Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
70 (A)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
2 (B)Abo abannoonya okunzita
batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
bagobebwe nga baswadde.
3 Abagamba nti, “Kasonso,”
badduke nga bajjudde ensonyi.
4 Naye bonna abakunoonya
basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Katonda agulumizibwenga!”
5 (C)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
Ayi Mukama, tolwa!
71 (D)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
tondeka kuswazibwa.
2 (E)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
ontegere okutu ondokole.
3 (F)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
4 (G)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
5 (H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
6 (I)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
7 (J)Eri abangi nafuuka;
naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
8 (K)Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
9 (L)Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10 (M)Kubanga abalabe bange banjogerako;
abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11 (N)Bagamba nti, “Katonda amulese,
ka tumugobe tumukwate,
kubanga taliiko anaamuwonya.”
12 (O)Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
yanguwa ojje ombeere.
13 (P)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
abanoonya okunnumya baswale
era banyoomebwe.
14 (Q)Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
15 (R)Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
wadde siyinza kubupima.
16 (S)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17 (T)Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18 (U)Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
19 (V)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
Ggw’okoze ebikulu,
Ayi Katonda, ani akwenkana?
20 (W)Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21 (X)Olinnyongerako ekitiibwa
n’oddamu okunsanyusa.
22 (Y)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 (Z)Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
nga nkutendereza,
nze gw’onunudde!
24 (AA)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.
Zabbuli ya Asafu.
74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
2 (B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
ekika kye wanunula okuba ababo.
Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
3 Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.
4 (C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
5 (D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
abatema emiti mu kibira.
6 (E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
era ne babissessebbula n’obubazzi.
7 Bookezza awatukuvu wo;
ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
8 (F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
9 (G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?
12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
gw’oleeta obulokozi mu nsi.
13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
ate n’okaza n’emigga
egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.
18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
n’okuleekaana okwa buli kiseera.
26 (A)“Tolyanga nnyama yonna nga teweddeemu musaayi;
“so tokolanga bya ddogo wadde eby’okulagula.
27 (B)“Enviiri ez’oku mabbali g’omutwe gwo tozisalangako; n’ekirevu kyo tokikomolanga.
28 “Toweesalanga misale ku mubiri gwo olw’okujjukira abaafa oba okwesalako enjola. Nze Mukama.
29 (C)“Tofuulanga mwana wo omuwala ekivume ng’omufudde omwenzi, kubanga kirireetera abantu mu nsi yo okufuuka abenzi, n’ensi n’ejjula okwonoona.
30 (D)“Mukuumanga Ssabbiiti zange era mussangamu ekitiibwa ekifo kyange ekitukuvu. Nze Mukama.
31 (E)“Temwebuuzanga ku basamize oba okukyukiranga abalogo, kubanga bagenda kubaleetera okwonooneka. Nze Mukama Katonda wammwe.
32 (F)“Ositukiranga ow’envi, n’omukadde omussangamu ekitiibwa, era ne Katonda wo omutyanga. Nze Mukama.
33 “Omugwira bw’abeeranga omutuuze mu nsi yammwe, temumuyisanga bubi. 34 (G)Omugwira atuula mu mmwe mumuyisenga ng’omuzaaliranwa ow’omu nsi yammwe. Mumwagalenga nga bwe mweyagala, kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
35 “Temubangamu kyekubiira nga mupima obuwanvu, oba obuzito, oba obungi bw’ebintu. 36 (H)Mubanga ne minzaani entuufu, n’amayinja agapima obuzito amatuufu, n’ekipima ebikalu (efa) ekituufu, n’ekipima ebiyiikayiika ng’amazzi (ini) ekituufu. Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y’e Misiri.
37 “Munaakwatanga amateeka gange gonna, n’ebiragiro byange byonna, okubitambulirangako. Nze Mukama.”
1 (A)Nze Pawulo ne Sirwano[a] ne Timoseewo tuwandiikira Ekkanisa ey’Abasessaloniika, abantu ba Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, 2 (B)ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo, bibeerenga nammwe.
Okwebaza n’Okusaba
3 (C)Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka, 4 (D)ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu n’okubonaabona bye mugumiikiriza. 5 (E)Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, 6 (F)ate ng’abo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. 7 (G)Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi, 8 (H)mu muliro ogwaka, n’abonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. 9 (I)Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge. 10 (J)Bw’alijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.
11 (K)Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi, 12 (L)erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.
Temweraliikiriranga
25 (A)“Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe, bye munaalya oba bye munaanywa, wadde ebyokwambala. Kubanga obulamu businga ebyokulya, n’omubiri gusinga ebyambalo. 26 (B)Mulabire ku nnyonyi ez’omu bbanga! Tezisiga so tezikungula so tezikuŋŋaanyiza mmere mu tterekero, naye Kitammwe ali mu ggulu aziriisa. Naye mmwe temusinga nnyo ennyonyi ezo? 27 (C)Ani ku mmwe, bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu?”
28 “Naye lwaki mweraliikirira ebyokwambala? Mulabire ku malanga ag’oku ttale! Tegaliiko kye geekolera, 29 (D)naye ne Kabaka Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 30 (E)Naye obanga Katonda ayambaza obulungi bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko ogw’ekiseera obuseera, ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, talisingawo nnyo okubambaza? Nga mulina okukkiriza okutono! 31 Noolwekyo temweraliikiririranga nga mugamba nti, ‘Tunaalya ki? Oba nti, Tunaanywa ki? Oba nti, Tunaayambala ki?’ 32 (F)Ebyo byonna bannamawanga bye bayaayaanira. Naye Kitammwe ali mu ggulu amanyi ng’ebyo byonna mubyetaaga. 33 (G)Naye musooke munoonye obwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, ebyo byonna mulibyongerwako. 34 Noolwekyo temweraliikiriranga bya nkya. Kubanga olunaku olw’enkya lulyeraliikirira ebyalwo. Buli lunaku lulina emitawaana gyalwo egimala.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.