Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 25

Zabbuli ya Dawudi.

25 (A)Eri ggwe, Ayi Mukama,
    gye ndeeta okusaba kwange.

(B)Neesiga ggwe, Ayi Mukama, tondeka kuswala mu maaso g’abalabe bange. Tobaganya kumpangula.
(C)Ddala ddala abakwesiga tebaajulirirenga,
    naye ab’enkwe baliswazibwa.

(D)Njigiriza nga bwe nnaakolanga, Ayi Mukama,
    ondage amakubo go mwe nnaatambuliranga.
Onjigirizenga okunywerera ku mazima go, era onkulemberenga mu byonna;
    kubanga ggwe Katonda, ow’obulokozi bwange
    era essuubi lyange liri mu ggwe olunaku lwonna.
(E)Jjukira, Ayi Mukama, okusaasira kwo okunene, n’okwagala kwo okungi,
    kubanga byava dda.
(F)Tojjukira bibi byange
    n’obujeemu bwange eby’omu buvubuka bwange.
Onzijukire, Ayi Mukama,
    ng’okwagala kwo gye ndi bwe kuli, kubanga oli mulungi.

(G)Mukama mulungi, era wa mazima,
    noolwekyo ayigiriza aboonoonyi ekkubo lye.
(H)Abawombeefu abaluŋŋamya mu kkubo ettuufu
    n’abayigiriza ekkubo lye.
10 (I)Amakubo ga Mukama gonna gajjudde okwagala n’amazima
    eri abo abagondera endagaano ye n’ebiragiro bye.
11 (J)Olw’erinnya lyo, Ayi Mukama,
    onsonyiwe ebibi byange, kubanga bingi.

12 (K)Omuntu wa ngeri ki atya Katonda?
    Oyo gw’anaayigirizanga okukwata ekkubo lye yamulondera.
13 (L)Obulamu bwe bunajjuzibwanga emikisa gya Katonda,
    era bazzukulu be ensi eriba yaabwe.
14 (M)Mikwano gya Mukama be bo abamugondera;
    anaababikkuliranga ekyama eky’endagaano ye.
15 (N)Ntunuulira Mukama buli kiseera,
    kubanga yekka y’anzigya mu kabi.

16 (O)Nkyukira, Ayi Mukama, onkwatirwe ekisa,
    kubanga nsigadde bw’omu, era ndi munafu.
17 (P)Obuyinike bweyongedde mu mutima gwange;
    mponya okweraliikirira kwange.
18 (Q)Tunuulira ennaku endiko, weetegereze obulumi bwange;
    onzigyeko ebibi byange byonna.
19 (R)Laba abalabe bange nga bwe beeyongedde obungi
    n’okunkyawa kwe bankyawamu!

20 (S)Labiriranga obulamu bwange, obamponye;
    tondekanga mu buswavu,
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
21 (T)Amazima n’obulongoofu bindabirirenga,
    essubi lyange liri mu ggwe.

22 (U)Nunula Isirayiri, Ayi Katonda,
    omuwonye emitawaana gye gyonna.

Zabbuli 9

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.

(A)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
    nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
(B)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
    Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.

Abalabe bange bazzeeyo emabega,
    beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
(C)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
    era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
(D)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
    erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
(E)Abalabe obamaliddewo ddala,
    n’ebibuga byabwe obizikirizza,
    era tewali aliddayo kubijjukira.

(F)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
    era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
(G)Aliramula ensi mu butuukirivu,
    era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
(H)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
    era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (I)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
    kubanga abakunoonya tobaleka bokka.

11 (J)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
    mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (K)Ajjukira n’awoolera eggwanga
    era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.

13 (L)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
    onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (M)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
    mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
    era njagulizenga mu bulokozi bwo.

15 (N)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
    era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
    Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (O)Ababi balisuulibwa emagombe;
    ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (P)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
    era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.

19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
    leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (Q)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
    amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.

Zabbuli 15

Zabbuli ya Dawudi.

15 (A)Ayi Mukama, ani anaabeeranga mu nnyumba yo?
    Ani anaatuulanga ku lusozi lwo olutukuvu?

(B)Oyo ataliiko kya kunenyezebwa,
    akola eby’obutuukirivu,
era ayogera eby’amazima nga biviira ddala mu mutima gwe.
    (C)Olulimi lwe talwogeza bya bulimba,
era mikwano gye tagiyisa bubi,
    so tasaasaanya ŋŋambo ku baliraanwa be.
(D)Anyooma ababi,
    naye abatya Mukama abassaamu ekitiibwa.
Atuukiriza ky’asuubiza
    ne bwe kiba nga kimulumya.
(E)Bw’awola tasaba magoba;
    so takkiriza kulya nguzi ku muntu yenna.

Oyo akola ebyo
    aliba munywevu emirembe gyonna.

Engero 10:1-12

Engero za Sulemaani

10 (A)Engero za Sulemaani:

Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
    naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.

(B)Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
    naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.

(C)Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,
    naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.

(D)Emikono emigayaavu gyavuwaza,
    naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.

Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,
    naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.

(E)Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
    naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.

(F)Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,
    naye erinnya ly’omubi linaavundanga.

(G)Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
    naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.

(H)Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
    naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.

10 (I)Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,
    n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.

11 (J)Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,
    naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.

12 (K)Obukyayi buleeta enjawukana,
    naye okwagala kubikka ku bibi bingi.

1 Timoseewo 1:1-17

Okulamusa

(A)Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu, nga Katonda Omulokozi waffe ne Kristo Yesu essuubi lyaffe, bwe baalagira, (B)nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.

Okwerinda Enjigiriza Enkyamu

(C)Njagala osigale mu Efeso, nga bwe nakukuutira nga ŋŋenda e Makedoniya oziyize abantu baleme kuyigiriza njigiriza ndala. (D)Bagambe balekeraawo okwemalira ku nfumo, ne ku kulondoola enkalala empanvu ez’amannya g’abajjajja. Ebyo byongera mpaka, mu kifo ky’okuyigiriza abantu ebya Katonda ebiri mu kukkiriza. (E)Kye tugenderera mu kiragiro kino, kwe kwagala okuva mu mutima omulongoofu, n’omwoyo omulungi, n’okukkiriza okutaliimu bukuusa. Ebyo abantu abamu babivaako ne badda mu mpaka ezitaliimu mugaso. Beefuula bayigiriza b’amateeka ga Katonda, songa tebategeera bye boogera, wadde bye bakakasa. (F)Tumanyi ng’amateeka malungi, omuntu bw’agakozesa mu ngeri entuufu. (G)Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala, 10 (H)n’abenzi, n’abalya ebisiyaga, abagula n’abatunda abaddu, abalimba n’abalayirira obwereere, ne bonna abatakkiriziganya na njigiriza ntuufu, 11 (I)ng’Enjiri ey’ekitiibwa kya Katonda atenderezebwa, gye yankwasa bw’eri.

Okwebaza Katonda olw’Ekisa kye

12 (J)Neebaza Kristo Yesu Mukama waffe eyampa amaanyi ag’okumuweereza. Mwebaza kubanga yalaba nga nsaanira, n’ankwasa omulimu gwe. 13 (K)Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza. 14 (L)Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu. 15 (M)Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala. 16 (N)Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo. 17 (O)Kabaka ow’olubeerera, atafa era atalabika, Katonda omu yekka, agulumizibwenga, emirembe n’emirembe. Amiina.

Matayo 12:22-32

Yesu ne Beeruzebuli

22 (A)Awo Yesu ne bamuleetera omusajja eyaliko dayimooni, nga muzibe w’amaaso era nga tayogera. N’amuwonya, omusajja eyali tasobola kwogera n’asobola okwogera n’okulaba. 23 (B)Abantu bonna ne beewuunya ne boogera nti, “Ddala ddala ono si mwana wa Dawudi?”

24 (C)Naye Abafalisaayo bwe baakiwulira ne boogera nti, “Ono agoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni.”

25 (D)Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe n’abagamba nti, “Obwakabaka bwe bwawukanamu, oba ekibuga wadde amaka, tebiyinza kuyimirira. 26 (E)Ne Setaani bw’agoba Setaani munne ku muntu aba yeyawuddemu. Obwakabaka bwe bunaayimirira butya? 27 (F)Obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni, kale batabani bammwe babagoba ku bw’ani? Noolwekyo be bali basalira omusango. 28 Naye bwe mba ngoba baddayimooni n’amaanyi g’Omwoyo wa Katonda, kale Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

29 “Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nnyumba y’omuntu ow’amaanyi, n’amunyagako ebintu bye okuggyako ng’asooka okusiba ow’amaanyi oyo? Olwo n’alyoka anyaga ebintu bye.

30 (G)“Oyo atali nange, mulabe wange. N’oyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya. 31 (H)Noolwekyo mbategeereza ddala nti omuntu alisonyiyibwa buli kibi kyonna, na buli kuvvoola. Naye alivvoola Mwoyo Mutukuvu talisonyiyibwa. 32 (I)Na buli muntu ayogera ekigambo ekibi ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye ayogera ekibi ku Mwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa mu mulembe guno wadde ogugenda okujja.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.