Book of Common Prayer
Zabbuli ya Dawudi.
37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
2 (B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
bafiire ddala ng’essubi ekkalu.
3 (C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
4 (D)Sanyukiranga mu Mukama,
anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.
5 (E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
6 (F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.
7 (G)Siriikirira awali Mukama,
ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.
8 (H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
9 (I)Kubanga ababi balisalibwako,
naye abeesiga Mukama baligabana ensi.
10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.
12 (L)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
ne babalumira obujiji.
13 (M)Naye Mukama asekerera ababi,
kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.
14 (N)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (O)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.
16 (P)Ebitono omutuukirivu by’alina
bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (Q)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.
18 (R)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.
20 (S)Naye ababi balizikirira;
abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.
21 (T)Ababi beewola, ne batasasula;
naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (U)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
naye abo b’akolimira balizikirizibwa.
23 (V)Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
aluŋŋamya entambula ye.
24 (W)Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.
25 (X)Nnali muto kati nkaddiye,
naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 (Y)Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.
27 (Z)Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 (AA)Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 (AB)Abatuukirivu baligabana ensi
ne babeeranga omwo emirembe gyonna.
30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 (AC)Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
era ebigere bye tebiseerera.
32 (AD)Omubi ateega omutuukirivu
ng’anoonya okumutta,
33 (AE)naye Mukama taliganya babi kuwangula,
wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.
34 (AF)Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
ababi bwe balisalirwako olikitegeera.
35 (AG)Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 (AH)naye teyalwawo n’abula,
ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.
Amateeka Ekkumi
20 Awo Mukama n’ayogera ebigambo bino, n’agamba nti:
2 (A)“Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri, mu nsi gye mwafuulibwa abaddu.
3 (B)Tobeeranga na bakatonda balala wabula Nze nzekka.
4 (C)Teweekoleranga kintu kyonna ekyole ekifaanana n’ekintu kyonna ekiri waggulu mu ggulu, oba wansi ku nsi, oba ekiri mu mazzi agali wansi w’ensi. 5 (D)Tobivuunamiranga so tobisinzanga. Kubanga, nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya; mbonereza abaana olw’ebibi bya bakitaabwe n’ebya bajjajjaabwe okutuusa ku mulembe ogwokusatu n’ogwokuna ogw’abo abankyawa. 6 (E)Naye abo enkumi n’enkumi abanjagala era abakwata amateeka gange, mbalaga okwagala kwange okutaggwaawo.
7 (F)Tokozesanga linnya lya Mukama Katonda wo ng’olayira ebitaliimu nsa; kubanga Mukama talirema kumusalira musango ne gumusinga omuntu oyo alayirira obwereere erinnya lye.
8 (G)Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga. 9 (H)Kolanga emirimu gyo, ofaabiine mu nnaku omukaaga, 10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo. 11 (I)Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama Katonda mwe yakolera eggulu n’ensi, n’ennyanja, ne byonna ebibirimu, n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu. Mukama kyeyava awa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti n’alutukuza.
12 (J)Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa, olyoke owangaale mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa.
13 (K)Tottanga.
14 (L)Toyendanga.
15 (M)Tobbanga.
16 (N)Towaayirizanga muntu munno.
17 (O)Teweegombanga nnyumba ya muliraanwa wo. Teweegombanga mukazi wa muliraanwa wo, newaakubadde omuweereza we omusajja, newaakubadde omuweereza we omukazi, wadde ente ye, oba endogoyi ye, oba ekintu kyonna ekya muntu munno.”
18 (P)Awo abantu bwe baalaba okumyansa kw’eraddu, ne bawulira n’okubwatuka kw’eggulu awamu n’eddoboozi ly’akagombe, ne balaba n’olusozi nga lunyooka ne bakankana nga batidde nnyo. Ne bayimirira walako, 19 (Q)ne bagamba Musa nti, “Ggwe yogera naffe, tujja kubiwuliriza. Naye Katonda aleme kwogera naffe tuleme okufa.”
20 (R)Musa n’agamba abantu nti, “Temutya, kubanga Katonda azze kubagezesa, mumutyenga bulijjo, mulyoke muleme okwonoona.”
Ebiragiro ku Byoto
21 (S)Abantu ne basigala nga bayimiridde walako, naye Musa n’asembera mu kizikiza ekikwafu Katonda mwe yali.
Okufuba kwa Pawulo ku lw’Ekkanisa
24 (A)Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa. 25 (B)Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu. 26 (C)Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. 27 (D)Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.
28 (E)Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo. 29 (F)Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.
2 (G)Njagala mumanye nga bwe nfuba ennyo okubasabira mmwe n’ab’omu Lawodikiya, era n’abo abatandabangako mu mubiri. 2 (H)Ekyo nkikola mbazzeemu amaanyi era bagattibwe wamu mu kwagalana, ne mu kutegeerera ddala obugagga bwonna obuli mu kumanya ekyama kya Katonda, ye Kristo. 3 (I)Mu Kristo mwe mukwekeddwa eby’obugagga byonna eby’amagezi n’okumanya. 4 (J)Ebyo mbibategeeza waleme kubaawo n’omu ababuzaabuza. 5 (K)Kubanga wadde siri wamu nammwe mu mubiri, naye mu mwoyo ndi wamu nammwe, era nsanyuka okumanya nti mutambula nga bwe muteekwa okutambula mu Kristo era nti n’okukkiriza kwammwe mu Kristo kunywevu.
Obulamu obujjuvu mu Kristo
6 (L)Nga bwe mwaweebwa Kristo Yesu Mukama waffe, mutambulirenga mu ye, 7 (M)nga musimbibwa era nga mukuzibwa mu ye, era nga munywezebwa mu kukkiriza nga bwe mwayigirizibwa, nga mujjudde okwebazanga.
Okukemebwa kwa Yesu
4 Awo Yesu n’atwalibwa Mwoyo Mutukuvu mu ddungu okukemebwa Setaani. 2 (A)N’amala ennaku amakumi ana ng’asiiba, nga talya, emisana n’ekiro, oluvannyuma enjala n’emuluma. 3 (B)Setaani n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, lagira amayinja gano gafuuke emmere.”
4 (C)Naye Yesu n’amuddamu nti, “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu tabeera mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.’ ”
5 (D)Awo Setaani n’amutwala mu kibuga ekitukuvu n’amussa ku kitikkiro kya Yeekaalu. 6 (E)N’amugamba nti,
“Obanga oli Mwana wa Katonda weesuule wansi
kubanga kyawandiikibwa nti, ‘Katonda aliweereza bamalayika be bakuwanirire mu mikono gyabwe
oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.’ ”
7 (F)Yesu n’addamu Setaani nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”
8 Ate Setaani n’amutwala ku lusozi oluwanvu n’amulengeza ensi zonna n’obwakabaka bwamu n’ekitiibwa kyabwo kyonna, 9 n’amugamba nti, “Bino byonna nnaabikuwa bw’onoovuunama n’onsinza.”
10 (G)Yesu n’addamu nti, “Vvaawo, genda Setaani. Kyawandiikibwa nti, ‘Osinzanga Mukama Katonda wo yekka, era gw’oweerezanga.’ ”
11 (H)Setaani n’amuviira n’agenda. Bamalayika ne bajja ne bamuweereza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.