Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 37

Zabbuli ya Dawudi.

37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
    so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
(B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
    bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

(C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
    onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
(D)Sanyukiranga mu Mukama,
    anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

(E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
    mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
(F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
    n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

(G)Siriikirira awali Mukama,
    ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
    Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

(H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
    teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
(I)Kubanga ababi balisalibwako,
    naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
    wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
    ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

12 (L)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
    ne babalumira obujiji.
13 (M)Naye Mukama asekerera ababi,
    kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.

14 (N)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
    ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
    era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (O)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
    n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.

16 (P)Ebitono omutuukirivu by’alina
    bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (Q)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
    naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

18 (R)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
    era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
    ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

20 (S)Naye ababi balizikirira;
    abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
    era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.

21 (T)Ababi beewola, ne batasasula;
    naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (U)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
    naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

23 (V)Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
    aluŋŋamya entambula ye.
24 (W)Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
    kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

25 (X)Nnali muto kati nkaddiye,
    naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
    wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 (Y)Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
    Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

27 (Z)Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
    munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 (AA)Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
    n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
    naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 (AB)Abatuukirivu baligabana ensi
    ne babeeranga omwo emirembe gyonna.

30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
    n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 (AC)Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
    era ebigere bye tebiseerera.

32 (AD)Omubi ateega omutuukirivu
    ng’anoonya okumutta,
33 (AE)naye Mukama taliganya babi kuwangula,
    wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.

34 (AF)Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
    otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
    ababi bwe balisalirwako olikitegeera.

35 (AG)Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
    ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 (AH)naye teyalwawo n’abula,
    ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.

37 (AI)Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;
    obulamu bwe bunajjulanga emirembe.
38 (AJ)Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;
    ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.

39 (AK)Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;
    ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
40 (AL)Mukama abayamba n’abalokola;
    abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
    kubanga gy’ali gye baddukira.

Kaabakuuku 3:1-18

Okusaba kwa Kaabakuuku

Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.

(A)Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
    mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
    bimanyise mu biro bino,
    era mu busungu jjukira okusaasira.

(B)Katonda yajja ng’ava e Temani,
    Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
    ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
    Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
    era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
Kawumpuli ye yakulembera,
    Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
(C)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
    Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
    obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
(D)Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
    n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.

(E)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
    Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
    bwe weebagala embalaasi zo,
    n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
(F)Wasowolayo akasaale ko,
    wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10     (G)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
    obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
    ne busitula amayengo gaayo waggulu.

11 (H)Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
    olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
    n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 (I)Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
    wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 (J)Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
    olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
    ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 (K)Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
    abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
    ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 (L)Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
    n’otabangula amazzi amangi.

Okusanyukira mu Mukama

16 Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
    n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
    amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
    bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
17 (M)Wadde omutiini tegutojjera,
    so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
    ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
    nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 (N)kyokka ndijaguliza Mukama,
    ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

Abafiripi 3:12-21

12 (A)Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune. 13 (B)Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso. 14 (C)Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.

15 (D)Noolwekyo ffe ffenna abatuukiridde ekyo kye tusaana okulowoozanga, naye obanga mulowooza bulala, na kino Katonda alikibabikkulira. 16 Naye ka tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.

17 (E)Kale, abooluganda, mwegatte n’abo abangoberera era mugobererenga abo abatambulira mu ebyo bye twabalaga. 18 (F)Ekyo newaakubadde nkibabuulidde emirundi emingi, nkiddamu nga nkaaba n’amaziga, nti waliwo abalabe b’omusaalaba gwa Kristo, 19 (G)era ekibalindiridde kwe kuzikirira, kubanga okulya kubafuukidde katonda waabwe, ebyo ebyandibakwasizza ensonyi kye kitiibwa kyabwe era balowooza bintu bya mu nsi. 20 (H)Kyokka ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era Omulokozi, Mukama waffe Yesu Kristo, gye tumulindirira okuva. 21 (I)Kale bw’alijja emibiri gyaffe gino eminafu egifa aligifuula ng’ogugwe ogw’ekitiibwa, ng’akozesa amaanyi okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.

Yokaana 17:1-8

Yesu Yeesabira

17 (A)Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’ayimusa amaaso ge n’atunula eri eggulu, n’ayogera nti,

“Kitange ekiseera kituuse. Gulumiza Omwana wo, n’omwana alyoke akugulumize, (B)nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, bonna be wamuwa alyoke abawe obulamu obutaggwaawo. (C)Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo. (D)Nkugulumizizza ku nsi, omulimu gwe wantuma okukola, ngumalirizza. (E)Kale kaakano, Kitange, ngulumiza wamu naawe mu kitiibwa ekyo kye nnali nakyo ng’ensi tennabeerawo.”

Yesu Asabira Abayigirizwa be

(F)“Njolesezza erinnya lyo eri abantu be wampa okuva mu nsi. Baali ba nsi naye n’obampa. Baali babo n’obampa era bakkirizza ekigambo kyo. Bategedde nga buli kye nnina kiva gy’oli, (G)kubanga buli kye wandagira nkibayigirizza ne bakitegeera era bategeeredde ddala nga nava gy’oli, era ne bakkiriza nga ggwe wantuma.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.