Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 83

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.

83 (A)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
    Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
(B)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
    abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
(C)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
    basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
(D)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
    n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

(E)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
    beegasse wamu bakulwanyise.
(F)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
    n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
(G)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
    n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
(H)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
    okuyamba bazzukulu ba Lutti.

(I)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
    era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (J)abaazikiririra mu Endoli
    ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (K)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
    n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (L)abaagamba nti, “Ka tutwale
    amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

13 (M)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
    obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (N)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
    n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (O)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
    obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (P)Baswaze nnyo,
    balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

17 (Q)Bajjule ensonyi n’okutya,
    bazikirire nga baswadde nnyo.
18 (R)Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,
    gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.

Zabbuli 42-43

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
    omponye eggwanga eritatya Katonda
    ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
(K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
    Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
    nga nnyigirizibwa omulabe?
(L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
    binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
    mu kifo mw’obeera.
(M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
    eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
    Ayi Katonda, Katonda wange.

(N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era Katonda wange.

Zabbuli 85-86

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

85 (A)Ensi yo ogikoledde ebyekisa Ayi Mukama;
    Yakobo omuddizza ebibye.
(B)Abantu bo obasonyiye ebyonoono byabwe,
    n’ebibi byabwe byonna n’obibikkako.
(C)Ekiruyi kyo kyonna okirese,
    n’oleka n’obusungu bwo obubuubuuka.

(D)Tukomyewo gy’oli, Ayi Katonda w’obulokozi bwaffe,
    oleke okutusunguwalira.
(E)Onootusunguwaliranga emirembe gyonna?
    Onootunyiigiranga emirembe n’emirembe?
(F)Tolituzaamu ndasi,
    abantu bo basanyukirenga mu ggwe?
Tulage okwagala kwo okutaggwaawo Ayi Katonda,
    era otuwe obulokozi bwo.

(G)Nnaawulirizanga Mukama Katonda by’agamba;
    asuubiza abantu be, be batukuvu be, okubawa emirembe;
    naye tebaddayo mu byonoono byabwe.
(H)Ddala ddala obulokozi bwe busemberera abo abamutya,
    ensi yaffe n’eryoka ejjula ekitiibwa kye.

10 (I)Okwagala n’obwesigwa bisisinkanye;
    obutuukirivu n’emirembe binywegeraganye.
11 (J)Obwesigwa bulose mu nsi,
    n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.
12 (K)Ddala ddala Katonda anaatuwanga ebirungi,
    n’ensi yaffe eneebalanga ebibala bingi.
13 Obutuukirivu bunaamukulemberanga,
    era bunaateekateekanga ekkubo mw’anaayitanga.

Okusaba kwa Dawudi.

86 (L)Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
    kubanga ndi mwavu atalina kintu.
(M)Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
    Katonda wange, ondokole
    nze omuddu wo akwesiga.
(N)Onsaasire, Ayi Mukama,
    kubanga olunaku lwonna nsiiba nkukoowoola.
(O)Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
    kubanga omwoyo gwange
    nguyimusa eyo gy’oli.

(P)Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
    n’abo bonna abakukoowoola obaagala nnyo.
Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
    owulirize eddoboozi erikaabirira ekisa kyo.
(Q)Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
    kubanga ononnyanukulanga.

(R)Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
    era teriiyo akola bikolwa ng’ebibyo.
(S)Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda
    ganajjanga mu maaso go ne gakusinza;
    era ne bagulumiza erinnya lyo ery’ekitiibwa.
10 (T)Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
    ggwe wekka ggwe Katonda.

11 (U)Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,
    ntambulirenga mu mazima go;
ompe omutima omunywevu ogutasagaasagana,
    ntyenga erinnya lyo.
12 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
    erinnya lyo nnaaligulumizanga emirembe gyonna.
13 Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;
    wawonya omwoyo gwange amagombe.

14 (V)Ayi Katonda, ab’amalala bannumba,
    ekibinja ky’abantu abataliimu kusaasira bannoonya okunzita,
    be bantu abatakufiirako ddala.
15 (W)Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
    olwawo okusunguwala, ojjudde okwagala n’obwesigwa.
16 (X)Onkyukire, onsaasire,
    ompe amaanyi go nze omuweereza wo;
    nze omwana w’omuweereza wo omukazi ondokole.
17 Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,
    abalabe bange bakalabe baswale;
    kubanga ggwe, Ayi Mukama, onnyambye era onzizizzaamu amaanyi.

Olubereberye 46:1-7

Yakobo Agenda e Misiri

46 (A)Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.

(B)Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?”

N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”

(C)Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene. (D)Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”

(E)Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala. (F)Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye. (G)Batabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye.

Olubereberye 46:28-34

Okutuula e Misiri

28 (A)Yakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni. 29 (B)Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.

30 Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”

31 (C)Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. 32 Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’ 33 (D)Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 34 (E)Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”

1 Abakkolinso 9:1-15

Ebigwanira omutume ne by’ateekwa okukola

(A)Ssiri wa ddembe? Ssiri mutume? Ssaalaba Yesu Mukama waffe? Si mmwe bibala by’omulimu gwange mu Mukama waffe? (B)Obanga ssiri mutume eri abalala, naye ndi mutume eri mmwe, kubanga mmwe kabonero k’obutume bwange mu Mukama waffe.

Ekyo ky’eky’okuwoza kyange eri abo abambulirizaako. (C)Sirina buyinza kulya na kunywa? (D)Singa nnewasiza omukazi, siyinza kutambula naye mu ŋŋendo zange ng’abatume abalala ne Keefa[a], ne baganda ba Mukama waffe bwe bakola? (E)Oba Balunabba nange, ffe ffekka ffe tusaana okwekolera?

(F)Muserikale ki ali mu magye nga yeesasula empeera? Muntu ki eyalima ennimiro y’emizabbibu naye n’aziyizibwa okulya ku bibala byayo? Oba ani alunda ekisibo n’atanywa ku mata gaamu? Ebyo mbyogera ku bwange ng’omuntu, etteeka nalyo si bwe ligamba? (G)Kubanga kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano,” Mulowooza Katonda afa ku bya nte zokka, 10 (H)oba kino akyogera ku lwaffe? Kubanga kino kyawandiikibwa ku lwaffe, oyo alima mu kusuubira alime, n’oyo awuula asuubire okufuna ku bibala. 11 (I)Obanga ffe twabasigamu eby’omwoyo, tekiriba kya kitalo bwe tulikungula ebyammwe eby’omubiri? 12 (J)Kale obanga abalala balina obuyinza ku mmwe, ffe tetusaanidde nnyo n’okusingawo? Kyokka ffe tetwabakaka kubituwa.

Naye tugumiikiriza byonna, tuleme okuziyiza Enjiri ya Kristo. 13 (K)Temumanyi ng’abo abakola mu Yeekaalu baliisibwa bya Yeekaalu, era nga n’abo abaweereza ku kyoto bagabana bya ku kyoto? 14 (L)Mu ngeri y’emu Mukama waffe yalonda abo ababuulira Enjiri baliisibwenga olw’Enjiri.

15 (M)Kyokka nze siriiko na kimu ku ebyo kye nkozesezzaako. Era ssawandiika bino ndyoke binkolerwe kubanga waakiri nze okufa okusinga okwenyumiriza kwange bwe kutaabeemu nsa.

Makko 6:30-46

Okukomawo kw’Abatume gye baagenda Okubuulira

30 (A)Awo abatume ne bakomawo awali Yesu ne bamunnyonnyola byonna bye baakola ne bye baayigiriza. 31 (B)N’abagamba nti, “Mujje tugende mu kifo eteri bantu tuwummuleko.” Kubanga baali babuliddwa n’akaseera ak’okuliiramu ku mmere olw’abantu abangi abajjanga gye bali; bano baabanga baakavaawo ate ng’abalala bajja.

32 (C)Bwe batyo ne balinnya mu lyato ne bagenda mu kifo ekiwolerevu eteri bantu.

Yesu Aliisa Abantu Enkumi Ettaano

33 Naye abantu bangi abaava mu bibuga bingi ne babalaba nga bagenda ne bategeera gye baali bagenda ne badduka okwetooloola ku lukalu ne babeesookayo. 34 (D)Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.

35 Awo obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ne bajja awali Yesu ne bamugamba nti, “Ekifo kino kya ddungu ate n’obudde buwungedde. 36 Abantu basiibule bagende beegulire emmere mu byalo ne mu bibuga ebiriraanye wano.”

37 (E)Naye Yesu n’abaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya.” Ne bamubuuza nti, “Tugende tubagulire emmere nga ya dinaali ebikumi bibiri, tugibawe balye?”

38 (F)Yesu n’ababuuza nti, “Mulina emigaati emeka? Mugende mulabe.” Bwe baamala okwetegereza ne bamugamba nti, “Waliwo emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri.”

39 Awo Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi ku muddo mu bibinja. 40 Awo ne batuula mu bibinja, eby’abantu ataano ataano, awalala kikumi kikumi. 41 (G)Yesu n’atoola emigaati etaano n’ebyennyanja ebibiri n’ayimusa amaaso ge eri eggulu ne yeebaza Katonda. N’amenyaamenya emigaati n’ebyennyanja ebibiri, n’abiwa abayigirizwa be ne bagabula abantu bonna ne babuna. 42 Bonna ne balya ne bakkuta. 43 Ne bakuŋŋaanya obukunkumuka bw’emigaati n’obw’ebyennyanja ebisero kkumi na bibiri. 44 Abasajja abaalya emigaati baali enkumi ttaano.

Yesu Atambulira ku Mazzi

45 (H)Amangwago Yesu n’alagira abayigirizwa be basaabale mu lyato bawunguke bagende emitala w’ennyanja e Besusayida abasange eyo, ng’amaze okusiibula ebibiina by’abantu. 46 (I)Bwe yamala okubasiibula n’alinnya ku lusozi okusaba.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.