Book of Common Prayer
מ Meemu
97 (A)Amateeka go nga ngagala nnyo!
Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (B)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (C)Ntegeera okusinga abakadde;
kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (D)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (E)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (F)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
נ Nuuni
105 (G)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (H)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (I)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
era onjigirize amateeka go.
109 (J)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
naye seerabira mateeka go.
110 (K)Abakola ebibi banteze omutego,
naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (L)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
ennaku zonna ez’obulamu bwange.
ס Sameki
113 (M)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
naye nze njagala amateeka go.
114 (N)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (O)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (P)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (Q)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (R)Nkankana nzenna nga nkutya,
era ntya amateeka go.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
81 (A)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
2 (B)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
5 (C)Yaliteekera Yusufu,
Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.
6 (D)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
7 (E)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
8 (F)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
9 (G)Temubeeranga na katonda mulala,
wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (H)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
11 (I)“Naye abantu bange tebampuliriza;
Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (J)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
okugoberera ebyo bye baagala.
13 (K)“Singa abantu bange bampuliriza;
singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (L)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (M)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”
Zabbuli ya Asafu.
82 (N)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
ng’alamula bakatonda.
2 (O)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
nga musalira abanafu?
3 (P)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
5 (Q)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
Batambulira mu kizikiza;
emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.
6 (R)Njogedde nti, Muli bakatonda,
era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
7 (S)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”
8 (T)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
kubanga amawanga gonna gago.
24 Awo Musa n’afuluma n’ategeeza abantu ebigambo bya Mukama Katonda; n’akuŋŋaanya abasajja nsanvu mu bakulembeze b’abantu n’abayimiriza okumpi ne Weema ya Mukama. 25 (A)Awo Mukama Katonda n’akkira mu kire n’ayogera ne Musa, n’addira ku mwoyo ogwali mu Musa n’agussa mu bakulembeze ensanvu. Omwoyo bwe baagufuna ne batandika okutegeeza obunnabbi, kyokka tebaddayo nate kukikola.
26 Waaliwo abasajja babiri nga bayitibwa Eridaadi ne Medadi, baali babaliddwa ku bakulembeze ensanvu, naye bo ne basigala mu lusiisira, ne batagenda ku Weema ya Mukama; nabo baafuna omwoyo, era ne bategeeza obunnabbi mu lusiisira. 27 Omuvubuka n’adduka n’agenda ategeeza Musa nti, “Eridaadi ne Medadi bategeeza obunnabbi mu lusiisira.”
28 (B)Awo Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa gwe yali yeerondedde ng’akyali muvubuka n’agamba nti, “Mukama wange Musa, baziyize.”
29 (C)Naye Musa n’amugamba nti, “Okwatiddwa obuggya ku lwange? Kyandibadde kirungi singa abantu ba Mukama bonna bannabbi, ne Mukama Katonda n’abawa omwoyo gwe!” 30 Musa n’abakulembeze ba Isirayiri ne baddayo mu lusiisira.
Mukama Aweereza Ennyama ey’Obugubi
31 (D)Awo empewo n’eva eri Mukama Katonda n’ereeta obugubi nga buva mu nnyanja ne bugwa okwebungulula olusiisira nga bukoze entuumo nga ya mita emu okuva ku ttaka, nga bujjuza ebbanga lya lugendo lwa lunaku lumu ku ludda olumu olw’olusiisira n’olugendo lwa lunaku lumu ku ludda olulala. 32 Ku lunaku olwo ne ku lunaku olwaddirira abantu ne bakuŋŋaanya obugubi emisana n’ekiro. Tewali yakuŋŋaanya buzito bwakka wansi wa kilo lukumi; ne babwanika buli wantu mu lusiisira. 33 (E)Naye ennyama yali ekyali mu mannyo gaabwe nga tebannaba kugirya, obusungu bwa Mukama Katonda ne bubuubuukira abantu n’abaleetera kawumpuli ow’amaanyi ennyo. 34 (F)Noolwekyo ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Kiberosu Katava, kubanga awo we baaziika abantu abaalina omulugube.
35 (G)Abantu bwe baava e Kiberosu Katava ne batambula okutuuka e Kazerosi ne babeera awo.
28 (A)Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. 29 (B)Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, 30 (C)era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala n’okwekulumbaza, nga bagunjawo enkola y’ebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. 31 (D)Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. 32 (E)Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola.
Omusango Katonda aligusala na bwenkanya
2 (F)Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne by’onenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera n’eky’okuwoza, kubanga bw’okola bw’otyo, weesalira wekka omusango. 2 Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ng’ebyo. 3 Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ng’ebyo, kyokka n’onenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka? 4 (G)Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?
5 (H)Naye olw’obukakanyavu bwo n’omutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lw’ekiruyi n’okubikkulirwa, Katonda lw’alisalirako omusango ogw’obutuukirivu. 6 (I)Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. 7 (J)Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. 8 (K)Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. 9 (L)Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 10 (M)Naye ekitiibwa n’ettendo n’emirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 11 (N)Kubanga Katonda tasosola mu bantu.
Omukulu mu Bwakabaka obw’Omu Ggulu
18 Mu kiseera ekyo abayigirizwa ba Yesu ne bajja gy’ali nga bagamba nti, “Ani asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu?”
2 Yesu n’ayita omwana omuto n’amussa mu makkati gaabwe. 3 (A)N’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti bwe mutakyuke kufaanana ng’abaana abato temugenda kuyingira mu bwakabaka obw’omu ggulu. 4 (B)Noolwekyo buli eyeetoowaza ng’omwana ono omuto y’aliba asinga obukulu mu bwakabaka obw’omu ggulu.
5 (C)“Na buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange ng’asembeza Nze. 6 (D)Naye alyesittaza omu ku baana abato anzikiririzaamu, asaanidde okusibibwa olubengo mu bulago asuulibwe mu nnyanja.”
7 (E)“Ensi zigisanze! Kubanga ejjudde ebibi bingi. Okukemebwa okukola ebibi tekulema kubaawo, naye zimusanze oyo akuleeta. 8 (F)Obanga omukono gwo gukuleetera okwonoona gutemeko ogusuule. Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde oba ng’olemadde, okusinga okugenda mu muliro ogutazikira ng’olina emikono ebiri n’ebigere bibiri. 9 (G)Obanga eriiso lyo nga likuleetera okwonoona, liggyeemu olisuule. Kisinga okuyingira mu ggulu ng’olina eriiso limu okusinga okusuulibwa mu muliro gwa ggeyeena ng’olina amaaso go gombi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.