Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 119:145-176

ק Koofu

145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule!
    Nnaagonderanga amateeka go.
146 Nkukaabirira, ondokole,
    nkwate ebiragiro byo.
147 (A)Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe;
    essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
148 (B)Seebaka ekiro kyonna
    nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama,
    ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde,
    kyokka bali wala n’amateeka go.
151 (C)Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange,
    era n’amateeka go gonna ga mazima.
152 (D)Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo,
    nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.

ר Leesi

153 (E)Tunuulira okubonaabona kwange omponye,
    kubanga seerabira mateeka go.
154 (F)Ompolereze, onnunule,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
155 (G)Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala,
    kubanga tebanoonya mateeka go.
156 (H)Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama,
    onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
157 (I)Abalabe abanjigganya bangi,
    naye nze siivenga ku biragiro byo.
158 (J)Nnakuwalira abo abatakwesiga,
    kubanga tebakwata biragiro byo.
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo!
    Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere;
    n’amateeka go ga lubeerera.

ש Sini ne Sikini

161 (K)Abafuzi banjigganyiza bwereere,
    naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
162 (L)Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana
    ng’oyo afunye obugagga obungi.
163 Nkyawa era ntamwa obulimba,
    naye amateeka go ngagala.
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu
    olw’amateeka go amatuukirivu.
165 (M)Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi;
    tewali kisobola kubeesittaza.
166 (N)Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era mu biragiro byo mwe ntambulira.
167 Ŋŋondera ebiragiro byo,
    mbyagala nnyo nnyini.
168 (O)Buli kye nkola okimanyi,
    era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.

ת Taawu

169 (P)Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama,
    ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
170 (Q)Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli,
    onnunule nga bwe wasuubiza.
171 (R)Akamwa kange kanaakutenderezanga,
    kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo,
    kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
173 (S)Omukono gwo gumbeerenga,
    kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
174 (T)Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama,
    era amateeka go lye ssanyu lyange.
175 (U)Ompe obulamu nkutenderezenga,
    era amateeka go gampanirirenga.
176 (V)Ndi ng’endiga ebuze.
    Onoonye omuddu wo,
    kubanga seerabidde mateeka go.

Zabbuli 128-130

Oluyimba nga balinnya amadaala.

128 (A)Balina omukisa abatya Katonda;
    era abatambulira mu makubo ge.
(B)Olirya ebibala ebiriva mu kutegana kwo;
    oliweebwa emikisa era olifuna ebirungi.
(C)Mu nnyumba yo,
    mukyala wo aliba ng’omuzabbibu ogubala ennyo;
abaana bo aboobulenzi baliba ng’amatabi g’emizeeyituuni
    nga beetoolodde emmeeza yo.
Bw’atyo bw’aweebwa emikisa
    omuntu atya Mukama.

(D)Mukama akuwenga omukisa ng’asinziira mu Sayuuni,
    era olabe Yerusaalemi nga kijjudde ebirungi
ennaku zonna ez’obulamu bwo.
    (E)Owangaale olabe abaana b’abaana bo!

Emirembe gibeere mu Isirayiri.

Oluyimba nga balinnya amadaala.

129 (F)Isirayiri ayogere nti,
    “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
(G)Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange;
    naye tebampangudde.
Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye
    era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
(H)kyokka Mukama mutuukirivu;
    amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.

(I)Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe
    era bazzibweyo emabega nga baswadde.
(J)Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba[a],
    oguwotoka nga tegunnakula.
Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
(K)Wadde abayitawo baleme kwogera nti,
    “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe.
    Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”

Oluyimba nga balinnya amadaala.

130 (L)Ayi Mukama, nkukaabira nga nsobeddwa nnyo.
    (M)Ayi Mukama, wulira eddoboozi lyange;
otege amatu go
    eri eddoboozi ly’okwegayirira kwange.

(N)Ayi Mukama, singa otubalira obutali butuukirivu bwaffe,
    ani eyandiyimiridde mu maaso go?
(O)Naye osonyiwa;
    noolwekyo ossibwamu ekitiibwa.

(P)Nnindirira Mukama, emmeeme yange erindirira
    era essuubi lyange liri mu kigambo kye.
(Q)Emmeeme yange erindirira Mukama;
    mmulindirira okusinga ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya;
    okusingira ddala ng’abakuumi bwe balindirira obudde okukya.

(R)Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama,
    kubanga Mukama y’alina okwagala okutaggwaawo;
    era y’alina okununula okutuukiridde.
(S)Mukama y’alinunula Isirayiri n’amuggya
    mu byonoono bye byonna.

Okuva 7:8-24

Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, (A)“Falaawo bw’anaabagamba nti, ‘Mukoleeyo ekyamagero,’ nga ggwe ogamba Alooni nti, ‘Ddira omuggo gwo ogusuule wansi awali Falaawo,’ era gunaafuuka omusota.”

10 Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’asuula omuggo gwe wansi awali Falaawo n’abaweereza be, ne gufuuka omusota. 11 (B)Falaawo naye n’atumya basajja be abagezigezi, n’abalogo; abakujjukujju abo Abamisiri ne bakola ekintu kye kimu mu magezi gaabwe ag’ekyama. 12 Kubanga nabo baasuula wansi emiggo gyabwe, ne gifuuka emisota; naye omuggo gwa Alooni ne gumira emiggo gyabwe. 13 (C)Naye era omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, nga Mukama bwe yali agambye.

Amazzi Gafuuka Omusaayi

14 (D)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Omutima gwa Falaawo gukakanyadde, era agaanye okuleka abantu okugenda. 15 Mu makya genda eri Falaawo ng’afuluma okulaga ku mazzi, omulindirire ku lubalama lw’omugga Kiyira[a]. Era twala n’omuggo ogwafuuka omusota. 16 (E)Olyoke omugambe nti, ‘Mukama Katonda wa Abaebbulaniya yantuma gy’oli ng’agamba nti, Leka abantu bange bajje mu ddungu bansinze; naye, laba, n’okutuusa leero okyagaanyi okuŋŋondera.’ 17 (F)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Ku kino kw’olitegeerera nga nze Mukama: laba ndikuba ku mazzi agali mu mugga, n’omuggo oguli mu mukono gwange, era galifuuka musaayi, 18 (G)n’ebyennyanja ebiri mu mugga birifa, n’omugga guliwunya; era n’Abamisiri nga tebakyayagala kunywa ku mazzi gaagwo.’ ”

19 (H)Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Twala omuggo gwo ogwolekeze amazzi gonna mu Misiri: ku migga gyabwe, n’emikutu gyabwe, n’obuyanja bwabwe, n’ebidiba byabwe, byonna bifuuke musaayi. Era wagenda kubeerawo omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri: mu ntiba ez’emiti ne mu matogero ag’amayinja.’ ”

20 (I)Awo Musa ne Alooni ne bakola nga Mukama bwe yabalagira. Alooni n’addira omuggo gwe n’akuba ku mazzi ag’omu mugga, nga Falaawo n’abaweereza be balaba; amazzi gonna ag’omu mugga ne gafuuka omusaayi. 21 Era n’ebyennyanja byonna mu mugga Kiyira ne bifa. Omugga ne guwunya, Abamisiri nga tebakyasobola kunywa mazzi ga mu mugga Kiyira; omusaayi ne gubuna wonna mu nsi y’e Misiri.

22 (J)Abalogo ab’omu Misiri nabo ne bakola bwe batyo mu magezi gaabwe ag’ekyama. Omutima gwa Falaawo ne gweyongera okukakanyala, ebya Musa ne Alooni n’atabiwuliriza era nga Mukama bwe yali agambye; 23 n’akyuka ne yeddirayo mu lubiri lwe, nga byonna ebibaddewo tabissizzaako mwoyo. 24 Abamisiri bonna ne basimaasima okumpi n’omugga nga banoonya amazzi ag’okunywa, kubanga amazzi g’omu mugga nga tegakyanyweka.

2 Abakkolinso 2:14-3:6

Obuwanguzi mu Kristo

14 (A)Katonda yeebazibwe atuwanguzisa bulijjo mu Kristo Yesu, n’akawoowo ak’okumanya, ke tubunyisa wonna. 15 (B)Tuli kawoowo eri Katonda olwa Kristo mu abo abalokolebwa ne mu abo abatannalokolebwa. 16 (C)Eri abatannalokolebwa, akawoowo kaffe ka kufa akatuusa mu kufa, naye eri abalokolebwa, ke kawoowo akongera obulamu ku bulamu. Kale ebyo ani abisobola? 17 (D)Tetuli ng’abangi abakozesa ekigambo kya Katonda olw’okwenoonyeza ebyabwe, naye ffe twogera nga tetuliimu bukuusa. Naye twogera okuva eri Katonda era mu maaso ga Katonda, kubanga twogerera mu Kristo nga tetwekomoma.

(E)Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala? (F)Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna, ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.

(G)Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo. (H)Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda, (I)oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

Makko 10:1-16

Enteekateeka ya Katonda ku Bufumbo

10 (A)Awo n’agolokoka n’ava eyo n’alaga mu kitundu kya Buyudaaya okusukka emitala wa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye n’abayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo.

(B)Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we?”

Yesu n’addamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?” (C)Ne bamuddamu nti, “Musa yawa omusajja olukusa okuwandiikira mukyala we ebbaluwa emugoba.”

(D)Yesu n’abagamba nti, “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, kyeyava abawandiikira etteeka lino. (E)Naye okuva ku lubereberye yabatonda omusajja n’omukazi. Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, n’agenda n’agattibwa ne mukazi we. (F)Olwo nga tebakyali babiri, wabula nga bafuuse omubiri gumu. Noolwekyo Katonda be yagatta awamu, omuntu tabaawukanyanga.”

10 Bwe baali mu nnyumba, abayigirizwa be, ne bongera okumubuuza ku nsonga eyo. 11 (G)Yesu n’abagamba nti, “Omusajja bw’agobanga mukazi we n’awasa omukazi omulala, aba ayenze. 12 (H)N’omukazi bw’ayawukananga ne bba n’afumbirwa omusajja omulala naye aba ayenze.”

Yesu Awa Abaana Omukisa

13 Awo Yesu ne bamuleetera abaana abato abakwateko, naye abayigirizwa be ne bajunga abaabaleeta. 14 (I)Kyokka Yesu bwe yabiraba n’anyiigira nnyo abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Abaana mubaleke bajje gye ndi, temubagaana kubanga abali nga bano, be bannannyini bwakabaka bwa Katonda. 15 (J)Ddala ddala mbagamba nti omuntu yenna atakkiriza bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, tagenda kubuyingira n’akatono.” 16 (K)Awo n’asitula abaana n’abassaako emikono gye, n’abawa omukisa.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.