Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:49-72

ז Zayini

49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo,
    kubanga gwe wampa essuubi.
50 (A)Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi
    kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
51 (B)Ab’amalala banduulira obutamala,
    naye nze siva ku mateeka go.
52 (C)Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama,
    biwummuza omutima gwange.
53 (D)Nkyawa nnyo abakola ebibi,
    abaleka amateeka go.
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba
    buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
55 (E)Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama,
    ne neekuuma amateeka go.
56 Olw’okukugonderanga
    nfunye emikisa gyo mingi.

ח Esi

57 (F)Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama;
    nasuubiza okukugonderanga.
58 (G)Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna,
    ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
59 (H)Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte,
    ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go,
    so seekunya.
61 (I)Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye,
    naye seerabirenga mateeka go.
62 (J)Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza,
    olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
63 (K)Ntambula n’abo abakutya,
    abo bonna abakwata amateeka go.
64 (L)Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo;
    onjigirize amateeka go.

ט Teesi

65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama,
    ng’ekigambo kyo bwe kiri.
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya;
    kubanga nzikiririza mu mateeka go.
67 (M)Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo,
    naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
68 (N)Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi;
    onjigirize amateeka go.
69 (O)Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba,
    naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
70 (P)Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala;
    naye nze nsanyukira amateeka go.
71 Okubonerezebwa kwangasa,
    ndyoke njige amateeka go.
72 (Q)Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi
    okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.

Zabbuli 49

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

49 (A)Muwulire mmwe amawanga gonna,
    mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
    muwulirize ebigambo byange.
(B)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
    ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
(C)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
    nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.

(D)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
    newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
(E)abantu abeesiga obugagga bwabwe
    beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
    wadde okwegula okuva eri Katonda.
(F)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
    tewali n’omu agusobola;
(G)alyoke awangaale ennaku zonna
    nga tatuuse magombe.
10 (H)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
    abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
    obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (I)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
    nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
    baafuna ettaka mu mannya gaabwe.

12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
    alifa ng’ensolo bwe zifa.

13 (J)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
    era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (K)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
    olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
    obulungi bwabwe ne bubula,
    amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (L)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
    ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
    tomutyanga,
17 (M)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (N)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
    kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (O)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
    n’ayingira mu kizikiza ekikutte.

20 (P)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
    alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.

Zabbuli 53

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

53 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
    tewali n’omu akola kirungi.
(B)Katonda atunuulira abaana b’abantu
    ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
    era abamunoonya.
(C)Bonna bamukubye amabega
    ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
    tewali n’omu.

Aboonoonyi tebaliyiga?

Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Katonda.
(D)Balitya okutya okutagambika;
    kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
    kubanga Katonda yabanyooma.

Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
    Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
    Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.

Omubuulizi 3:1-15

Buli Kintu Kirina Ekiseera Kyakyo

(A)Buli kintu kirina ekiseera kyakyo,
    na buli ekikolebwa wansi w’eggulu kirina ekiseera kyakyo.

    Waliwo ekiseera eky’okuzaalibwa n’ekiseera eky’okufa;
    ekiseera eky’okusimba ate n’ekiseera eky’okukungula ebyo ebyasimbibwa;
    ekiseera eky’okutta n’ekiseera eky’okuwonya;
    ekiseera eky’okumenya n’ekiseera eky’okuzimba;
    ekiseera eky’okukaabiramu n’ekiseera eky’okusekeramu;
    ekiseera eky’okukungubaga n’ekiseera eky’okuzina;
    ekiseera eky’okusaasaanyizaamu amayinja, n’ekiseera eky’okugakuŋŋaanyizaamu;
    ekiseera eky’okugwiramu mu kifuba n’ekiseera eky’okukyewaliramu;
    waliwo ekiseera eky’okunoonyezaamu n’ekiseera eky’okulekeraawo okunoonya;
    ekiseera eky’okukuumiramu ekintu n’ekiseera eky’okukisuuliramu;
    (B)n’ekiseera eky’okuyulizaamu n’ekiseera eky’okuddabiririzaamu;
    ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu;
    waliwo ekiseera eky’okwagaliramu n’ekiseera eky’okukyayiramu;
    ekiseera eky’entalo n’ekiseera eky’eddembe.

(C)Ddala omuntu kiki ky’afuna mu kutegana kwe? 10 (D)Ndabye omugugu Katonda gw’atadde ku bantu. 11 (E)Buli kimu yakikola nga kirungi mu kiseera kyakyo. Kyokka newaakubadde nga Katonda yateeka mu mitima gy’abantu okutegeera obulamu obutaggwaawo, omuntu tayinza kuteebereza mulimu gwa Katonda gwonna, we gutandikira oba we gukoma. 12 Mmanyi nga tewali kisingira bantu kusanyuka na kukola bulungi nga balamu. 13 (F)Buli muntu alyoke alye, anywe afune okwesiima olw’ebyo ebiva mu kutegana kwe, kubanga ekyo kirabo kya Katonda. 14 (G)Mmanyi nga buli Katonda ky’akola kya lubeerera; tekyongerwako, era tewali kikijjibwako. Katonda yakikola bw’atyo, abantu balyoke bamutye.

15 (H)Ekyo ekiriwo ky’amala dda okubaawo;
    n’ekyo ekinaaberawo kyabaawo dda;
    era Katonda alagira ebyali bibaddewo, ne byongera okubaawo.

Abaggalatiya 2:11-21

Pawulo Anenya Peetero

11 (A)Naye Peetero ate era nga ye Keefa, bwe yajja mu Antiyokiya ne mmunenya mu lwatu kubanga yali mukyamu. 12 (B)Kubanga abaava eri Yakobo bwe baali tebannajja, yalyanga n’Abamawanga, naye bwe bajja n’atandika okubeeyawulako ng’atya abakomole. 13 (C)Abayudaaya abalala bonna ne bamwegattako mu bukuusa, ekyo ne kireetera ne Balunabba okusendebwasendebwa obukuusa bwabwe.

14 (D)Naye bwe nalaba nga tebatambula bulungi ng’amazima g’enjiri bwe gali, ne ŋŋamba Keefa mu maaso gaabwe bonna nti, “Obanga ggwe Omuyudaaya ogoberera empisa z’Abamawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya Abaamawanga okugobereranga empisa z’Ekiyudaaya?”

15 Ffe mu buzaaliranwa tuli Bayudaaya so si Bamawanga aboonoonyi. 16 (E)Kyokka tukimanyi bulungi nti omuntu taweebwa butuukirivu lwa kugondera mateeka, wabula abufuna lwa kukkiriza Yesu Kristo, era naffe kyetwava tukkiriza Yesu Kristo tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza so si lwa kugondera mateeka. Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa eby’amateeka.

17 (F)Naye oba nga bwe twanoonya okuweebwa obutuukirivu mu Kristo twasangibwa okuba aboonoonyi, kitegeeza nti Kristo muweereza wa kibi? Kikafuuwe. 18 Kubanga bwe nzimba nate bye nazikiriza, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi. 19 (G)Kubanga olw’amateeka nnafa eri mateeka, ndyoke mbeere omulamu mu Katonda. Nakomererwa wamu ne Kristo; 20 (H)kyokka ndi mulamu, si ku bwange, wabula ku bwa Kristo abeera mu nze; era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda, eyanjagala ne yeewaayo yekka ku lwange. 21 (I)Ssidibya kisa kya Katonda; naye oba nga obutuukirivu buva mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.

Matayo 14:1-12

Yokaana Atemwako Omutwe

14 (A)Mu kiseera ekyo Kabaka Kerode bwe yawulira ettutumu lya Yesu (B)n’agamba abaweereza be nti, “Oyo ye Yokaana Omubatiza azuukidde mu bafu, era y’akola eby’amagero.”

(C)Kuba Kerode yali amaze okukwata Yokaana n’amussa mu kkomera, kubanga Yokaana yamunenya olwa Kerodiya muka Firipo muganda we, (D)kubanga Yokaana yagamba Kerode nti, “Si kituufu okusigula muka muganda wo n’omufuula owuwo.” (E)Kerode yali ayagala kumutta naye n’atya abantu kubanga baalowooza Yokaana okuba nnabbi.

Olunaku lw’amazaalibwa ga Kerode bwe lwatuuka muwala wa Kerodiya n’azina nnyo ku mbaga n’asanyusa nnyo Kerode. Awo Kerode n’asuubiza omuwala ng’alayira okumuwa kyonna ky’anaamusaba. Naye bwe yaweebwa nnyina amagezi, n’agamba nti, “Mpeera wano omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.” Ekintu ekyo ne kinakuwaza nnyo kabaka. Naye olwokubanga yali yakisuubiza mu maaso g’abagenyi be, kyeyava alagira bagumuleetere. 10 (F)Ne bagenda mu kkomera, ne batemako Yokaana omutwe 11 ne baguleetera ku lusaniya ne baguwa omuwala, naye n’agutwalira nnyina.

12 (G)Abayigirizwa ba Yokaana ne banonayo omulambo gwe ne bagutwala ne baguziika, ne balyoka bagenda ne babikira Yesu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.