Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 145

Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.

145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
    era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
(B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
    era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.

(C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
    n’obukulu bwe tebwogerekeka.
(D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
    era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
(E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
    era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
(F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
    nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
(G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
    era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.

(H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
    alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.

(I)Mukama mulungi eri buli muntu,
    era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
    n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
    era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
    n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
    n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.

Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
    n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
    era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
    era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
    ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.

17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
    era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
    abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
    era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
    naye abakola ebibi alibazikiriza.

21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
    era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
    emirembe n’emirembe.

Error: Book name not found: Sir for the version: Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebikolwa by’Abatume 12:25-13:3

Balunabba ne Sawulo Baddayo mu Antiyokiya

25 Balunabba ne Sawulo bwe baamala okutuukiriza ekyabaleeta mu Yerusaalemi, ne baddayo ne Yokaana ayitibwa Makko.

Balunabba ne Sawulo batumibwa

13 (A)Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. (B)Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.” (C)Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.

Zabbuli 67

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.

67 (A)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
    era otwakize amaaso go.
(B)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
    n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.

Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.
(C)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
    Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
    n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
    abantu bonna bakutenderezenga.

(D)Ensi erireeta amakungula gaayo;
    era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
(E)Katonda anaatuwanga omukisa;
    n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga.

Zabbuli 96

96 (A)Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;
    muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.
(B)Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,
    mulangirire obulokozi bwe buli lukya.
Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,
    eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.

(C)Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;
    asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.
(D)Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;
    naye Mukama ye yakola eggulu.
(E)Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;
    amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.

(F)Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;
    mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.
(G)Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;
    muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.
(H)Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.
    Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.
10 (I)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
    Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
    Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.

11 (J)Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;
    ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.
12     (K)Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;
n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.
13     (L)Kubanga Mukama ajja;
    ajja okusalira ensi omusango.
Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,
    n’abantu bonna abalamule mu mazima.

2 Timoseewo 4:1-11

(A)Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, anaatera okusalira abalamu n’abafu omusango, era n’olw’okujja kwe, n’olw’obwakabaka bwe, (B)buuliranga ekigambo kya Katonda, ng’oli mwetegefu mu kiseera ekituufu n’ekitali kituufu, ng’olaga ebikwekeddwa, ng’onenya, ng’ozaamu amaanyi, wakati mu kugumiikiriza, n’okubonaabona okungi, n’okuyigiriza. (C)Kubanga ekiseera kijja lwe baligaana okuwulira enjigiriza entuufu, era olw’okugoberera okwegomba kwabwe balyekuŋŋaanyiza abayigiriza, abalibayigiriza bye baagala, okuwulira. Baligaana okuwuliriza eby’amazima, ne bagoberera enfumo obufumo. (D)Naye ggwe weefugenga mu bintu byonna, ogumirenga ebizibu, ng’okola omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, ng’otuukiririza ddala obuweereza bwo.

(E)Nze kaakano mpebwayo, era ekiseera kyange eky’okuva ku nsi kituuse. (F)Nnwanye okulwana okulungi, mmalirizza olugendo lwange, nkuumye okukkiriza kwange. (G)Kye nsigazza kwe kufuna engule ey’obutuukirivu enterekeddwa, Mukama omulamuzi omutuukirivu gy’alimpeera ku lunaku luli. Taligiwa nze nzekka, naye aligiwa n’abo bonna abeegomba okujja kwe.

Fuba okujja amangu gye ndi. 10 (H)Kubanga Dema yandekawo ng’ayagala omulembe gwa kaakano, n’agenda e Sessaloniika. Kulesuke yagenda Ggalatiya ne Tito n’agenda e Dalumatiya. 11 (I)Lukka yekka y’ali nange. Ggyayo Makko omuleete, kubanga annyamba nnyo mu buweereza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.