Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 88

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

88 (A)Ayi Mukama Katonda, Omulokozi wange,
    nkaaba emisana n’ekiro mu maaso go.
Kkiriza okusaba kwange kutuuke gy’oli;
    otege okutu kwo nga nkukoowoola.

(B)Kubanga emmeeme yange ejjudde ebizibu,
    era nsemberedde okufa.
(C)Mbalirwa mu abo abaserengeta emagombe;
    nfaanana ng’omuntu atalina maanyi.
(D)Bandese wano ng’afudde,
    nga ndi ng’abo be basse abalinda obulinzi entaana,
nga tokyaddayo kubajjukira,
    era nga tewakyali kya kubakolera.

(E)Ontadde mu kinnya ekisinga obuwanvu,
    era eky’ekizikiza ekikutte ennyo.
(F)Obusungu bwo bumbuubuukiddeko nnyo,
    ng’ennyanja esiikuuse n’amayengo gaayo ne gankuba okusukkirira.
(G)Ab’emikwano abasingira ddala okunjagala obammazeeko,
    n’onfuula ekyenyinyalwa gye bali.
Nsibiddwa, so sisobola kwesumattula.
    (H)Amaaso gange gayimbadde olw’ennaku.

Nkukoowoola buli lunaku, Ayi Mukama,
    ne ngolola emikono gyange gy’oli nga nkwegayirira.
10 (I)Ebyamagero byo onoobikoleranga bafu?
    Abafudde banaagolokokanga ne bakutendereza?
11 (J)Okwagala kwo onookulaganga abali emagombe
    n’obwesigwa bwo abo abali mu kifo eky’okuzikirira?
12 Ebyamagero byo binaamanyibwanga mu kifo ekyo eky’ekizikiza?
    Oba ebikolwa byo eby’obutuukirivu bwo bye binaamanyibwanga mu nsi eyamala edda okwerabirwa?

13 (K)Naye nze, Ayi Mukama, naakabiriranga ggwe okunnyamba;
    buli nkya okusaba kwange kunaatuukanga gy’oli.
14 (L)Ayi Mukama, onsuulidde ki?
    Onkwekedde ki amaaso go?

15 (M)Ombonyaabonyezza okuviira ddala mu buvubuka bwange, era nga mbeera kumpi n’okufa;
    ngumiikirizza nnyo entiisa yo, era kaakano mpweddemu essuubi.
16 Obusungu bwo obubuubuuka bunzigwereddeko era bunzikkiriza.
    Entiisa yo tendeseemu ka buntu.
17 (N)Binzingiza nga mukoka olunaku lwonna;
    binsaanikiridde ddala.
18 (O)Ommazeeko ab’emikwano n’abo abanjagala ennyo;
    nsigazza nzikiza yokka.

Zabbuli 91-92

Obwesige bw’oyo atya Katonda.

91 (A)Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;
    aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.
(B)Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;
    ggwe Katonda wange gwe nneesiga.

(C)Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,
    ne kawumpuli azikiriza.
(D)Alikubikka n’ebyoya bye,
    era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;
    obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.
(E)Tootyenga ntiisa ya kiro,
    wadde akasaale akalasibwa emisana;
newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,
    wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.
Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,
    n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,
    naye olumbe terulikutuukako.
(F)Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go;
    n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.

Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;
    Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,
10 (G)tewali kabi kalikutuukako,
    so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.
11 (H)Kubanga Mukama aliragira bamalayika be
    bakukuume mu makubo go gonna.
12 (I)Balikuwanirira mu mikono gyabwe;
    oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.
13 (J)Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;
    olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.

14 “Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;
    nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.
15 (K)Anankowoolanga ne muyitabanga;
    nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.
    Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.
16 (L)Ndimuwangaaza n’asanyuka
    era ndimulaga obulokozi bwange.”

Zabbuli. Oluyimba lwa Ssabbiiti.

92 (M)Kirungi okwebazanga Mukama,
    n’okuyimba ennyimba n’okutenderezanga erinnya lyo, Ayi Ggwe, Ali Waggulu Ennyo;
(N)okutendanga okwagala kwo okutakoma buli nkya,
    n’okutendanga obwesigwa bwo buli kiro.
(O)Okukutenderezanga n’amaloboozi g’enkoba z’ennanga
    n’endere awamu n’entongooli.

(P)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, onkoledde ebinsanyusizza;
    kyenva nkuyimbira n’essanyu olw’emirimu gy’emikono gyo.
(Q)Emirimu gyo nga mikulu, Ayi Mukama;
    ebirowoozo byo nga tebitegeerekeka!
(R)Omuntu atalina magezi tamanyi;
    n’omusirusiru kino tasobola kukitegeera;
newaakubadde ng’abakola ebibi baloka ng’omuddo,
    n’aboonoonyi bonna ne bafuna ebirungi,
boolekedde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe!

Naye ggwe, Ayi Mukama, ogulumizibwa emirembe gyonna.

(S)Kubanga abalabe bo, Ayi Mukama,
    abalabe bo balizikirira,
    abakola ebibi bonna balisaasaanyizibwa.
10 (T)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
    n’onfukako amafuta amalungi.
11 (U)Amaaso gaalaba bbugwe ng’agwa ku balabe bange;
    n’amatu gange gawulidde akabi akatuuse ku abo abanjigganya.

12 (V)Abatuukirivu balyegolola ng’enkindu,
    ne bakula ne bawanvuwa ng’emivule gy’e Lebanooni.
13 (W)Egisimbibwa mu nnyumba ya Mukama.
    Baligimukira mu mpya za Katonda waffe.
14 (X)Ne mu bukadde bwabwe balibala ebibala;
    baliba balamu era abagimu,
15 (Y)kiryoke kitegeeze nti, Mukama w’amazima,
    lwe Lwazi lwange era mu ye temuli butali butuukirivu.

Okubala 13:1-3

Abakessi Kkumi na Babiri Baweerezebwa mu Kanani

13 Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, (A)“Tuma abasajja bagende bakette beetegereze ensi ya Kanani gye ŋŋenda okuwa abaana ba Isirayiri. Mu buli kika kya bajjajja ojja kulondamu omusajja omu ku bakulembeze baakyo.”

Bw’atyo Musa n’abatuma okuva mu ddungu lya Palani, ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali. Bonna baali bakulembeze b’abaana ba Isirayiri.

Okubala 13:21-30

21 (A)Awo ne bambuka ne beetegereza ensi okuva mu ddungu lya Zini okutuuka e Lekobu okumpi n’awayingirirwa mu Kamasi. 22 (B)Ne bambuka mu Negebu ne batuuka e Kebbulooni, era wano Akimaani ne Sesayi ne Talumaayi abazzukulu ba Anaki nga we babeera. Kebbulooni bwe kyamala okuzimbibwa waayitawo emyaka musanvu ne Zowani eky’omu Misiri nakyo ne kiryoka kizimbibwa. 23 Ne batuuka mu kiwonvu ekiyitibwa Esukoli[a] ne batemamu ettabi limu eryaliko ekirimba kimu ekya zabbibu, abantu babiri ne bakireetera ku musituliro. Era ne baleeta ne ku makomamawanga ne ku ttiini. 24 Ekifo ekyo ne kiyitibwa Ekiwonvu kya Esukoli, olw’ekirimba ekyo abaana ba Isirayiri kye baatemamu.

Abakessi Bakomawo

25 Awo nga wayiseewo ennaku amakumi ana ne bakomawo nga bamaze okuketta ensi. 26 (C)Ne bajja eri Musa ne Alooni e Kadesi mu ddungu lya Palani. Ne babakomezaawo obubaka n’eri ekibiina kyonna, era ne babanjulira ebibala bye baggya mu nsi eyo. 27 (D)Ne bategeeza Musa nti, “Twatuuka mu nsi gye watutumamu: ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, ejjudde ebirungi ebyereere, era bino bye bibala byamu. 28 (E)Naye nno abantu ababeera mu nsi omwo ba maanyi, n’ebibuga byabwe binene nnyo era byetooloddwako ebigo. Ate n’ekirala twalabaayo n’abazzukulu ba Anaki. 29 Abamaleki babeera mu Negebu mu bukiikaddyo; Abakiiti n’Abayebusi, n’Abamoli babeera mu nsi ey’ensozi; n’Abakanani ne babeera okumpi n’ennyanja ne ku lubalama lw’omugga Yoludaani.”

30 Awo Kalebu n’asirisa abantu awali Musa n’agamba nti, “Twambukirewo kaakano tutwale ensi eyo, kubanga ndaba nga tusobola okugiwangula.”

Abaruumi 2:25-3:8

25 (A)Okukomolebwa kugasiza ddala bw’okwata amateeka, naye bw’otagatuukiriza tewaba njawulo wakati wo n’atali mukomole. 26 (B)Kale obanga atali mukomole akwata amateeka, talibalibwa ng’eyakomolebwa? 27 (C)Noolwekyo ataakomolebwa mu buzaaliranwa naye ng’akuuma amateeka, alikusaliza omusango gwe alina amateeka amawandiike n’otagatuukiriza ate nga wakomolebwa.

28 (D)Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini. 29 (E)Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.

Obwesigwa bwa Katonda

Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki? (F)Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.

(G)Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olw’okuba nga bo tebaalina kukkiriza? (H)Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

“Olyoke otuukirire mu bigambo byo,
    era osinge bw’osala omusango.”

(I)Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu. (J)Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango? (K)Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bw’ali ow’amazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ng’omwonoonyi? (L)Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.

Matayo 18:21-35

Olugero lw’Omuddu Atasonyiwa

21 (A)Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”

22 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”

23 (C)Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be. 24 Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta[a] omutwalo gumu. 25 (D)Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.

26 (E)“Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’

27 “Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna!

28 “Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali[b] kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’

29 “Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’

30 “Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. 31 Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.

32 “Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, 33 naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ 34 Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.

35 (F)“Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.