Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 80

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Amalanga g’Endagaano.” Zabbuli ya Asafu.

80 (A)Wulira, Ayi Omusumba wa Isirayiri;
    ggwe akulembera Yusufu ng’alunda ekisibo kyo;
ggwe atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu bakerubi, twakire.
    (B)Amaanyi go galabike mu Efulayimu,
ne mu Benyamini ne mu Manase,[a]
    ojje otulokole.

(C)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda,
    otutunuulize amaaso ag’ekisa,
    otulokole.

Ayi Katonda, Mukama ow’Eggye,
    olituusa ddi okusunguwalira okusaba kw’abantu bo?
(D)Wabaliisa emmere ejjudde amaziga;
    n’obanywesa ebikopo by’amaziga musera.
(E)Otufudde eky’okusekererwa mu baliraanwa baffe,
    n’abalabe baffe ne batuduulira.

Tukomyewo gy’oli, Ayi Mukama ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulokolebwe.

(F)Waleeta omuzabbibu ng’oguggya mu Misiri;
    n’ogobamu amawanga agaali mu nsi muno n’ogusimba.
Wagulongooseza ettaka, ne gumera,
    emirandira ne ginywera bulungi, ne gwagaagala mu nsi.
10 Ekisiikirize kyagwo ne kibikka ensozi,
    n’amatabi gaagwo ne gaba ng’emivule egy’amaanyi.
11 (G)Amatabi gaagwo ne gatuuka ku Nnyanja eya Wakati
    n’amatabi g’ennyanja gaayo ne gatuuka ku Mugga Fulaati.

12 (H)Kale wamenyera ki ebisenge byagwo,
    abayitawo bonna ne beenogera ebibala byagwo?
13 (I)Embizzi ez’omu kibira zigwonoona,
    na buli nsolo ey’omu nsiko egulya.
14 (J)Tukyukire, Ayi Katonda ow’Eggye,
    otunuulire ensi ng’osinziira mu ggulu;
olabirire omuzabbibu guno.
15     Gwe wagwesimbira n’omukono gwo ogwa ddyo,
    era ggwe weerondera omwana wo.

16 (K)Bagutemye, ne bagwokya omuliro;
    abakoze ekyo banenye mu bukambwe, obazikirize.
17 Naye muwe amaanyi omusajja oyo gw’oyagala
    era omwana oyo gwe weerondera.
18 Bwe tutyo tuleme okukuvaako, n’okukukuba amabega.
    Otuzzeemu amaanyi, naffe tunaakoowoolanga erinnya lyo.

19 Otukomyewo gy’oli, Ayi Mukama Katonda ow’Eggye,
    otutunuulize amaaso go ag’ekisa,
    tulyoke tulokolebwe.

Zabbuli 77

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

77 (A)Nnaakaabirira Katonda ambeere,
    ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire.
(B)Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama,
    ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa;
    emmeeme yange neegaana okusanyusibwa.

(C)Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda,
    ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika.
Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera.
(D)Ne ndowooza ku biseera eby’edda,
    ne nzijukira emyaka egyayita.
Najjukiranga ennyimba zange ekiro,
    ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti:

(E)“Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna
    naataddayo kutulaga kisa kye?
(F)Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala?
    Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe?
(G)Katonda yeerabidde ekisa kye?
    Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?”

10 (H)Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi
    eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.”
11 (I)Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama,
    weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda.
12 Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi;
    nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna.
13 (J)Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu.
    Tewali katonda yenkana Katonda waffe.
14 Ggwe Katonda akola eby’amagero;
    era amaanyi go ogalaga mu mawanga.
15 (K)Wanunula abantu bo n’omukono gwo,
    abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu.

16 (L)Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda;
    amazzi bwe gaakulaba ne gatya,
    n’obuziba ne bukankanira ddala.
17 (M)Ebire byayiwa amazzi
    ne bivaamu n’okubwatuka,
    era n’obusaale bwo ne bubuna.
18 (N)Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta
    okumyansa kwo ne kumulisa ensi.
    Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa.
19 (O)Ekkubo lyo lyali mu nnyanja;
    wayita mu mazzi amangi,
    naye ebigere mwe walinnya tebyalabika.

20 (P)Wakulembera abantu bo ng’ekisibo,
    nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni.

Zabbuli 79

Zabbuli ya Asafu.

79 (A)Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga;
    boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa,
    ne kifuuka entuumo.
(B)Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde
    mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga,
    n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko.
(C)Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi
    okwetooloola Yerusaalemi,
    so nga abafudde tewali muntu abaziika.
(D)Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso,
    era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde.

(E)Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna?
    Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro?
(F)Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga
    agatakumanyi,
ne ku bwakabaka
    obutakoowoola linnya lyo.
Kubanga bazikirizza Yakobo,
    ne basaanyaawo ensi ye.

(G)Totubalira kibi kya bajjajjaffe;
    tukusaba oyanguwe okutusaasira
    kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo.
(H)Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo,
    Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe;
otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe
    olw’erinnya lyo.
10 (I)Lwaki abamawanga babuuza nti,
    “Katonda waabwe ali ludda wa?”

Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa,
    kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba.
11 Wuliriza okusinda kw’omusibe;
    okozese omukono gwo ogw’amaanyi
    owonye abo abasaliddwa ogw’okufa.
12 (J)Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira,
    bawalane emirundi musanvu.
13 (K)Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo,
    tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna;
    buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna.

Ebyabaleevi 25:35-55

Etteeka ery’Okuwola Ensimbi

35 (A)“Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe. 36 (B)Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe. 37 Bw’omuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gw’omuwoze so tasukkirizangamu. Era bw’omuguzanga emmere tossangamu magoba. 38 (C)Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri okubawa ensi ya Kanani n’okubeera Katonda wammwe.

Okununula Abaddu

39 (D)“Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu. 40 Munaamukozesanga ng’omupakasi ow’empeera oba ng’omusuze obusuze, ng’ali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. 41 (E)Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be. 42 Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu. 43 (F)Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe. 44 Abaddu bammwe abasajja n’abaddu bammwe abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde, mu mawanga ago mwe muneeguliranga abaddu abasajja n’abaddu abakazi. 45 Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe. 46 Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ng’obusika bwabwe obw’emirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe.

47 “Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bw’anaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera n’ayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku b’omu luggya lwa munnaggwanga, 48 (G)anaayinzanga okununulibwa, ng’amaze okwetunda. Omu ku baganda be anayinzanga okumununula: 49 (H)Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala ow’okumpi mu buzaale ow’omu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bw’anaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula. 50 (I)Ye n’oli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogw’okununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gw’emyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala n’eyamugula linaageraageranyizibwanga n’ebbanga ery’omupakasi asasulwa empeera. 51 Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ng’ekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olw’okwenunula. 52 Naye bw’eneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gy’anaabalirirangamu ensimbi zaamu n’asasula ezo nga bwe kyetaagisa olw’okwenunula. 53 Oyo eyagula munne anaamuyisanga ng’omupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba.

54 “Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri. 55 Kubanga abaana ba Isirayiri bantu bange, abaweereza bange be naggya mu nsi ey’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.

Abakkolosaayi 1:9-14

(A)Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 10 (B)Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 11 (C)Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 12 (D)nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 13 (E)Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14 atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Matayo 13:1-16

Olugero lw’Omusizi

13 (A)Ku lunaku olwo Yesu n’afuluma mu nnyumba n’agenda n’atuula ku lubalama lw’ennyanja. (B)Ekibiina kinene ne kimukuŋŋaanirako. Kwe kuyingira mu lyato n’atuula omwo abantu bonna ne bayimirira ku lubalama. N’ababuulira ebintu bingi mu ngero ng’agamba nti, “Omulimi yali asiga ensigo mu nnimiro ye. Bwe yagenda ng’amansa ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali g’ekkubo, ennyonyi ne zijja ne zizirya. Endala ne zigwa ku lwazi okutali ttaka lingi era ne zimera mangu kubanga ettaka teryali ggwanvu. Naye omusana bwe gwayaka ne ziwotoka kubanga emirandira gyazo gyali kumpi. Endala ne zigwa mu maggwa, bwe zaamera amaggwa nago ne gakula ne gazisinga amaanyi, obulimi obwali bwakamera ne bukala. (C)Endala ne zigwa ku ttaka eddungi, ne zimera ne zibala bulungi, ne zivaamu emirundi amakumi asatu, n’endala emirundi nkaaga n’endala emirundi kikumi. (D)Alina amatu agawulira, awulire.”

10 Abayigirizwa be ne bamusemberera ne bamubuuza nti, “Lwaki oyogera nabo mu ngero?”

11 (E)N’abaddamu nti, “Mmwe mulina omukisa kubanga mwaweebwa okutegeera ebyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu, naye bo tebaakiweebwa. 12 (F)Kubanga buli alina alyongerwako abeerere ddala na bingi, naye oyo atalina aliggyibwako n’ako akatono k’alina. 13 (G)Kyenva njigiriza mu ngero:

“Abalaba baleme okulaba,
    n’abawulira baleme okuwulira wadde okutegeera.

14 Kino kituukiriza nnabbi Isaaya kye yagamba nti,

“ ‘Muliwulira naye temulitegeera
    n’okulaba muliraba naye temulimanya.
15 (H)Kubanga omutima gw’abantu bano
    gwesibye,
    n’amatu gaabwe tegawulira bulungi.
N’amaaso gaabwe gazibiridde baleme okulaba n’amaaso wadde okuwulira n’amatu,
    wadde omutima gwabwe okutegeera,
ne bakyuka
    ne mbawonya.’

16 (I)Naye amaaso gammwe galina omukisa, kubanga galaba, n’amatu gammwe kubanga gawulira.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.