Book of Common Prayer
Ya mukulu wa bayimbi. Oluyimba, Zabbuli ya Dawudi.
66 (A)Yimbira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka, ggwe ensi yonna.
2 (B)Muyimbe ekitiibwa ky’erinnya lye.
Mumuyimbire ennyimba ezimusuuta.
3 (C)Gamba Katonda nti, “Ebikolwa byo nga bya ntiisa!
Olw’amaanyi go amangi
abalabe bo bakujeemulukukira.
4 (D)Ab’omu nsi yonna bakuvuunamira,
bakutendereza,
bayimba nga bagulumiza erinnya lyo.”
5 (E)Mujje mulabe Katonda ky’akoze;
mulabe eby’entiisa by’akoledde abaana b’abantu!
6 (F)Ennyanja yagifuula olukalu.
Abantu baasomoka omugga n’ebigere nga temuli mazzi,
kyetuva tujaguza.
7 (G)Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna;
amaaso ge agasimba ku mawanga,
ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
8 (H)Mutendereze Katonda waffe, mmwe amawanga;
eddoboozi ery’okumutendereza liwulirwe wonna.
9 (I)Oyo y’atukuumye ne tuba balamu,
n’ataganya bigere byaffe kuseerera.
10 (J)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, otugezesezza,
n’otulongoosa nga bwe bakola ffeeza mu muliro.
11 (K)Watuteeka mu kkomera,
n’otutikka emigugu.
12 (L)Waleka abantu ne batulinnyirira;
ne tuyita mu muliro ne mu mazzi,
n’otutuusa mu kifo eky’okwesiima.
13 (M)Nnaayambukanga mu yeekaalu yo n’ebiweebwayo ebyokebwa,
ntuukirize obweyamo bwange gy’oli,
14 nga ndeeta ekyo emimwa gyange kye gyasuubiza;
akamwa kange kye kaayogera bwe nnali mu kabi.
15 (N)Nnaawaayo gy’oli ssaddaaka ez’ensolo ensava,
mpeeyo ne ssaddaaka ey’endiga ennume;
mpeeyo ente ennume n’embuzi.
16 (O)Mujje muwulire, mmwe mwenna abatya Katonda,
mbategeeze ebyo by’ankoledde.
17 Namukaabirira n’akamwa kange,
ne mutendereza n’olulimi lwange.
18 (P)Singa nnali nsirikidde ekibi mu mutima gwange,
Mukama teyandimpulirizza;
19 (Q)ddala ddala Katonda yampuliriza era n’awulira eddoboozi lyange nga nsaba.
20 (R)Katonda atenderezebwenga,
atagobye kusaba kwange,
wadde okunziggyako okwagala kwe okutaggwaawo!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli. Oluyimba.
67 (S)Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa,
era otwakize amaaso go.
2 (T)Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi,
n’obulokozi bwo mu mawanga gonna.
3 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 (U)Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu.
Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya,
n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
5 Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda,
abantu bonna bakutenderezenga.
4 Oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali. 5 (A)Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri, 6 (B)so si eri abantu abangi abalina enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera bye bagamba. Mazima singa nakutuma gye bali, bandikuwulirizza. 7 (C)Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu. 8 (D)Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo. 9 (E)Ndifuula ekyenyi kyo okuba ng’ejjinja erikaluba ennyo, erikaluba ng’ejjinja ery’embaalebaale. Tobatya so totiisibwatiisibwa, newaakubadde nga nnyumba njeemu.” 10 N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe. 11 (F)Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.”
34 (A)Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, 35 (B)wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima. 36 (C)Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. 37 Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira. 38 (D)Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.
39 (E)“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba. 40 (F)Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu. 41 (G)Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu. 42 (H)N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu. 43 (I)Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”
44 Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo!
118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
2 (B)Kale Isirayiri ayogere nti,
“Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
3 N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
4 Abo abatya Mukama boogere nti,
“Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
5 (C)Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama,
n’annyanukula, n’agimponya.
6 (D)Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya.
Abantu bayinza kunkolako ki?
7 (E)Mukama ali nange, ye anyamba.
Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.
8 (F)Kirungi okwesiga Mukama
okusinga okwesiga omuntu.
9 (G)Kirungi okuddukira eri Mukama
okusinga okwesiga abalangira.
10 (H)Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula,
naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
11 (I)Banneebungulula enjuuyi zonna;
naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
12 (J)Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki;
naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro;
mu linnya lya Mukama nabawangula.
13 (K)Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa;
naye Mukama n’annyamba.
14 (L)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
afuuse obulokozi bwange.
15 (M)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
“Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (N)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (O)Mukama ambonerezza nnyo,
naye tandese kufa.
19 (P)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
nnyingire, neebaze Mukama.
20 (Q)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (R)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
n’ofuuka obulokozi bwange.
22 (S)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
tusanyuke tulujagulizeeko.
25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole,
Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.
26 (T)Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.
Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
27 (U)Mukama ye Katonda,
y’atwakiza omusana.
Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe
kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.
28 (V)Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga;
ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi,
n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
Yesu Azzaamu Peetero Amaanyi
15 (A)Bwe baamala okulya, Yesu n’agamba Peetero nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala okusinga bano?”
Peetero n’addamu nti, “Ddala, omanyi nga nkwagala nnyo.”
Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga abaana b’endiga zange.”
16 (B)Yesu n’amubuuza omulundi ogwokubiri nti, “Simooni omwana wa Yokaana, ddala onjagala?”
Peetero n’addamu nti, “Ddala, Mukama wange, omanyi nga nkwagala.” Yesu n’amugamba nti, “Kale lundanga endiga zange.”
17 (C)Yesu n’abuuza Peetero omulundi ogwokusatu nti, “Simooni omwana wa Yokaana, onjagala?”
Peetero n’anakuwala kubanga Yesu yamubuuza omulundi ogwokusatu nti, “Onjagala?” Peetero n’amuddamu nti, “Mukama wange ggwe omanyi buli kimu, omanyi nga nkwagala.”
Yesu n’amugamba nti, “Kale liisanga endiga zange. 18 Bwe wali ng’okyali muvubuka wasobolanga okukola buli kye wayagalanga era ng’ogenda buli gye weetaaganga naye bw’olikaddiwa oligolola emikono gyo, omuntu omulala n’akusiba n’akutwala gy’otoyagala.” 19 (D)Ekyo Yesu yakyogera ng’alaga enfa Peetero gy’alifaamu okuweesa Katonda ekitiibwa. Awo n’amugamba nti, “Ngoberera.”
20 (E)Peetero bwe yakyuka, n’alaba omuyigirizwa oli Yesu gwe yayagalanga ennyo nga naye agoberera. Oyo ye muyigiriza eyagalamira okumpi n’ekifuba kya Yesu nga balya ekyekiro eky’enkomerero, amale abuuze Yesu nti, “Mukama waffe ani agenda okukulyamu olukwe?” 21 Peetero bwe yamulaba kwe kubuuza Yesu nti, “Mukama wange, ate ono aliba atya?”
22 (F)Yesu n’amugamba nti, “Bwe njagala abeerawo okutuusa lwe ndikomawo, ofaayo ki? Ggwe goberera Nze.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.