Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 31

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
    leka nneme kuswazibwa.
    Ndokola mu butuukirivu bwo.
(A)Ontegere okutu kwo
    oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
    era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
(B)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
    olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
(C)Omponye mu mutego gwe banteze;
    kubanga ggwe kiddukiro kyange.
(D)Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
    ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.

(E)Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
    nze nneesiga Mukama.
(F)Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
    kubanga olabye okubonaabona kwange
    era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
(G)Tompaddeeyo mu balabe bange,
    naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.

(H)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
    amaaso gange gakooye olw’ennaku;
    omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (I)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
    ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
    n’amagumba ganafuye.
11 (J)Abalabe bange bonna bansekerera,
    banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
    n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (K)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
    nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (L)Buli ludda mpulirayo obwama
    nga bangeya;
bye banteesaako
    nga basala olukwe okunzita.

14 (M)Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
    nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 (N)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
    ondokole mu mikono gy’abalabe bange
    n’abangigganya.
16 (O)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
    ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
17 (P)Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,
    kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
    era bagalamire emagombe nga basirise.
18 (Q)Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
    kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
    nga babyogeza amalala n’okunyooma.

19 (R)Obulungi bwo,
    bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
    abo abaddukira gy’oli.
20 (S)Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
    n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
    ne zitabatuukako.

21 (T)Mukama atenderezebwenga
    kubanga yandaga okwagala kwe okungi,
    bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
22 (U)Bwe natya ennyo
    ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”
Kyokka wampulira nga nkukaabirira
    n’onsaasira.

23 (V)Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!
    Mukama akuuma abo abamwesiga,
    naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
24 (W)Muddeemu amaanyi mugume omwoyo
    mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.

Zabbuli 35

Zabbuli ya Dawudi.

35 (A)Ayi Mukama, wakanya abo abampakanya,
    lwanyisa abo abannwanyisa.
(B)Golokoka okwate engabo,
    n’akagabo onziruukirire.
Galula effumu,
    abangigganya obazibire ekkubo;
otegeeze omwoyo gwange nti,
    “Nze bulokozi bwo.”

(C)Abo bonna abannoonya okunzita bajolongebwe
    era baswazibwe;
abo abateesa okunsanyaawo
    bazzibweyo ennyuma babune emiwabo.
(D)Babe ng’ebisusunku ebifuumuulibwa empewo,
    malayika wa Mukama ng’abagoba.
Ekkubo lyabwe libe lya kizikiza era lijjule obuseerezi, ne malayika wa Mukama ng’abagoba.

Nga bwe bantega omutego nga siriiko kye mbakoze,
    ne bansimira n’ekinnya mu kkubo lyange awatali nsonga,
(E)bazikirizibwe nga tebategedde,
    n’omutego gwe banteze be baba bagugwamu,
    era bagwe ne mu kinnya kiri bazikirire.
(F)Omwoyo gwange ne gulyoka gujaguliza mu Mukama,
    ne gusanyukira mu bulokozi bwe.
10 (G)Amagumba gange galyogera nti,
    “Ani afaanana nga ggwe, Ayi Mukama?
Kubanga abaavu obadduukirira n’obawonya ababasinza amaanyi,
    n’abali mu kwetaaga n’obawonya abanyazi.”

11 (H)Abajulizi abakambwe bagolokoka
    ne bambuuza ebintu bye sirinaako kye mmanyi.
12 (I)Bwe mbayisa obulungi bo bampisa bubi,
    ne banakuwaza omwoyo gwange.
13 (J)So nga bwe baalwala nanakuwala ne nnyambala ebibukutu,
    ne neerumya nga nsiiba, ne nsaba Mukama nga nkotese omutwe,
naye okusaba kwange bwe kutaddibwamu,
14     ne mbeera mu nnaku
    ng’ankungubagira ow’omukwano
oba owooluganda nkoteka omutwe gwange mu buyinike
    ng’akaabira nnyina.
15 (K)Naye bwe nagwa mu kabi ne beekuŋŋaanya nga basanyuse;
    ne bannumba nga simanyi,
    ne bampayiriza obutata.
16 (L)Banduulidde n’ettima ng’abatamanyi Katonda bwe bakola,
    ne bannumira obujiji.
17 (M)Ayi Mukama, olituusa ddi ng’otunula butunuzi?
    Nziruukirira nga bannumba, obulamu bwange obuwonye okutaagulwataagulwa,
    obulamu bwange obw’omuwendo eri empologoma zino.
18 (N)Nnaakwebalizanga mu lukuŋŋaana olukulu,
    ne nkutenderezanga mu kibiina ky’abantu abangi ennyo.
19 (O)Tokkiriza balabe bange kunneeyagalirako,
    abankyawa awatali nsonga;
abankyayira obwereere
    tobakkiriza kunziimuula.
20 Teboogera bya mirembe,
    wabula okuwaayiriza abantu abeetuulidde emirembe mu nsi.
21 (P)Banjasamiza akamwa kaabwe ne boogera nti,
    “Leero luno, ky’okoze tukirabye n’amaaso gaffe.”

22 (Q)Bino byonna obirabye, Ayi Mukama.
    Noolwekyo tosirika. Tonsuulirira, Ayi Mukama.
23 (R)Golokoka ojje onnyambe;
    nnwanirira Ayi Katonda wange era Mukama wange.
24 Mu butuukirivu bwo nnejjeereza, Ayi Mukama Katonda wange,
    tobaganya kunneeyagalirako.
25 (S)Tobaleka kulowooza nti, “Leero luno! Kino kye twali twagala!”
    Oba nti, “Tumusaanyizzaawo!”

26 (T)Abo bonna abanneeyagalirako olw’ennaku yange ne beesanyusa,
    batabulwetabulwe era baswazibwe;
abo bonna abanneegulumirizaako
    baswazibwe era banyoomebwe.
27 (U)Abo abasanyuka ng’annejjeereza,
    baleekaanire waggulu olw’essanyu n’okujaganya;
era boogerenga nti, “Mukama agulumizibwe,
    asanyuka omuweereza we ng’atebenkedde.”

28 (V)Olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo,
    era nnaakutenderezanga olunaku lwonna.

Olubereberye 11:27-12:8

Obuzaale bwa Ibulaamu

27 (A)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera:

Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 28 (B)Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 29 (C)Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 30 (D)Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.

31 (E)Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,[a] ne babeera omwo.

32 Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.

Okuyitibwa kwa Ibulaamu

12 (F)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.

(G)“Nange ndikufuula eggwanga eddene,
    era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
    olyoke obeere mukisa.
(H)Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
    era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
    mwe galiweerwa omukisa.”

(I)Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. (J)Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.

(K)Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. (L)Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.

(M)Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama.

Abaebbulaniya 7:1-17

Kabona Merukizeddeeki

(A)Merukizeddeeki yali kabaka w’e Ssaalemi, era yali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo. Ibulayimu bwe yali ng’ava mu lutalo mwe yattira bakabaka, Merukizeddeeki n’amusisinkana, n’amusabira omukisa. Ne Ibulayimu n’awa Merukizeddeeki ekitundu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. Okusooka erinnya Merukizeddeeki litegeeza nti Kabaka ow’Obutuukirivu. Ate era litegeeza kabaka w’e Ssaalemi ekitegeeza nti ye kabaka ow’emirembe. (B)Merukizeddeeki taliiko kitaawe oba nnyina. Ennaku ze teziriiko ntandikwa wadde enkomerero, era n’obulamu bwe tebukoma. Asigala kabona emirembe gyonna, ng’Omwana wa Katonda.

(C)Kale mulabe Merukizeddeeki oyo nga bwe yali omukulu! Ibulayimu jjajjaffe yamuwa ekimu eky’ekkumi ekya byonna bye yanyaga. (D)N’abo abazzukulu ba Leevi abaaweebwa obwakabona, balagirwa okusoloozanga ekimu eky’ekkumi ng’etteeka bwe ligamba, newaakubadde nga baava mu ntumbwe za Ibulayimu, kwe kugamba nti nabo baganda baabwe. (E)Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa. Tewali kubuusabuusa omukulu y’asabira omuto omukisa. (F)Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu. Noolwekyo ka tugambe nti okuyita mu Ibulayimu, ne Leevi aweebwa ekimu eky’ekkumi, naye yawaayo ekimu eky’ekkumi. 10 Yali akyali mu ntumbwe za jjajjaawe, Merukizeddeeki bwe yamusisinkana.

11 (G)Kale singa okutuukirira kwaliwo lwa bwakabona obw’Ekileevi, kubanga abantu baaweebwa amateeka nga gasinzira ku bwo, kiki ekyetaaza kabona omulala okuva mu lubu lwa Merukizeddeeki, mu kifo ky’okuva mu lubu lwa Alooni? 12 Kubanga bwe wabaawo okukyusibwa mu bwakababona, era kiba kyetaagisa n’okukyusa mu mateeka. 13 (H)Oyo ayogerwako ebigambo ebyo wa kika kirala omutaavanga muntu eyali aweerezaako ku Kyoto. 14 (I)Kubanga kimanyiddwa nga Mukama waffe yava mu Yuda ekika Musa ky’ataayogerako bigambo bya bwakabona. 15 Era kitegeerekeka nga wazeewo Kabona omulala mu kifaananyi kya Merukizeddeeki, 16 atassibwawo ng’amateeka ag’ebiragiro eby’omubiri bwe gali, wabula ng’amaanyi bwe gali ag’obulamu obutaggwaawo. 17 (J)Kubanga Kristo ayogerwako nti,

“Oli kabona okutuusa emirembe gyonna
    ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

Yokaana 4:16-26

16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”

17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”

Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

19 (A)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (B)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”

21 (C)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (D)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (E)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (F)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (G)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (H)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.