Book of Common Prayer
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5 (E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 (F)Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 (G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
8 (H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 (I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.
16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
19 (A)Eggulu litegeeza ekitiibwa kya Katonda,
ebbanga ne litegeeza emirimu gy’emikono gye.
2 (B)Buli lunaku litegeeza ekitiibwa kye,
era liraga amagezi ge buli kiro.
3 Tewali bigambo oba olulimi olwogerwa,
era n’eddoboozi lyabyo teriwulikika.
4 (C)Naye obubaka bwabyo
bubunye mu nsi yonna.
Mu ggulu omwo Katonda mwe yasimbira enjuba eweema.
5 Evaayo ng’awasa omugole bw’ava mu nju ye,
era ng’omuddusi asinga bonna bw’ajjula essanyu ng’agenda mu mpaka.
6 (D)Evaayo ku ludda olumu olw’eggulu,
ne yeetooloola okutuuka ku nkomerero yaalyo,
era tewali kyekweka bbugumu lyayo.
7 (E)Ekiragiro kya Mukama kirimu byonna,
era kizzaamu amaanyi mu mwoyo.
Etteeka lya Mukama lyesigika,
ligeziwaza abatalina magezi.
8 (F)Okuyigiriza kwa Mukama kutuufu,
kusanyusa omutima gw’oyo akugondera.
Ebiragiro bya Mukama bimulisiza amaaso,
bye galaba.
9 (G)Okutya Mukama kirungi,
era kya mirembe gyonna.
Ebiragiro bya Mukama bya bwenkanya,
era bya butuukirivu ddala.
10 (H)Ebyo byonna bisaana okuyaayaanirwa okusinga zaabu,
okusingira ddala zaabu ennungi ennyo.
Biwoomerera okusinga omubisi gw’enjuki,
okusukkirira omubisi gw’enjuki ogutonnya nga guva mu bisenge byagwo.
11 Ebyo bye birabula omuddu wo,
era mu kubigondera muvaamu empeera ennene.
12 (I)Ani asobola okulaba ebyonoono bye?
Onsonyiwe, Ayi Mukama, ebibi ebinkisiddwa.
13 Era omuddu wo omuwonye okukola ebibi ebigenderere,
bireme kunfuga.
Bwe ntyo mbeere ng’ataliiko kyakunenyezebwa
nneme okuzza omusango omunene ogw’ekibi.
14 (J)Nsaba ebigambo by’omu kamwa kange, n’okulowooza okw’omu mutima gwange,
bisiimibwe mu maaso go,
Ayi Mukama, Olwazi lwange, era Omununuzi wange.
Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.
46 (A)Katonda kye kiddukiro kyaffe, era ge maanyi gaffe;
omubeezi ddala atabulawo mu kulaba ennaku.
2 (B)Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’eneeyuuguumanga,
ensozi ne bwe zinaasiguulukukanga ne zigwa mu buziba bw’ennyanja;
3 (C)amazzi g’ennyanja ne bwe ganaayiranga ne gabimba ejjovu
ensozi ne zikankana olw’okwetabula kwago.
4 (D)Waliwo omugga, emyala gyagwo gisanyusa ekibuga kya Katonda,
kye kifo ekitukuvu ekya Katonda Ali Waggulu Ennyo.
5 (E)Tekirigwa kubanga Katonda mw’abeera.
Katonda anaakirwaniriranga ng’obudde bunaatera okukya.
6 (F)Amawanga geetabula, obwakabaka bugwa;
ayimusa eddoboozi lye ensi n’esaanuuka.
7 (G)Mukama ow’Eggye ali naffe,
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8 (H)Mujje, mulabe Mukama by’akola,
mulabe nga bw’afaafaaganya ensi.
9 (I)Y’akomya entalo mu nsi yonna;
akutula emitego gy’obusaale, effumu alimenyaamenya;
amagaali n’engabo abyokya omuliro.
10 (J)Musiriikirire mutegeere nga nze Katonda.
Nnaagulumizibwanga mu mawanga.
Nnaagulumizibwanga mu nsi.
11 Katonda ow’Eggye ali naffe;
Katonda wa Yakobo kye kigo kyaffe.
8 Isirayiri bwe yalaba batabani ba Yusufu n’abuuza nti, “Bano be baani?”
9 (A)Yusufu n’addamu kitaawe nti, “Be batabani bange, Katonda b’ampeeredde wano.”
N’amugamba nti, “Nkusaba obansembereze mbasabire omukisa.”
10 (B)Mu kiseera kino amaaso ga Isirayiri gaali gayimbadde olw’obukadde, nga takyasobola kulaba. Awo Yusufu n’abamusembereza, Yakobo n’abagwa mu kifuba n’abanywegera.
11 (C)Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Saasuubira kulaba maaso go; era laba Katonda ansobozesezza okulaba n’abaana bo.”
12 Awo Yusufu n’abaggya ku maviivi ge n’avuunama wansi. 13 (D)Yusufu n’abatwala bombi, Efulayimu ng’ali mu mukono gwe ogwa ddyo, okwolekera ogwa Isirayiri ogwa kkono, ne Manase ng’ali mu mukono gwe ogwa kkono okwolekera ogwa Isirayiri ogwa ddyo, n’abamusembereza. 14 (E)Isirayiri n’agolola omukono gwe ogwa ddyo n’aguteeka ku mutwe gwa Efulayimu eyali omuto, n’omukono gwe ogwa kkono n’aguteeka ku mutwe gwa Manase, n’ayisiŋŋanya emikono gye, kubanga Manase ye yasooka okuzaalibwa.
15 (F)N’awa Yusufu omukisa, n’agamba nti,
“Katonda wa jjajjange
Ibulayimu ne kitange Isaaka gwe baatambulira mu maaso ge,
Katonda oyo ankulembedde obulamu bwange bwonna
okutuusa leero,
16 (G)Malayika oyo eyannunula okuva mu bizibu byonna,
owe omukisa abalenzi bano.
Erinnya lyange lyeyongerenga okutuumibwa mu bo
era n’erya Ibulayimu n’erya Isaaka.
Era bafuuke ekibiina ekinene
mu maaso g’ensi.”
17 (H)Yusufu bwe yalaba nga kitaawe atadde omukono gwe ogwa ddyo ku Efulayimu n’atakyagala, n’akwata omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu aguzze ku mutwe gwa Manase. 18 N’agamba kitaawe nti, “Kireme kuba kityo, kitange, kubanga ono ye mubereberye, teeka omukono ogwa ddyo ku mutwe gwe.”
19 (I)Naye kitaawe n’agaana n’agamba nti, “Mmanyi, mwana wange, mmanyi nti alifuuka eggwanga era aliba mukulu; kyokka muto we aliba mukulu okumusinga era alivaamu amawanga mangi.” 20 (J)Awo n’abasabira omukisa ku lunaku olwo ng’agamba nti,
“Abaana ba Isirayiri basabiragane omukisa nga bagamba nti,
‘Katonda akuyise nga Efulayimu ne Manase.’ ”
Bw’atyo n’ateeka Efulayimu mu maaso ga Manase.
21 (K)Ate Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Laba, nnaatera okufa, kyokka Katonda alibeera naawe era alikuzzaayo mu nsi ya bajjajjaabo. 22 (L)Wabula ggwe nkuwadde kinene okusinga baganda bo, nkuwadde ekitundu kimu ekikkirira olusozi, kye naggya ku Bamoli n’ekitala kyange n’omutego gwange.”
11 (A)Era obanga Omwoyo w’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bw’Omwoyo we abeera mu mmwe.
12 Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira. 13 (B)Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa eby’omubiri, muliba balamu, 14 (C)kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda. 15 (D)Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.” 16 (E)Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda. 17 (F)Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.
Ekitiibwa ekijja
18 (G)Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa n’ekitiibwa ekiritubikulirwa. 19 Ebitonde birindirira n’essuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa. 20 (H)Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira. 21 (I)Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu n’abaana ba Katonda ekitiibwa eky’okuba mu ddembe.
22 (J)Tumanyi ng’ebitonde byonna bisinda era ne birumwa ng’omukazi alumwa okuzaala bw’abeera. 23 (K)Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye eby’Omwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw’emibiri gyaffe. 24 (L)Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira ky’alabako? 25 Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.
27 (A)Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
28 Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”
29 (B)Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
30 (C)Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki? 31 (D)Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ”
32 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33 (E)Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”
34 (F)Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”
35 (G)Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta. 36 Naye nabagamba nti mundabye naye era ne mutanzikiriza. 37 (H)Buli muntu Kitange gw’ampa alijja gye ndi, era buli ajja gye ndi sirimugobera bweru. 38 (I)Kubanga ekyanzigya mu ggulu kwe kukola ekyo Katonda eyantuma ky’ayagala, so si Nze bye njagala ku bwange. 39 (J)Eyantuma ky’ayagala kye kino: Ku abo be yampa nneme kubulwako n’omu wabula bonna mbazuukize ku lunaku olw’enkomerero. 40 (K)Kubanga Kitange ky’ayagala kye kino nti buli alaba Omwana we n’amukkiriza afuna obulamu obutaggwaawo ku lunaku olw’enkomerero.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.