Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 87

Zabbuli ya Batabani ba Koola. Oluyimba.

87 Atadde emisingi gye ku lusozi olutukuvu.
    (A)Mukama ayagala emiryango gya Sayuuni
    okusinga ennyumba zonna eza Yakobo.

(B)Ebintu eby’ekitiibwa bikwogerwako,
    ggwe ekibuga kya Katonda.
(C)“Mu mawanga ge mmanyi mwe muli Lakabu,
    ne Babulooni;
era ndyogera ku Bufirisuuti, ne ku Ttuulo
    ne ku Esiyopya nti, ‘Ono yazaalirwa mu Sayuuni.’ ”
Bwe baliba boogera ku Sayuuni baligamba nti,
    “Ono n’oli baazaalirwa omwo,”
    n’oyo Ali Waggulu Ennyo alikinyweza.
(D)Mukama aliwandiika mu kitabo bw’ati,
    omuli amannya g’abantu nti, “Ono yazaalibwa omwo.”

(E)Banaakubanga ebivuga nga bwe bayimba nti,
    “Ensulo zange zonna ziri mu ggwe.”

Zabbuli 90

EKITABO IV

Zabbuli 90–106

Okusaba kwa Musa, omusajja wa Katonda.

90 (A)Ayi Mukama, obadde kifo kyaffe eky’okubeeramu
    emirembe gyonna.
(B)Ensozi nga tezinnabaawo,
    n’ensi yonna nga tonnagitonda;
    okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero y’emirembe gyonna, ggwe Katonda.

(C)Omuntu omuzzaayo mu nfuufu,
    n’oyogera nti, “Mudde mu nfuufu, mmwe abaana b’abantu.”
(D)Kubanga emyaka olukumi,
    gy’oli giri ng’olunaku olumu olwayita,
    oba ng’ekisisimuka mu kiro.
(E)Obeera n’obamalirawo ddala nga bali mu tulo otw’okufa.
    Ku makya baba ng’omuddo omuto.
(F)Ku makya guba munyirivu,
    naye olw’eggulo ne guwotoka ne gukala.

Ddala ddala obusungu bwo butumalawo,
    n’obukambwe bwo bututiisa nnyo.
(G)Ebyonoono byaffe obyanjadde mu maaso go,
    n’ebyo bye tukoze mu kyama obyanise awo w’oli.
(H)Ddala ddala tumala ennaku z’obulamu bwaffe zonna ng’otunyiigidde;
    tukomekkereza emyaka gyaffe n’okusinda.
10 (I)Obungi bw’ennaku zaffe gy’emyaka nsanvu,
    oba kinaana bwe tubaamu amaanyi.
Naye emyaka egyo gijjula ennaku n’okutegana,
    era giyita mangu, olwo nga tuggwaawo.
11 (J)Ani amanyi amaanyi g’obusungu bwo?
    Kubanga ekiruyi kyo kingi ng’ekitiibwa kye tusaana okukuwa bwe kyenkana.
12 (K)Otuyigirize okutegeeranga obulungi ennaku zaffe,
    tulyoke tubeere n’omutima ogw’amagezi.

13 (L)Ayi Mukama, komawo gye tuli. Olitusuula kutuusa ddi?
    Abaweereza bo bakwatirwe ekisa.
14 (M)Tujjuze okwagala kwo okutaggwaawo ku makya,
    tulyoke tuyimbenga nga tujaguza n’essanyu era tusanyukenga obulamu bwaffe bwonna.
15 Tusanyuse, Ayi Mukama, okumala ennaku nga ze tumaze ng’otubonyaabonya,
    era n’okumala emyaka nga gye tumaze nga tulaba ennaku.
16 (N)Ebikolwa byo biragibwe abaweereza bo,
    n’abaana baabwe balabe ekitiibwa kyo.
17 (O)Okusaasira kwo, Ayi Mukama Katonda waffe, kubeerenga ku ffe,
    otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe;
    weewaawo, otusobozesenga okutuukiriza obulungi emirimu gyaffe.

Zabbuli 136

136 (A)Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(B)Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Mwebaze Mukama w’abafuzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(C)Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(D)Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(E)Oyo eyabamba ensi ku mazzi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(F)Oyo eyakola ebyaka ebinene,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
(G)Enjuba yagikola okufuganga emisana,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

10 (H)Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
11 (I)N’aggya Isirayiri mu Misiri,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
12 (J)Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

13 (K)Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
14 (L)N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
15 (M)Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

16 (N)Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

17 (O)Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
18 (P)N’atta bakabaka ab’amaanyi,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
19 (Q)Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
20 Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
21 (R)N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
22 Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

23 (S)Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
24 (T)N’atuwonya abalabe baffe,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
25 (U)Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

26 Kale mwebaze Katonda w’eggulu,
kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

Olubereberye 29:1-20

Olugendo lwa Yakobo

29 (A)Awo Yakobo ne yeeyongerayo mu lugendo lwe, n’atuuka mu nsi y’abantu b’ebuvanjuba. Bwe yatunula n’alaba oluzzi mu nnimiro, ng’ebisibo bisatu eby’endiga zigalamidde awo ku lwo, kubanga awo we zaanywesezebwanga. Ejjinja eryasaanikiranga ku mumwa gw’oluzzi olwo lyali ddene, era ebisibo bwe byakuŋŋaananga, abasumba ne balyoka baliyiringisa okuliggya ku mumwa gw’oluzzi ne banywesa endiga; bwe zaamalanga ne balizzaako.

(B)Awo Yakobo n’abuuza abasumba nti, “Abooluganda muva wa?” Ne bamuddamu nti, “Tuva Kalani.”

Kwe kubabuuza nti, “Labbaani mutabani wa Nakoli mumumanyi?” Ne bamuddamu nti, “Tumumanyi.”

N’abuuza nti, “Ali bulungi?” Ne baddamu nti, “Ali bulungi, era laba Laakeeri muwala we wuuli ajja n’endiga!”

N’abagamba nti, “Mulabe, obudde bukyali bwa ttuntu, ekiseera tekinnatuuka okukuŋŋaanya ensolo awamu, muzinywese mulyoke mugende muzirunde.”

Bo kwe kumuddamu nti, “Ekyo tetusobola kukikola ng’ebisibo byonna tebinnakuŋŋaanyizibwa, nga n’ejjinja terinaggyibwa ku mumwa gw’oluzzi, olwo ne tunywesa endiga.”

Yakobo Asisinkana Laakeeri

(C)Yakobo bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n’atuuka n’endiga za kitaawe. Kubanga ye yali azirunda. 10 (D)Yakobo bwe yalaba Laakeeri, muwala wa Labbaani, mwannyina nnyina, n’endiga za Labbaani, n’agenda n’ayiringisa ejjinja okuva ku mumwa gw’oluzzi n’anywesa endiga za Labbaani. 11 (E)Yakobo n’alyoka agwa Laakeeri mu kifuba, n’ayimusa eddoboozi n’akaaba. 12 (F)Yakobo n’alyoka ategeeza Laakeeri nti, waluganda ne kitaawe, era ye mutabani wa Lebbeeka. Laakeeri kwe kudduka n’ategeeza kitaawe.

13 (G)Awo Labbaani bwe yawulira ebya Yakobo, mutabani wa mwannyina, n’adduka okumusisinkana, n’amugwa mu kifuba n’amulamusa bulungi, n’amutwala mu nnyumba ye. Yakobo n’ategeeza Labbaani byonna ebyaliwo. 14 (H)Labbaani n’agamba nti, “Mazima oli ggumba lyange, era nnyama ya mubiri gwange! N’abeera naye omwezi mulamba.” 15 Awo Labbaani n’agamba Yakobo nti, “Olw’okubanga oli waluganda ky’onoova ompeerereza obwereere? Ntegeeza empeera yo bw’eneebanga.”

16 Labbaani yalina bawala be babiri; erinnya ly’omukulu nga ye Leeya ne ly’omuto nga ye Laakeeri. 17 Leeya yali manafu, kyokka ye Laakeeri nga mulungi era nga w’amaanyi. 18 (I)Yakobo yayagala Laakeeri, era n’agamba Labbaani nti, “Nzija kukuweereza[a] emyaka musanvu olwa muwala wo omuto Laakeeri.”

19 Labbaani kwe kumuddamu nti, “Kituufu okumuwa ggwe ne ssimuwa musajja mulala yenna. Beera nange.” 20 (J)Bw’atyo Yakobo n’akolerera Laakeeri emyaka musanvu, naye ne giba ng’ennaku obunaku gy’ali kubanga yamwagala nnyo.

Abaruumi 14

Obutanenyagananga lwa Byakulya

14 (A)Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango. Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka. (B)Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza. (C)Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.

(D)Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala n’alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku ky’alowooza bwe kiba nga kye kituufu. (E)Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda. (F)Kubanga tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali n’omu afa ku lulwe. (G)Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.

(H)Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate n’abeera omulamu, alyoke abeere Mukama w’abo abaafa era n’abalamu. 10 (I)Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda, ey’okulamula. 11 (J)Kubanga kyawandiikibwa nti,

“ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama,
‘buli vviivi lirinfukaamirira
    era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”

12 (K)Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

Okwesittaza Abalala

13 (L)Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi. 14 (M)Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo. 15 (N)Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira. 16 (O)Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa. 17 (P)Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. 18 (Q)Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.

19 (R)Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka. 20 (S)Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala. 21 (T)Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.

22 (U)Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu. 23 (V)Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.

Yokaana 8:47-59

47 (A)Buli muntu wa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Naye mmwe temuwulira kubanga temuli ba Katonda.”

48 (B)Awo Abayudaaya ne baddamu Yesu nti, “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamaliya, era oliko dayimooni?”

49 Yesu n’abaddamu nti, “Nze siriiko dayimooni, naye nzisaamu Kitange ekitiibwa naye mmwe temunzisaamu kitiibwa. 50 (C)Naye Nze sinoonya kussibwamu kitiibwa, waliwo omu ye akisaanira era y’alamula. 51 (D)Ddala ddala mbagamba nti, Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.”

52 Awo Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Kaakano tutegeeredde ddala nti oliko dayimooni. Ibulayimu yafa era ne bannabbi baafa, ate ggwe ogamba nti, ‘Buli anywerera ku kigambo kyange talifa emirembe n’emirembe.’ 53 (E)Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? Bannabbi nabo baafa. Ggwe weeyita ani?”

54 (F)Yesu n’addamu nti, “Singa Nze neegulumiza okwegulumiza kwange tekubaamu nsa, angulumiza ye Kitange mmwe gwe muyita Katonda wammwe, 55 (G)mmwe temumumanyi. Nze mmumanyi. Bwe ŋŋamba nti simumanyi mba mulimba nga mmwe bwe muli. Nze mmumanyi era n’ekigambo kye nkikuuma. 56 (H)Kitammwe Ibulayimu yasanyuka okulaba olunaku lwange. Yamanya nti nzija era ne kimusanyusa.”

57 Abayudaaya ne bamugamba nti, “Tonnaweza na myaka amakumi ataano egy’obukulu n’ogamba nti walaba Ibulayimu?”

58 (I)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu yali tannabaawo, Nze nga wendi.” 59 (J)Awo ne bakwata amayinja okumukuba, kyokka Yesu ne yeekweka n’afuluma mu Yeekaalu.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.