Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
70 (A)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
2 (B)Abo abannoonya okunzita
batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
bagobebwe nga baswadde.
3 Abagamba nti, “Kasonso,”
badduke nga bajjudde ensonyi.
4 Naye bonna abakunoonya
basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Katonda agulumizibwenga!”
5 (C)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
Ayi Mukama, tolwa!
71 (D)Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka,
tondeka kuswazibwa.
2 (E)Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye;
ontegere okutu ondokole.
3 (F)Onfuukire olwazi obuddukiro bwange,
ekifo eky’amaanyi;
ondokole
kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange.
4 (G)Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi,
omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe.
5 (H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange;
ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange.
6 (I)Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa;
ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange.
Nnaakutenderezanga ennaku zonna.
7 (J)Eri abangi nafuuka;
naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi.
8 (K)Akamwa kange kajjudde ettendo lyo,
nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba.
9 (L)Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde.
Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu.
10 (M)Kubanga abalabe bange banjogerako;
abo abaagala okunzita bansalira olukwe.
11 (N)Bagamba nti, “Katonda amulese,
ka tumugobe tumukwate,
kubanga taliiko anaamuwonya.”
12 (O)Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange,
yanguwa ojje ombeere.
13 (P)Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi,
abanoonya okunnumya baswale
era banyoomebwe.
14 (Q)Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna.
Era nneeyongeranga okukutenderezanga.
15 (R)Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba;
nnaayogeranga ku bulokozi bwo,
wadde siyinza kubupima.
16 (S)Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda,
era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu.
17 (T)Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange;
n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo.
18 (U)Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi,
tonjabuliranga, Ayi Katonda,
okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi,
n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo.
19 (V)N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu.
Ggw’okoze ebikulu,
Ayi Katonda, ani akwenkana?
20 (W)Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo,
ggw’olinzizaamu obulamu,
n’ompa amaanyi amaggya,
n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi.
21 (X)Olinnyongerako ekitiibwa
n’oddamu okunsanyusa.
22 (Y)Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba
olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange;
nnaakutenderezanga n’entongooli,
Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri.
23 (Z)Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu
nga nkutendereza,
nze gw’onunudde!
24 (AA)Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu
obudde okuziba,
kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi
otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa.
Zabbuli ya Asafu.
74 (A)Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna?
Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo?
2 (B)Ojjukire abantu bo be wagula edda;
ekika kye wanunula okuba ababo.
Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga.
3 Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa!
Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo.
4 (C)Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga;
ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe.
5 (D)Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi
abatema emiti mu kibira.
6 (E)Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole,
era ne babissessebbula n’obubazzi.
7 Bookezza awatukuvu wo;
ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo.
8 (F)Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!”
Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno.
9 (G)Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu.
So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10 (H)Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira?
Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize.
11 (I)Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo?
Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo?
12 (J)Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda;
gw’oleeta obulokozi mu nsi.
13 (K)Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja;
omulabe n’omuzikiririza mu mazzi.
14 Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene;
n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu.
15 (L)Ggwe wazibukula ensulo n’emyala;
ate n’okaza n’emigga
egyakulukutanga bulijjo.
16 (M)Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo;
ggwe wakola omwezi n’enjuba.
17 (N)Ggwe wateekawo ensalo z’ensi;
ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti.
18 (O)Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe,
n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo.
19 (P)Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe;
so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa.
20 (Q)Ojjukire endagaano yo;
kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe.
21 (R)Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa;
era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna.
22 (S)Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango.
Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba.
23 (T)Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo,
n’okuleekaana okwa buli kiseera.
Batabani ba Yakobo Bamutegeeza
29 Bwe baakomawo mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe ne bamutegeeza byonna ebyababaako, nga bagamba nti, 30 (A)“Omusajja omufuzi w’ensi y’e Misiri yayogera naffe n’obukambwe era n’atuyisa nga abaali bagenze okuketta ensi ye. 31 (B)Naye ne tumugamba nti, Tuli basajja b’amazima, tetuli bakessi, 32 tuli abooluganda kumi na babiri, baana ba muntu omu, munnaffe yafa, ne muto waffe olwa leero ali ne kitaffe mu nsi ya Kanani.
33 (C)“Awo omusajja oyo omufuzi w’ensi n’atugamba nti, ‘Ku kino kwennaategeerera nga muli beesigwa: muleke wano omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw’enjala eri mu maka gammwe. 34 (D)Mundeetere muto wammwe, kwe nnaategeerera nga temuli bakessi, muli basajja b’amazima, olwo ne ndyoka mbawa muganda wammwe, mulyoke mugule emmere mu nsi eno.’ ”
35 (E)Bwe baatuuka eka, buli eyafukumulanga ensawo ye, laba ng’omuvumbo gw’ensimbi ze mweziri. Awo bo ne kitaabwe bwe baalaba emivumbo gy’ensimbi ne batya. 36 (F)Yakobo kitaabwe n’abagamba nti, “Munzigyeko abaana bange: Yusufu taliiwo, ne Simyoni taliiwo ne kaakano mwagala muntwaleko Benyamini!”
37 Awo Lewubeeni n’agamba kitaawe nti, “Ottanga batabani bange bombi, bwe sirikomyawo Benyamini gy’oli; mumpe, nange ndimukomyawo gy’oli.”
38 (G)Naye Yakobo n’agamba nti, “Mutabani wange tajja kuserengeta nammwe, kubanga muganda we yafa, era ye y’asigalawo yekka. Akabi bwe kalimutuukako mu lugendo lwe mugendako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkyali munakuwavu.”
Ekibi eky’obwenzi
12 (A)Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola, mu mateeka, naye byonna tebinsanira. Ebintu byonna nzikirizibwa okubikola naye sigenda kufugibwa kintu na kimu. 13 (B)Ebyokulya bya lubuto, n’olubuto lwa byakulya. Naye byombi Katonda alibizikiriza. Omubiri si gwa bwenzi, naye gwa Mukama. 14 (C)Era Katonda eyazuukiza Mukama waffe alituzuukiza olw’amaanyi ge. 15 (D)Temumanyi ng’emibiri gyammwe bitundu bya Kristo? Ate nzirire ebitundu bya Kristo mbifuule eby’omwenzi? Kikafuuwe. 16 (E)Oba temumanyi nti omuntu yenna eyeegatta n’omwenzi, emibiri gyammwe gifuuka gumu? Kubanga kigambibwa nti, “Bombi balifuuka omubiri gumu.” 17 (F)Naye eyeegatta ne Mukama waffe bafuuka omu mu mwoyo.
18 (G)Mudduke obwenzi. Buli kibi omuntu ky’akola kiba ku mubiri, naye ayenda akola ekibi ku mubiri gwe ye yennyini. 19 (H)Oba temumanyi ng’omubiri gwammwe ye Yeekaalu ya Mwoyo Mutukuvu Katonda gwe yabawa, era n’emibiri gyammwe si gyammwe ku bwammwe? 20 (I)Kubanga mwagulibwa na muwendo, noolwekyo emibiri gyammwe gigulumizenga Katonda.
21 (A)Awo Yesu n’ababuuza nti, “Waliwo omuntu akoleeza ettaala n’agivuunikako ekibbo oba n’agiteeka wansi w’ekitanda? Naye omuntu bw’akoleeza ettaala tagiteeka ku kikondo waggulu? 22 (B)Kubanga buli kintu kyonna ekikolebwa mu kyama kaakano, ekiseera kirituuka ne kiragibwa mu lwatu. 23 (C)Alina amatu agawulira awulire. 24 (D)Naye mwegendereze ebyo bye mbayigiriza. 25 (E)Alina aliweebwa na buli atalina aliggyibwako n’ebyo by’alina.”
Olugero lw’Ensigo Ekula
26 (F)Awo Yesu n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanaanyirizibwa n’omusizi asiga ensigo mu ttaka. 27 Ekiro yeebaka, n’emisana ne yeekolera by’ayagala, mu kiseera ekyo kyonna ensigo ziba zimera, naye ate nga takimanyi. 28 Ku bwalyo ettaka lireeta ekibala. Ensigo zisooka kusindika bulimi bwazo okuva mu ttaka, amatabi ne gajjako ebirimba by’eŋŋaano. 29 (G)Eŋŋaano bw’eyengera omusizi ayanguwa mangu n’akwata akayuuyo, kubanga amakungula gatuuse.”
30 (H)Awo Yesu n’ayongera n’abagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda tunaabugeraageranya na ki? Oba tukozese lugero ki okubunnyonnyola? 31 Bufaananyizibwa n’akasigo aka kaladaali! Kubanga newaakubadde katono nnyo okusinga ensigo zonna ez’oku nsi, 32 naye kavaamu omuti omunene nga gulina amatabi amanene, ennyonyi ez’omu bbanga mwe ziyinza okuzimba ebisu byazo.”
33 (I)Yesu n’abuulira abantu ekigambo kya Katonda ng’akozesa engero nnyingi ezifaanana ng’ezo, nga bwe baasobolanga okuwulira. 34 (J)Yesu bwe yabanga ayigiriza ebibiina yakozesanga engero, naye bwe yaddanga ebbali n’abayigirizwa be n’abannyonnyola amakulu agali mu ngero ezo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.