Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 38

Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

38 (A)Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
    oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
(B)Kubanga obusaale bwo bunfumise,
    n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
(C)Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
    n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
(D)Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
    gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.

(E)Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
    olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
(F)Nkootakoota era mpweddemu ensa,
    ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
(G)Omugongo gunnuma nnyo,
    ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
(H)Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
    nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.

(I)Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
    n’okusinda kwange okuwulira.
10 (J)Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
    n’okulaba sikyalaba.
11 (K)Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
    ne bannange tebakyansemberera.
12 (L)Abaagala okunzita bantega emitego,
    n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
    Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.

13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
    nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
    atasobola kwanukula.
15 (M)Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
    onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 (N)Tobakkiriza kunneeyagalirako,
    oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.

17 Kubanga nsemberedde okugwa,
    era nga nnumwa buli kiseera.
18 (O)Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
    nnumirizibwa ekibi kyange.
19 (P)Abalabe bange bangi era ba maanyi;
    n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 (Q)Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
    era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.

21 (R)Ayi Mukama, tonjabulira;
    tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
22 (S)Ayi Mukama Omulokozi wange,
    yanguwa okumbeera.

Zabbuli 119:25-48

ד Daleeti

25 (A)Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
    nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 (B)Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
    onjigirize amateeka go.
27 (C)Njigiriza amateeka go bye gagamba,
    nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 (D)Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
    onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
    olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
    ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 (E)Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
    tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
    nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.

ה Eh

33 (F)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
    ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
    era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
    kubanga mwe nsanyukira.
36 (G)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
    so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (H)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
    obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (I)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
    kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
    kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (J)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
    onkomyewo mu butuukirivu bwo.

ו Waawu

41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
    ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 (K)ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
    kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
    kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
    emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
    kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 (L)Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
    nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
    era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
    Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.

Engero 17:1-20

17 (A)Okulya akamere akaluma awali emirembe,
    kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.

Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi,
    era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.

(B)Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,
    naye Mukama agezesa emitima.

Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,
    era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.

(C)Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,
    n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.

(D)Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,
    era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.

Enjogerannungi teba ya musirusiru,
    ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.

Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba,
    alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.

(E)Okwagala tekulondoola nsobi,
    naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.

10 Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera,
    okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.

11 Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere,
    era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.

12 Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo,
    kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.

Ebbeeyi y’Amagezi

13 (F)Omuntu bw’asasula ekibi olw’obulungi,
    ekibi tekiriva mu nnyumba ye.

14 (G)Okutandika oluyombo kuli ng’omuntu bw’asumulula omudumu gw’amazzi,
    noolwekyo vvaawo ng’oluyombo terunnatandika.

15 (H)Eyejjeereza omukozi w’ebibi n’oyo avumirira omutuukirivu,
    bombi ba muzizo eri Mukama.

16 (I)Omusirusiru agasibwa ki okuba ne ssente ezisasulibwa amagezi,
    ng’ate ye talina mutima gwegomba magezi?

17 Omukwano ogw’amagezi guba gwa lubeerera,
    era owooluganda yeesigibwa mu biro eby’ennaku.

18 (J)Omuntu atalina magezi awa obweyamo
    ne yeetema okusasula amabanja ga muliraanwa we.

19 Oyo ayagala ekibi anyumirwa ennyombo,
    n’oyo akola omulyango omunene ogw’omu maaso gwa bbugwe ye nga guyitiridde obunene gulimuteganya nnyo.

20 Omuntu ow’omutima omubambaavu takulaakulana,
    n’oyo ow’olulimi olulimba agwa mu katyabaga.

1 Timoseewo 3

Abalabirizi b’Ekkanisa

(A)Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi. (B)Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza. (C)Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. (D)Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. (E)Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? (F)Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. (G)Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.

Abadiikoni

(H)Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu, (I)nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu. 10 Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 11 (J)N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. 12 (K)Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge. 13 Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.

Ekyama Ekikulu

14 Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; 15 (L)kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. 16 (M)Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:

“Yalabisibwa mu mubiri,
    n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,
n’alabibwa bamalayika,
    n’alangibwa mu mawanga,
n’akkirizibwa mu nsi,
    era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”

Matayo 12:43-50

43 “Omwoyo ogutali mulongoofu bwe guva mu muntu guyita mu malungu nga gunoonya aw’okuwumulirako, ne gutafuna wa kuwummulira. 44 Kyeguva gugamba nti, ‘Leka nzireyo mu nnyumba mwe nava.’ Bwe guddayo gusanga nkalu, nga eyereddwa era nga ntegeke. 45 (A)Kyeguva gugenda ne guleeta emyoyo emirala musanvu egigusingako obwonoonefu, ne giyingira mu nnyumba omwo ne gibeera omwo. Olwo omuntu oyo n’abeera bubi nnyo okusinga bwe yali okusooka. Bwe kityo bwe kiriba n’omulembe guno omwonoonefu.”

Yesu ne Baganda be ne Nnyina

46 (B)Yesu bwe yali akyayogera n’ekibiina, nnyina ne baganda be ne batuuka ne bayimirira ebweru nga baagala okwogera naye. 47 Omuntu omu n’amutegeeza nti, “Nnyoko ne baganda bo, bali wabweru baagala kwogera nawe.”

48 Yesu n’amuddamu nti, “Mmange ye ani era ne baganda bange be baani?” 49 N’agolola omukono gwe eri abayigirizwa be n’agamba nti, “Mulabe mmange ne baganda bange! 50 (C)Kubanga buli akola ebyo Kitange ali mu ggulu by’ayagala oyo ye muganda wange, ye mwannyinaze era ye mmange.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.