Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 38

Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

38 (A)Ayi Mukama tonnenya ng’okyaliko obusungu,
    oba okunkangavvula ng’oliko ekiruyi.
(B)Kubanga obusaale bwo bunfumise,
    n’omuggo gwo gunkubye nnyo.
(C)Obusungu bwo bundwazizza nzenna,
    n’amagumba gange gonna gansagala olw’ebyonoono byange.
(D)Omusango gwe nzizizza guyitiridde,
    gunzitoowerera ng’omugugu omunene oguteetikkika.

(E)Ebiwundu byange bitanye era biwunya,
    olw’okwonoona kwange okw’obusirusiru.
(F)Nkootakoota era mpweddemu ensa,
    ŋŋenda nsinda obudde okuziba.
(G)Omugongo gunnuma nnyo,
    ne mu mubiri gwange temukyali bulamu.
(H)Sikyalimu maanyi era nzenna mmenyesemenyese;
    nsinda buli bbanga olw’obulumi mu mutima.

(I)Mukama, bye neetaaga byonna obimanyi,
    n’okusinda kwange okuwulira.
10 (J)Omutima gumpejjawejja, amaanyi gampweddemu;
    n’okulaba sikyalaba.
11 (K)Mikwano gyange ne be nayitanga nabo banneewala olw’amabwa gange;
    ne bannange tebakyansemberera.
12 (L)Abaagala okunzita bantega emitego,
    n’abo abangigganya bateesa okummalawo.
    Buli bbanga baba bateesa kunkola kabi.

13 Ndi ng’omuggavu w’amatu, atawulira;
    nga kiggala, atayogera.
14 Nfuuse ng’omuntu atalina ky’awulira,
    atasobola kwanukula.
15 (M)Ddala ddala nnindirira ggwe, Ayi Mukama,
    onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange.
16 (N)Tobakkiriza kunneeyagalirako,
    oba okunneegulumirizaako ng’ekigere kyange kiseeredde.

17 Kubanga nsemberedde okugwa,
    era nga nnumwa buli kiseera.
18 (O)Ddala ddala njatula ebyonoono byange;
    nnumirizibwa ekibi kyange.
19 (P)Abalabe bange bangi era ba maanyi;
    n’abo abankyayira obwereere bangi nnyo.
20 (Q)Abalabe bange bankyawa olw’okuba omulongoofu,
    era bwe nkola ebirungi banjogerako ebitasaana.

21 (R)Ayi Mukama, tonjabulira;
    tobeera wala nange, Ayi Katonda wange.
22 (S)Ayi Mukama Omulokozi wange,
    yanguwa okumbeera.

Zabbuli 119:25-48

ד Daleeti

25 (A)Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu;
    nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
26 (B)Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula;
    onjigirize amateeka go.
27 (C)Njigiriza amateeka go bye gagamba,
    nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
28 (D)Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala;
    onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu;
    olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa;
    ntambulire mu ebyo bye walagira.
31 (E)Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama,
    tondeka kuswazibwa.
32 Bw’onoosumulula omutima gwange,
    nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.

ה Eh

33 (F)Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo;
    ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go
    era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
35 Ntambuliza mu mateeka go,
    kubanga mwe nsanyukira.
36 (G)Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira;
    so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
37 (H)Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu;
    obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
38 (I)Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo,
    kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya,
    kubanga ebiragiro byo birungi.
40 (J)Laba, njayaanira ebiragiro byo;
    onkomyewo mu butuukirivu bwo.

ו Waawu

41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama;
    ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
42 (K)ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya;
    kubanga neesiga kigambo kyo.
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange;
    kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna,
    emirembe n’emirembe.
45 Era nnaatambulanga n’emirembe,
    kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
46 (L)Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka,
    nga sikwatibwa nsonyi.
47 Kubanga nsanyukira amateeka go,
    era ngaagala.
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala.
    Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.

Olubereberye 9:18-29

Batabani ba Nuuwa

18 (A)Batabani ba Nuuwa abaava mu lyato ye Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi. Kaamu ye yali kitaawe wa Kanani. 19 (B)Bonna abasatu be baali batabani ba Nuuwa; era okuva mu bano ensi yonna yajjula abantu.

Kanani Akolimirwa, Seemu ye Aweebwa Omukisa

20 Nuuwa n’atandika okulima n’asimba emizabbibu; 21 n’anywa omwenge n’atamiira, ne yeebaka mu weema ng’ali bwereere. 22 Kaamu kitaawe wa Kanani n’alaba obwereere bwa kitaawe, n’abuulirako baganda be ababiri abaali ebweru. 23 Awo ne bateeka olugoye ku bibegabega byabwe ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku bwereere bwa kitaabwe.

24 Omwenge bwe gwamwamukako, Nuuwa n’azuukuka n’ategeera mutabani we omuto ky’amukoze. 25 (C)N’akolimira ezzadde lya Kaamu n’agamba nti,

“Kanani akolimirwe,
    abeere muddu wa baddu eri baganda be.”

26 Era n’agamba nti,

Mukama Katonda wange, awe Seemu omukisa,
    Kanani abeere muddu we.”
27 Katonda yaza Yafeesi,
    abeere mu weema za Seemu,
    Kanani abeere muddu we.

28 Oluvannyuma lw’amataba Nuuwa yawangaala emyaka emirala ebikumi bisatu mu ataano. 29 Emyaka gyonna Nuuwa, gye yamala ku nsi ne giba lwenda mu amakumi ataano, n’afa.

Abaebbulaniya 6:1-12

(A)Noolwekyo tulekeraawo okuyiga ebintu bya Kristo ebisookerwako, tukule mu by’omwoyo. Tulekeraawo okwogera ku bisookerwako byokka, ng’okwenenya ebikolwa ebireeta okufa, by’ebikolwa eby’obulombolombo, naye tuteekwa n’okuba n’okukkiriza mu Katonda. (B)Tulekeraawo okuyigiriza obulombolombo obw’okubatizibwa, n’obw’okussibwako emikono, n’enjigiriza ey’okuzuukira kw’abafu, n’okusalirwa omusango ogw’olubeerera. (C)Katonda nga bw’asiima, tukule mu mwoyo.

(D)Kizibu okuzza mu kwenenya abo abaamala okufuna ekitangaala ne balega ku birungi eby’omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu, ne bamanya obulungi bw’ekigambo kya Katonda, ne balega ku maanyi ag’emirembe egigenda okujja, (E)naye ne bava ku Katonda. Baba bakomerera Omwana wa Katonda omulundi ogwokubiri, ne bamuswaza mu lwatu.

Ettaka ligasa omulimi, bwe lifuna obulungi enkuba, ne lisigibwamu ensigo era ne muvaamu ebibala ebirungi. Ne Katonda aliwa omukisa. (F)Naye bwe libaza amatovu, n’amaggwa, ettaka eryo teriba lya mugaso liba kumpi n’okukolimirwa. Ku nkomerero, ebimezeeko byokebwa.

(G)Naye abaagalwa, newaakubadde twogera bwe tutyo mmwe tetubabuusabuusa. Tumanyi nga mulina ebintu ebirungi era mukola ebintu ebiraga nti muli mu kkubo ery’obulokozi. 10 (H)Kubanga Katonda mwenkanya tayinza kwerabira mulimu gwammwe omunene bwe gutyo, n’okwagala kwe mwagala erinnya lye, era amanyi bwe mwaweereza abantu be, era bwe mukyeyongera okubaweereza. 11 (I)Era twagala buli omu ku mmwe yeeyongere okulaganga obunyiikivu obwo okutuusiza ddala ku nkomerero, lwe mulifuna ekyo kye musuubira. 12 (J)Tetwagala mube bagayaavu, wabula mube ng’abo abakkiriza era abagumiikiriza ne bafuna ekyasuubizibwa.

Yokaana 3:22-36

Yesu ne Yokaana Omubatiza

22 (A)Oluvannyuma lw’ebyo Yesu n’abayigirizwa be ne bajja mu nsi y’e Buyudaaya, n’abeera eyo nabo, era n’abatiza. 23 Mu kiseera ekyo ne Yokaana yali abatiriza mu Enoni okumpi ne Salimu, kubanga awo waaliwo amazzi mangi, era ng’abantu bangi bajja okubatizibwa, 24 (B)olwo nga tannateekebwa mu kkomera. 25 (C)Ne wabaawo empaka wakati w’abayigirizwa ba Yokaana n’Omuyudaaya ku nsonga ey’okutukuzibwa. 26 (D)Ne bajja eri Yokaana ne bamugamba nti, “Labbi, omuntu oli gwe wali naye emitala w’omugga Yoludaani, gwe wayogerako, laba abatiza era abantu bonna bagenda gy’ali.”

27 Yokaana n’abaddamu nti, “Omuntu tayinza kuba na kintu okuggyako nga kimuweereddwa okuva mu ggulu. 28 (E)Mmwe mwennyini mukimanyi bulungi nga bwe nabagamba nti, ‘Si nze Kristo.’ Nze natumibwa okumukulembera. 29 (F)Nannyini mugole ye awasizza, naye mukwano nnannyini mugole ayimirira ng’amuwulidde, era asanyukira nnyo eddoboozi ly’oyo awasizza. Noolwekyo essanyu lyange lituukiridde. 30 Kimugwanira ye okugulumizibwa naye nze okutoowazibwa.

31 (G)“Oyo ava mu ggulu, yafuga byonna. Ow’omu nsi, aba wa mu nsi, era ayogera bya mu nsi. 32 (H)Ye ategeeza ebyo bye yalaba ne bye yawulira, so tewali akkiriza by’ategeeza. 33 Naye oyo akkiriza by’ategeeza akakasa nti Katonda wa mazima. 34 (I)Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa. 35 (J)Kitaffe ayagala Omwana we era yamukwasa byonna mu mukono gwe. 36 (K)Oyo akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo, naye oyo atakkiriza Mwana, taliraba bulamu era Katonda amusunguwalira.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.