amalala,
    abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza,
    ne babatuntuza nnyo ddala.
43 (AO)Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi,
    naye obujeemu ne bubalemeramu,
    ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.

44 (AP)Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe,
    n’abakwatirwa ekisa;
45 (AQ)ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye;
    okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 (AR)N’abaleetera okusaasirwa
    abo abaabawambanga.
47 (AS)Ayi Mukama Katonda,
    otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga,
tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu,
    era tusanyukenga nga tukutendereza.

48 (AT)Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri,
    emirembe n’emirembe.

Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!”

Mumutendereze Mukama.

Okubala 22:1-21

Katonda Agaana Balamu Okugenda eri Balaki

22 (A)Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

(B)Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli. (C)Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.

Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo, (D)n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,

“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. (E)Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”

(F)Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.

(G)Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.

(H)Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10 Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11 ‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”

12 (I)Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”

13 Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”

14 Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”

Katonda Akkiriza Balamu Okugenda

15 Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. 16 Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; 17 (J)kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”

18 (K)Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange. 19 (L)Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.”

20 (M)Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”

Endogoyi ya Balamu Eyogera

21 Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu.

Abaruumi 6:12-23

12 Noolwekyo ekibi kiremenga okufuga omubiri gwammwe ogufa, nga mugondera okwegomba kwagwo. 13 (A)Temuwangayo bitundu byammwe eby’omubiri okukozesebwa ebitali bya butuukirivu eri ekibi, naye mweweereyo ddala eri Katonda, ng’abantu abalamu abaava mu bafu. Ebitundu byammwe eby’omubiri gwammwe bikozesebwe eby’obutuukirivu eri Katonda. 14 (B)Temukkiriza kibi kwongera kubafuga, kubanga temukyafugibwa mateeka, wabula ekisa kya Katonda.

Baddu ba butuukirivu

15 Kale tukole tutya? Kale tukole ekibi kubanga tetufugibwa mateeka wabula ekisa kya Katonda? Kikafuuwe. 16 (C)Temumanyi nga muba baddu b’oyo gwe muwulira? Muyinza okuba abaddu b’ekibi ne kibaleetera okufa, oba muyinza okuba abaddu abawulira Katonda n’abawa obutuukirivu. 17 (D)Kyokka Katonda yeebazibwe kubanga mwabanga baddu ba kibi, naye bwe mwagondera okuyigiriza kwe mwayigirizibwa n’omutima gwammwe gwonna, ne mukugondera. 18 (E)Noolwekyo mwasumululwa okuva mu kibi, ne mufuuka baddu ba butuukirivu abasanyusa Katonda.

19 (F)Njogera nga nkozesa olulimi olwa bulijjo kubanga mukyali banafu. Nga bwe mwawangayo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’ebirowoozo eby’obugwagwa, ne mweyongeranga okukola ebitali bya butuukirivu, bwe mutyo muweeyo ebitundu byammwe eby’omubiri okuba abaddu b’obutuukirivu, nga mweweerayo ddala eri Katonda, mube batukuvu. 20 (G)Bwe mwali abaddu b’ekibi, temwafugibwanga butuukirivu. 21 (H)Kale mwagasibwa ki mu kukola ebintu ebyo, ebibaleetera ensonyi? Enkomerero yaabyo kufa. 22 (I)Naye kaakano obanga mwasumululwa mu kibi, ne mufuuka baddu ba Katonda, ebivaamu bibatuusa ku kutukuzibwa, n’enkomerero bwe bulamu obutaggwaawo. 23 (J)Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda, bwe bulamu obutaggwaawo mu Yesu Kristo Mukama waffe.

Matayo 21:12-22

Yesu mu Yeekaalu

12 (A)Awo Yesu n’ayingira mu Yeekaalu n’agobamu abasuubuzi bonna n’avuunika emmeeza z’abaali bawaanyisa ensimbi n’entebe z’abaali batunda amayiba. 13 (B)N’abagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku y’abanyazi.’[a]

14 (C)Awo abazibe b’amaaso n’abalema ne bajja gy’ali mu Yeekaalu n’abawonya. 15 (D)Naye bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka bwe baalaba eby’ekitalo bye yakola, n’abaana abato abaali mu Yeekaalu nga baleekaanira waggulu nti, “Ozaana Omwana wa Dawudi!” ne banyiiga.

16 (E)Ne bamubuuza nti, “Owulira bano bye bagamba?”

Yesu n’abaddamu nti, “Mpulira. Temusomangako nti,

“ ‘Abaana abato n’abawere abayonka
    balimutendereza!’ ”

17 (F)N’abaviira, n’afuluma mu kibuga n’agenda e Besaniya, n’asula eyo.

Omuti Ogwawotoka

18 Awo enkeera bwe yali ng’addayo mu kibuga n’alumwa enjala, 19 (G)n’alengera omutiini ku mabbali g’ekkubo, n’agutuukako n’atasangako ttiini okuggyako amakoola ameereere. N’agugamba nti, “Toddangayo okubala ebibala.” Amangwago omuti ne guwotoka.

20 Abayigirizwa bwe baakiraba ne beewuunya ne beebuuza nti, “Omutiini guwotose gutya amangu?”

21 (H)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti bw’oba n’okukkiriza nga tobuusabuusa, oyinza okukola ekiri nga kino n’ebisingawo. Oyinza n’okulagira olusozi luno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ ne kibaawo. 22 (I)Buli kye munaasabanga nga mukkiriza, munaakiweebwanga.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.