Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
101 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo;
nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
2 Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu,
naye olijja ddi gye ndi?
Nnaabeeranga mu nnyumba yange
nga siriiko kya kunenyezebwa.
3 (B)Sijjanga kwereetereza kintu
kyonna ekibi.
Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo;
sijjanga kubyeteekako.
4 (C)Sijjanga kuba mukuusa;
ekibi nnaakyewaliranga ddala.
5 (D)Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama,
nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala
sijja kubigumiikirizanga.
6 (E)Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga,
balyoke babeerenga nange;
akola eby’obutuukirivu
y’anamperezanga.
7 Atayogera mazima
taabeerenga mu nnyumba yange.
Omuntu alimba
sirimuganya kwongera kubeera nange.
8 (F)Buli nkya nnaazikirizanga
abakola ebibi bonna mu nsi,
bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala
mu kibuga kya Mukama.
Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
109 (A)Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
tonsiriikirira.
2 (B)Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
banjogeddeko eby’obulimba.
3 (C)Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
ne bannumbagana awatali nsonga.
4 (D)Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
kyokka nze mbasabira.
5 (E)Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.
6 (F)Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
wabeewo amuwawaabira.
7 (G)Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
8 (H)Aleme kuwangaala;
omuntu omulala amusikire.
9 (I)Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 (J)Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 (K)Waleme kubaawo amusaasira,
wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 (L)Ezzadde lye lizikirizibwe,
n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 (M)Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 (N)Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
n’ensi ebeerabirire ddala.
16 (O)Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 (P)Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 (Q)Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
ne kumutobya ng’amazzi,
ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 (R)Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
era abanjogerako eby’akabi ebyereere.
21 (S)Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
nnwanirira olw’erinnya lyo;
era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 (T)Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
mmansuddwa eri ng’enzige.
24 (U)Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 (V)Abandoopaloopa bansekerera;
bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.
26 (W)Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 (X)Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 (Y)Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
Leka abannumbagana baswale,
naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 (Z)Abandoopa baswazibwe,
n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.
30 (AA)Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;
nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
ע Ayini
121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu;
tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
122 (A)Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo,
oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
123 (B)Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo
n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
124 (C)Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli;
era onjigirize amateeka go.
125 (D)Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi;
ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola,
kubanga amateeka go gamenyeddwa.
127 (E)Naye nze njagala amateeka go
okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
128 (F)Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu;
nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.
פ Pe
129 Ebiragiro byo bya kitalo;
kyenva mbigondera.
130 (G)Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana;
n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
131 (H)Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja
nga njaayaanira amateeka go.
132 (I)Nkyukira, onkwatirwe ekisa,
nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
133 (J)Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri,
era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
134 (K)Mponya okujooga kw’abantu,
bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
135 (L)Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa,
era onjigirizenga amateeka go.
136 (M)Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga,
olw’abo abatakwata mateeka go.
צ Tisade
137 (N)Oli mutuukirivu, Ayi Katonda,
era amateeka go matuufu.
138 (O)Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu,
era byesigibwa.
139 (P)Nnyiikadde nnyo munda yange,
olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
140 (Q)Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo,
kyenva mbyagala.
141 (R)Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
142 (S)Obutuukirivu bwo bwa lubeerera,
n’amateeka go ga mazima.
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi,
amateeka go ge gansanyusa.
144 (T)Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna;
onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.
Yerusaalemi Kizzibwa Obuggya
2 (A)Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era n’ebibala by’ensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo. 3 (B)Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi. 4 (C)Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bw’abakazi ba Sayuuni, era n’omwoyo ogusala ensonga n’omwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo g’omusaayi mu Yerusaalemi. 5 (D)Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obw’emisana, n’omukka n’okumasaamasa ng’omuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna eky’olusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda. 6 (E)Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.
Okuba ab’omubiri ogumu
4 (A)Ng’omusibe wa Mukama waffe, mbakuutira mubeere n’empisa ezisaanira obulamu bwe mwayitirwa okutambuliramu. 2 Mubeerenga bakkakkamu, abawombeefu era abagumiikiriza, nga mugumiikirizagana mu kwagala. 3 (B)Munyiikirenga okukuuma obumu obw’Omwoyo mu kwegatta awamu okw’emirembe. 4 (C)Omubiri nga bwe guli ogumu, n’Omwoyo omu, n’essuubi liri limu ery’okuyitibwa kwammwe. 5 Mukama waffe ali omu, n’okukkiriza kumu n’okubatizibwa kumu. 6 Katonda ali omu, era ye Kitaawe wa bonna, afuga byonna, akolera mu byonna era abeera mu byonna.
7 (D)Buli omu ku ffe yaweebwa ekisa ng’okugera kwa Kristo bwe kuli. 8 (E)Ebyawandiikibwa kyebiva bigamba nti,
“Bwe yalinnya mu ggulu,
n’atwala omunyago,
n’awa abantu ebirabo.”
9 Okugamba nti “yalinnya,” kitegeeza ki? Kitegeeza nti yasooka kukka mu bitundu ebya wansi w’ensi. 10 Oyo Kristo eyakka, ye wuuyo ddala eyalinnya ewala ennyo, n’ayisa waggulu w’eggulu lyonna, alyoke ajjule obwengula bw’ensi yonna. 11 (F)Era y’omu oyo eyawa abamu okuba abatume, n’abalala okuba bannabbi, n’abalala okuba ababuulizi b’enjiri, n’abalala okuba abasumba, n’abalala okuba abayigiriza. 12 (G)Ekyo yakikola olw’okutendeka abantu ba Katonda olw’omulimu ogw’obuweereza, okuzimba omubiri gwa Kristo. 13 (H)Ekyo kijja kutwongera okugenda mu maaso, okutuusa ffenna lwe tulibeera n’okukkiriza kumu, n’okumanyira ddala Omwana wa Katonda nga tukulidde ddala mu mwoyo okutuuka ku kigera eky’okubeera nga Kristo bw’ali.
14 (I)Tuteekwa okulekeraawo okweyisa ng’abaana abato, nga tuyuuguumizibwa amayengo nga tutwalibwa buli muyaga ogw’okuyigiriza okw’abantu abakuusa, mu nkwe olw’okugoberera enteekateeka ey’obulimba. 15 (J)Tube ba mazima mu kwagala, tulyoke tukulire mu Kristo mu byonna, nga tweyongera okuba nga ye, Omutwe gw’Ekkanisa. 16 (K)Mu ye omubiri gwonna mwe gugattirwa obulungi awamu, ne guyungibwa mu buli nnyingo, nga gukola ng’ekigera kya buli kitundu bwe kuli, nga gukula era nga gwezimba mu kwagala.
28 (A)Awo bwe yatuuka emitala w’eri mu nsi y’Abagadaleni, abasajja babiri abaaliko baddayimooni ne bava mu malaalo ne bajja gy’ali. Baali bakambwe nnyo, nga tewali na muntu ayinza kuyita mu kkubo eryo. 29 (B)Ne bawowoggana nnyo nti, “Otwagaza ki, ggwe Omwana wa Katonda! Ojjidde ki okutubonyaabonya ng’ekiseera kyaffe tekinnaba kutuuka?”
30 Walako ne we baali waaliwo eggana ly’embizzi[a] nga zirya, 31 baddayimooni ne basaba Yesu nti, “Obanga ogenda kutogoba ku bantu bano, tusindike mu ggana ly’embizzi.”
32 Yesu n’agamba baddayimooni nti, “Kale, mugende.” Ne bava ku bantu, ne bayingira mu mbizzi, eggana lyonna ne lifubutuka ne liva ku bbangabanga ne lyeyiwa mu nnyanja embizzi zonna ne zisaanawo. 33 Naye abaali balunda embizzi ne badduka ne bagenda mu kibuga ne babuulira abantu byonna ebibaddewo, n’eby’abasajja abaaliko baddayimooni. 34 (C)Abantu b’omu kibuga bonna ne bafuluma okujja okusisinkana Yesu. Bwe baamulaba ne bamwegayirira abaviire mu kitundu kyabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.