Book of Common Prayer
א Alefu
119 (A)Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu;
abatambulira mu mateeka ga Mukama.
2 (B)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
3 (C)Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
4 Ggwe wateekawo ebiragiro byo;
n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
5 Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo;
nga nkuuma bye walagira.
6 Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga
ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
7 Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu,
nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
8 Nnaakwatanga amateeka go;
Ayi Mukama, tonsuulira ddala.
ב Bessi
9 (D)Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu?
Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
10 (E)Nkunoonya n’omutima gwange gwonna;
tonzikiriza kuva ku mateeka go.
11 (F)Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange;
ndyoke nneme okwonoona.
12 (G)Ogulumizibwe, Ayi Mukama;
onjigirize amateeka go.
13 (H)Njatula n’akamwa kange
amateeka go gonna ge walagira.
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo,
ng’asanyukira eby’obugagga.
15 (I)Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo,
ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
16 (J)Nnaasanyukiranga amateeka go,
era siigeerabirenga.
ג Gimero
17 (K)Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu,
ngobererenga ekigambo kyo.
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba
eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
19 (L)Nze ndi muyise ku nsi;
tonkisa bye walagira.
20 (M)Bulijjo emmeeme yange
eyaayaanira amateeka go.
21 (N)Onenya ab’amalala, abaakolimirwa,
abaleka amateeka go.
22 (O)Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe;
kubanga bye walagira mbigondera.
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe;
naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
24 Amateeka go lye ssanyu lyange,
era ge gannuŋŋamya.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
12 (A)Tuyambe, Ayi Mukama, kubanga tewakyali n’omu amanyi Katonda;
abantu abeesigwa bonna baweddewo.
2 (B)Buli muntu alimba munne;
akamwa kaabwe akawaana koogera bya bulimba.
3 (C)Mukama, osirise akamwa k’abo bonna abeewaanawaana,
na buli lulimi olwenyumiriza;
4 nga boogera nti, “Tujja kuwangula n’olulimi lwaffe, era tufune byonna bye twetaaga n’akamwa kaffe,
kubanga ani alitukuba ku mukono.”
5 (D)Mukama ayogera nti, “Olw’okujoogebwa kw’abanafu,
n’olw’okusinda kw’abali mu bwetaavu,
nnaasituka kaakano
ne nnwanirira abo abalumbibwa.”
6 (E)Ebigambo bya Mukama bya bwesigwa era bya mazima.
Bigeraageranyizibwa n’effeeza
erongoosebbwa obulungi emirundi musanvu mu kyoto eky’ebbumba.
7 (F)Ayi Mukama, tukwesiga ng’onootukuumanga,
n’otuwonya abantu abali ng’abo emirembe gyonna.
8 (G)Ababi beeyisaayisa
nga bagulumiza ebitaliimu nsa.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
13 (H)Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna?
Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
2 (I)Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi,
n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi?
Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
3 (J)Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange;
onzizeemu amaanyi nneme okufa.
4 (K)Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;”
abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.
5 (L)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
6 (M)Nnaayimbiranga Mukama,
kubanga ankoledde ebirungi.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
14 (N)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Aboogera bwe batyo boonoonefu,
bakola ebitasaana tekuli n’omu ku bo akola kirungi.
2 (O)Mukama atunuulira abantu bonna mu nsi
ng’asinziira mu ggulu,
okulaba obanga mulimu mu bo ategeera,
era abanoonya Katonda.
3 (P)Naye bonna bakyamye
boonoonese;
teri akola kirungi,
era teri n’omu.
4 (Q)Abo bonna abakola ebibi tebaliyiga?
Kubanga basaanyaawo abantu bange ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Mukama.
5 Balitya nnyo!
Kubanga Katonda abeera wamu n’abatuukirivu.
6 (R)Mulemesa entegeka z’omwavu,
songa Mukama kye kiddukiro kye.
7 (S)Singa obulokozi bwa Isirayiri butuuse mu kiseera kino nga buva mu Sayuuni!
Mukama bw’alirokola abantu be,
Yakobo alijaguza ne Isirayiri alisanyuka.
Amazzi g’e Mala n’aga Erimu
22 Awo Musa n’akulembera Isirayiri, n’abaggya ku Nnyanja Emyufu, ne bayingirira eddungu ly’e Ssuuli. Ne batambulira ennaku ssatu mu ddungu nga tebalabye ku mazzi. 23 (A)Bwe baatuuka e Mala, ne batasobola kunywa ku mazzi gaawo, kubanga gaali gakaawa: era eyo y’ensonga eyatuumisa ekifo ekyo Mala. 24 (B)Abantu ne beemulugunyiza Musa, ne bamubuuza nti, “Tunywe ki?”
25 (C)Musa ne yeegayirira Mukama; Mukama n’amulaga ekitundu ky’omuti. Bwe yakisuula mu mazzi, amazzi ne gaba malungi okunywa.
Mu kifo kino Mukama we yabaweera ekiragiro kino n’etteeka, era n’abagezesa 26 (D)ng’agamba nti, “Singa muwuliriza eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe n’obwegendereza, ne mukola ebyo by’alaba nga bituufu, ne mussaayo omwoyo ku biragiro bye, era ne mugondera amateeka ge, sigenda kubaleetako ndwadde n’emu, ng’ezo ze naleetera Abamisiri, kubanga nze Mukama, nze mbawonya endwadde zammwe.”
27 (E)Awo ne batuuka mu Erimu, awaali ensulo ekkumi n’ebbiri, n’enkindu ensanvu; ne bakuba awo eweema zaabwe okumpi n’amazzi.
Maanu n’Obukwale
16 (F)Awo abaana ba Isirayiri, nga kibiina kinene, ne basitula okuva mu Erimu; ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, nga baakamala emyezi ebiri n’ennaku kkumi na ttaano kasookedde bava mu nsi y’e Misiri. 2 (G)Nga bali mu ddungu eryo, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne kyemulugunyiza Musa ne Alooni. 3 (H)Abaana ba Isirayiri ne babagamba nti, “Singa twasigala mu nsi y’e Misiri, Mukama n’atuttira eyo n’omukono gwe! Kubanga eyo twalyanga sefuliya z’ennyama, n’emmere nnyingi nga bwe twayagalanga, ne tukkuta; naye kaakano mutuleese mu ddungu lino, ekibiina kino kyonna kife enjala.”
4 (I)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Nzija kubatonnyeseza emmere ng’eva mu ggulu. Abantu banaakuŋŋaanyanga buli lunaku ekitundu eky’olunaku olwo; ndyoke mbagezese ndabe obanga banaakwatanga amateeka gange, oba tebaagakwatenga. 5 (J)Ku lunaku olw’omukaaga bwe banaabanga bakuŋŋaanya emmere ey’olunaku olwo, bakuŋŋaanyanga eyenkanaankana n’ey’ennaku bbiri.”
6 (K)Awo Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isirayiri bonna nti, “Obudde nga buwungeera, we munaategeerera nga Mukama ye yabaggya mu nsi y’e Misiri: 7 (L)ate enkya lwe munaalaba ekitiibwa kya Mukama, kubanga awulidde nga mumwemulugunyiza. Kubanga naffe ffe b’ani mmwe okutwemulugunyiza?” 8 (M)Musa n’ayongera okubagamba nti, “Mujja kwongera okutegeera Mukama, olweggulo nga buwungeera bw’anaabawa ennyama ne mulya, ate enkya n’abawa emmere ebamala: kubanga Mukama awulidde nga mumwemulugunyiza. Naffe ffe b’ani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”
9 Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Tegeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, ‘Musembere awali Mukama, kubanga awulidde okwemulungunya kwammwe!’ ”
10 (N)Awo olwatuuka, Alooni bwe yali ng’akyategeeza ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batunula mu ddungu; era, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu kire.
Ejjinja Eddamu n’Eggwanga Ettukuvu
2 (A)Kale mukomye buli ngeri yonna ey’ettima, n’obulimba bwonna, n’obukuusa, n’obuggya, n’okwogera ekibi kwonna. 2 (B)Ng’abaana abaakazaalibwa bwe beegomba amata, nammwe mwegombenga amata ag’omwoyo, muganywenga mukule era mulokolebwe, 3 (C)kubanga mwalega ku bulungi bwa Mukama.
4 (D)Mujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo. 5 (E)Mujje gy’ali nga muli ng’amayinja amalamu, muzimbibwemu ennyumba ey’omwoyo. Mulyoke mube bakabona be abaweereza ssaddaaka ey’omwoyo, esiimibwa Katonda mu Yesu Kristo Mukama waffe. 6 (F)Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,
“Laba, nteeka mu Sayuuni,
ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde,
oyo eyeesiga Kristo,
taliswazibwa.”
7 (G)Ejjinja eryo lya muwendo mungi nnyo eri mmwe abakkiriza. Naye eri abatakkiriza,
“Lye jjinja abazimbi lye baagaana,
lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”
8 (H)Era
“Lye jjinja abantu lye beekoonako,
lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.”
Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.
9 (I)Naye mwe muli kika kironde, bakabona bw’obwakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu ba Katonda bennyini. Mwalondebwa mulyoke mutende ebirungi bya Katonda eyabaggya mu kizikiza n’abayingiza mu butangaavu bwe obutenkanika. 10 (J)Edda temwali ggwanga, naye kaakano muli ggwanga lya Katonda, era mwali temusaasirwa, naye kaakano Katonda abasaasidde.
Yesu gwe Muzabbibu gwennyini
15 (A)“Nze muzabbibu ogw’amazima, ate Kitange ye mulimi. 2 Buli ttabi eriri ku Nze eritabala bibala aliggyako. Naye buli ttabi eribala ebibala, alirongoosa lyeyongerenga okubala. 3 (B)Mmwe kaakano muli balongoofu olw’ekigambo kye mbagambye; 4 (C)mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
5 (D)“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 (E)Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 7 (F)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga. 8 (G)Bwe mubala ebibala ebingi, muba bayigirizwa bange, ne Kitange, agulumizibwa.
9 (H)“Mbaagadde nga Kitange bw’anjagala. Noolwekyo munywererenga mu kwagala kwange. 10 (I)Bwe munaagonderanga ebiragiro byange olwo munaabanga munyweredde mu kwagala kwange, nga nange bwe ŋŋondera ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. 11 (J)Mbategeezezza ebyo mulyoke mujjule essanyu lyange. Era essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.