Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 26

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.
(B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
    weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
(C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
    era mu mazima go mwe ntambulira.

(D)Situula na bantu balimba,
    so siteesaganya na bakuusa.
(E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
    so situula na bakozi ba bibi.
(F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
    ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
(G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
    olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

(H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
    kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
(I)Tombalira mu boonoonyi,
    wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
    era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
    nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 (L)Nnyimiridde watereevu.
    Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Zabbuli 28

Zabbuli ya Dawudi.

28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
    tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
    nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
(B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
    nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
    nga nkukaabirira okunnyamba.

(C)Tontwalira mu boonoonyi,
    abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
    so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
(D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
    n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
    obabonereze nga bwe basaanidde.

(E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
    oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
    era talibaddiramu.

Atenderezebwe Mukama,
    kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
(F)Mukama ge maanyi gange,
    era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
    Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.

(G)Mukama y’awa abantu be amaanyi,
    era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
(H)Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
    Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.

Zabbuli 36

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
    obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
    tatya Katonda.

Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
    oba okukyawa ekibi kye.
(B)Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
    takyalina magezi era takyakola birungi.
(C)Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
    amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
    era ebitali bituufu tabyewala.

Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
    obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(D)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
    n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
    (E)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
    baddukira mu biwaawaatiro byo.
(F)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
    obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
(G)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
    era gw’otwakiza omusana.

10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
    era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
    wadde ababi okunsindiikiriza.
12 (H)Laba, ababi nga bwe bagudde!
    Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.

Zabbuli 39

Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
    n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
    nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
(B)Naye bwe nasirika
    ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
    ate obuyinike bwange ne bweyongera.
Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
    Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
    kyenava njogera nti:

(C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
    n’ennaku ze nsigazza;
    ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
(D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
    Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
    Buli muntu, mukka bukka.

(E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
    Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
    Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.

(F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
(G)Ondokole mu bibi byange byonna,
    abasirusiru baleme okunsekerera.
(H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
    kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
    emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
    omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
    Ddala omuntu mukka bukka.

12 (K)Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
    owulire okukaaba kwange onnyambe.
    Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
    nga bajjajjange bonna bwe baali.
13 (L)Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno,
    ne mbulirawo ddala.

Engero 15:16-33

16 (A)Okuba n’akatono ng’otya Mukama,
    kusinga okuba n’ebingi naye ng’oli mu mitawaana.

17 (B)Okulya emmere ng’eriko enva endiirwa awali okwagalana,
    kisinga okuliirako ebyassava awali obukyayi.

18 (C)Omuntu asunguwala amangu asaanuula oluyombo,
    naye omugumiikiriza akakkanya embeera.

19 (D)Ekkubo ly’omugayaavu lijjula amaggwa,
    naye ekkubo ly’omutuukirivu golokofu.

20 (E)Omwana omugezi asanyusa kitaawe,
    naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina.

21 (F)Obusirusiru ssanyu eri oyo atalina magezi,
    naye omuntu ategeera atambulira mu kkubo eggolokofu.

22 (G)Awatali kuluŋŋamizibwa entegeka zifa,
    naye awali abawi b’amagezi abangi ziyitamu.

23 (H)Okuddamu obulungi kisanyusa,
    era kirungi ekigambo ekirungi okujjira mu kiseera ekituufu.

24 Ekkubo ery’obulamu liyimusa omugezi,
    ne limuziyiza okukka emagombe.

25 (I)Mukama azikiriza ennyumba y’ab’amalala,
    kyokka akuuma ensalo za nnamwandu.

26 (J)Enkwe za muzizo eri Mukama,
    naye ebigambo ebisaanidde, bimusanyusa.

27 (K)Oyo anoonya okugaggawalira mu bukyamu aleetera ennyumba ye emitawaana,
    naye oyo akyawa enguzi aliba mulamu.

28 (L)Omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza bye gunaayanukula,
    naye akamwa k’omwonoonyi kafubutula ebitasaana.

29 (M)Mukama ali wala n’aboonoonyi,
    naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.

30 Amaaso agajjudde essanyu gasanyusa omutima,
    n’amawulire amalungi galeetera amagumba obulamu.

31 (N)Oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa okuleeta obulamu,
    alituula wamu n’abagezi.

32 (O)Agayaalirira okubuulirirwa yeerumya yekka,
    naye oyo assaayo omwoyo eri okunenyezebwa afuna okutegeera.

33 (P)Okutya Mukama kuyigiriza omuntu amagezi,
    n’obwetoowaze kye kitiibwa ky’omuntu oyo.

1 Timoseewo 1:18-2:8

18 (A)Mwana wange Timoseewo, nkukubiriza ojjukire ebigambo bya bannabbi bye baakwogerako edda, olyoke olwane olutalo n’obuzira, 19 (B)ng’okukkiriza, n’omwoyo omulungi, bye byokulwanyisa byo. Kubanga abalala abagaana okuba n’omwoyo ogwo omulungi bafiirwa okukkiriza kwabwe. 20 (C)Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.

Okusaba

Okusookera ddala, mbasaba, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw’abantu bonna. (D)Era musabirenga bakabaka n’abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. Ekyo kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, (E)ayagala abantu bonna balokolebwe, era bategeere amazima. (F)Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w’abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, (G)eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. (H)Era nze kye nateekebwawo mbeere omutume era omuyigiriza w’Abamawanga, mbategeeze eby’okukkiriza n’eby’amazima; njogera bituufu sirimba.

(I)Noolwekyo njagala abantu buli wantu, basabenga Katonda nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.

Matayo 12:33-42

33 (A)“Buli muti gutegeererwa ku bibala byagwo. Omuti bw’ogulabirira gubala ebibala ebirungi, naye bw’ogulagajjalira tegubala bibala. 34 (B)Mmwe abaana b’embalasaasa, mmwe abalina ebibi muyinza mutya okwogera ebirungi? Akamwa koogera ku biba bijjudde mu mutima. 35 Omuntu omulungi afulumya ebirungi okuva mu tterekero lye eddungi, era n’omuntu omubi afulumya ebibi okuva mu tterekero lye ebbi. 36 Era mbategeeza nti buli kigambo kyonna ekitasaana abantu kye boogera, kiribabuuzibwa ku lunaku olw’okusalirako emisango. 37 Bwe bityo ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu era ebigambo byo bye birikusalizisa omusango.”

Akabonero ka Nnabbi Yona

38 (C)Awo abamu ku bannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza twagala otulage akabonero.”

39 (D)Naye n’abaddamu nti, “Omulembe omwonoonefu era omwenzi ogunoonya akabonero; temugenda kuweebwa kabonero okuggyako aka nnabbi Yona. 40 (E)Kubanga Yona nga bwe yamala mu lubuto lw’ekyennyanja ekinene ennaku ssatu emisana n’ekiro, n’Omwana w’Omuntu bw’atyo bw’alimala mu ttaka ennaku ssatu emisana n’ekiro. 41 (F)Abantu b’e Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu b’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona. Naye laba asinga Yona ali wano. 42 (G)Era ku lunaku olw’okusalirako omusango, kabaka omukazi ow’omu bukiikaddyo alisaliza abantu ab’omulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero y’ensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani. Naye laba asinga Sulemaani ali wano.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.