Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
40 (A)Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
2 (B)n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,
n’annyinyulula mu bitosi,
n’anteeka ku lwazi olugumu
kwe nyimiridde.
3 (C)Anjigirizza oluyimba oluggya,
oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
n’okumwesiganga.
4 (D)Balina omukisa
abo abeesiga Mukama,
abatagoberera ba malala
abasinza bakatonda ab’obulimba.
5 (E)Ayi Mukama Katonda wange,
otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.
6 (F)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
Naye onzigudde amatu.
7 Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
8 (G)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.
9 (H)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
Sisirika busirisi,
nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (I)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.
11 (J)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (K)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
mpweddemu amaanyi.
13 (L)Onsasire ayi Mukama ondokole;
Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.
14 (M)Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;
n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15 Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16 (N)Naye abo abakunoonya basanyuke
era bajaguze;
abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Mukama agulumizibwenga.”
17 (O)Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.
Mukama ondowoozeeko.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.
Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”
54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
2 (B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.
3 (C)Abantu be simanyi bannumba;
abantu abalina ettima abatatya Katonda;
bannoonya okunzita.
4 (D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
Mukama ye mukuumi wange.
5 (E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
obazikirize olw’obwesigwa bwo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7 (G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8 (H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9 (I)Totunuulira bibi byange,
era osangule ebyonoono byange byonna.
10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
Omutima ogumenyese era oguboneredde,
Ayi Katonda, toogugayenga.
Amateeka ku Mbaga Ennonde
18 (A)“Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse ogikwatanga. Munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitali mizimbulukuse, mu kiseera ekyategekebwa mu mwezi gwa Abibu nga bwe nabalagira; kubanga mu mwezi gwa Abibu mwe mwaviira mu Misiri.
19 (B)“Ebiggulanda byonna byange, n’ennume zonna mu magana go embereberye, oba nte oba ndiga. 20 (C)Endogoyi embereberye onoozinunulanga n’endiga, naye nga toginunudde ogimenyanga ensingo n’ogitta. Abaana bo abaggulanda bonna obanunulanga. Era tewabanga ajja gye ndi engalo ensa.
21 (D)“Onookolanga okumala ennaku mukaaga, naye ku lunaku olw’omusanvu n’owummula; ne mu biseera eby’okukabala n’ebyokukungula onoowummulanga.
22 (E)“Onookwatanga Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Amakungula g’Ebibala Ebibereberye eby’Eŋŋaano, n’Embaga ey’Okuyingiza Amakungula ku nkomerero y’omwaka. 23 (F)Abasajja bonna mu mmwe banaalabikanga awali Mukama Katonda, Katonda wa Isirayiri, emirundi esatu mu buli mwaka. 24 (G)Amawanga ŋŋenda kugagobawo wonna we muli, era ndigaziya n’ensalo zammwe. So tewalibaawo ayagala kutwala nsi yammwe nga mwambuse okulabika awali Mukama Katonda wammwe emirundi egyo esatu mu mwaka.
25 (H)“Temuwangayo kintu kyonna gye ndi ekirimu ekizimbulukusa nga mundeetedde ssaddaaka erimu omusaayi; era ennyama ya ssaddaaka ey’Embaga y’Okuyitako tesigalangawo kutuusa nkeera.
26 (I)“Ebibala ebisinga obulungi mu ebyo ebisoose okuva mu ttaka lyo obitwalanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo.
“Omwana gw’embuzi togufumbiranga mu mata ga nnyina waagwo.”
27 (J)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Wandiika ebigambo ebyo; kubanga nkoze endagaano naawe era ne Isirayiri ng’ebigambo ebyo bwe bigamba.” 28 (K)Musa n’abeera eyo ne Mukama, n’amalayo emisana amakumi ana n’ebiro amakumi ana, nga talya mmere wadde okunywa amazzi. N’awandiika ku bipande ebigambo eby’Endagaano, ge Mateeka Ekkumi.
Amaaso ga Musa Agamasamasa
29 (L)Musa bwe yaserengeta okuva ku lusozi Sinaayi ng’akutte mu ngalo ze ebipande byombi eby’Endagaano, teyakimanya ng’obwenyi bwe bwali bumasamasa kubanga yali ayogedde ne Mukama. 30 Era Alooni n’abaana ba Isirayiri bonna bwe baatunula ku Musa, ne balaba ng’obwenyi bwe bumasamasa; ne batya okumusemberera. 31 Naye Musa n’abayita; bw’atyo Alooni n’abakulembeze b’abantu ne bajja gy’ali, Musa n’ayogera nabo. 32 (M)Oluvannyuma abaana ba Isirayiri bonna ne basembera, n’abategeeza amateeka gonna Mukama ge yamulagira ku lusozi Sinaayi.
33 (N)Awo Musa bwe yamala okwogera nabo, n’abikka obwenyi bwe olugoye. 34 Naye Musa bwe yabanga agenda awali Mukama okwogera naye, ng’olugoye olubikka obwenyi bwe alwebikkula okutuusa lwe yavangayo. Bwe yakomangawo okutegeeza abaana ba Isirayiri Mukama by’amulagidde, 35 baalabanga obwenyi bwe nga bumasamasa. Bw’atyo Musa ne yezzaako olugoye olubikka obwenyi bwe, okutuusa lwe yaddangayo eri Mukama okwogera naye.
3 (A)Oluvannyuma nga tetukyayinza kugumiikiriza ne tusalawo okusigala ffekka mu Asene. 2 Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe, 3 (B)waleme okubaawo n’omu aterebuka olw’okuyigganyizibwa kwe mwalimu. Mmwe mwennyini mumanyi nti ekyo kye twayitirwa. 4 (C)Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi. 5 (D)Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.
Lipoota ya Timoseewo ezzaamu amaanyi
6 (E)Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako. 7 Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi. 8 (F)Kubanga bwe muba abanywevu mu Mukama waffe, naffe tuba balamu. 9 (G)Kale Katonda tumwebaze tutya olw’essanyu eritujjudde ku lwammwe olw’essanyu lye tulina ku lwammwe mu maaso ga Katonda waffe? 10 (H)Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.
11 Katonda Kitaffe yennyini ne Mukama waffe Yesu aluŋŋamye ekkubo lyaffe okujja gye muli. 12 (I)Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala, 13 (J)alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.
Etteeka ly’Obwenzi
27 (A)“Mwawulira bwe kyagambibwa nti, ‘Toyendanga!’ 28 (B)Naye mbagamba nti Buli muntu atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe. 29 (C)Noolwekyo obanga eriiso Lyo erya ddyo likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule wala. Kubanga kirungi okugenda mu ggulu ng’ebitundu byo ebimu tobirina okusinga okugenda nabyo byonna mu ggeyeena. 30 Era obanga omukono gwo ogwa ddyo gukukozesa ebibi, kirungi okugutemako ogusuule wala. Okugenda mu ggulu ng’ekitundu ky’omubiri gwo ekimu tokirina kisinga okugenda mu ggeyeena n’ebitundu by’omubiri gwo byonna. 31 (D)Kyagambibwa nti, ‘Buli anaagobanga mukazi we, anaawanga omukazi oyo ebbaluwa ey’okumugoba.’ 32 (E)Naye mbagamba nti Buli anaagobanga mukazi we wabula olw’obwenzi anaabanga amwenzesezza, n’oyo anaawasanga omukazi gwe bagobye anaabanga ayenze.”
Okulayira
33 (F)“Mwawulira bwe kyagambibwa ab’edda nti, ‘Buli kye weeyamanga eri Mukama okituukirizanga.’ 34 (G)Naye mbagamba nti: Temulayiranga n’akatono! Temulayiranga ggulu, kubanga ye ntebe y’obwakabaka bwa Katonda. 35 (H)Temulayiranga nsi, kubanga y’entebe y’ebigere bye. Temulayiranga Yerusaalemi, kubanga ky’ekibuga kya Kabaka omukulu. 36 Era tolayiranga mutwe gwo, kubanga toyinza na kufuula luviiri lwo olumu okuba olweru oba oluddugavu. 37 (I)Naye muddangamu buzzi nti, ‘Weewaawo.’ Oba nti, ‘Si weewaawo’. Kubanga bw’ogezaako okukakasa ebigambo byo n’okulayira kiraga nti waliwo ekitali kituufu.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.