Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
20 (A)Mukama akwanukulenga ng’oli mu buzibu.
Erinnya lya Katonda wa Yakobo likukuumenga.
2 (B)Akuweerezenga obuyambi obuva mu kifo kye ekitukuvu;
akudduukirirenga okuva ku lusozi Sayuuni.
3 (C)Ajjukirenga ssaddaaka zo zonna z’omuwa,
era asiimenga ebiweebwayo byo ebyokebwa.
4 (D)Akuwenga omutima gwo bye gwetaaga,
era atuukirizenga by’oteekateeka byonna.
5 (E)Tulijaganya olw’obuwanguzi bwo,
ne tuwuuba ebendera zaffe mu linnya lya Katonda waffe.
Mukama akuwenga byonna by’omusaba.
6 (F)Kaakano ntegedde nga Mukama awanguza oyo gwe yafukako amafuta,
amwanukula ng’amuwa obuwanguzi n’omukono gwe ogwa ddyo,
ng’asinziira mu ggulu lye ettukuvu.
7 (G)Abamu beesiga amagaali, n’abalala beesiga embalaasi,
naye ffe twesiga erinnya lya Mukama Katonda waffe.
8 (H)Batalantuka ne bagwa wansi ne balemerawo,
naye ffe tugolokoka ne tuyimirira nga tuli banywevu.
9 (I)Ayi Mukama, lokola kabaka,
otwanukule bwe tukukoowoola.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
21 (J)Ayi Mukama, kabaka ajaguliza mu maanyi go.
Obuwanguzi bw’omuwadde nga bumuleetedde essanyu lingi!
2 (K)Omuwadde omutima gwe bye gwetaaga,
era buli ky’asabye n’akamwa ke tokimummye.
3 (L)Ddala ddala wamwaniriza n’emikisa gyo egijjudde ebirungi,
n’omutikkira engule eya zaabu omuka ennyo ku mutwe gwe.
4 (M)Yakusaba obulamu, era n’obumuwa,
ennaku ennyingi ez’emirembe n’emirembe.
5 (N)Obuwanguzi bwe wamuwa bumuleetedde ekitiibwa kinene.
Omuwadde ekitiibwa n’oyatiikirira.
6 (O)Ddala omuwadde emikisa gyo egy’olubeerera,
n’omujjuza essanyu ng’oli naye buli kiseera.
7 Kubanga kabaka yeesiga Mukama,
era olw’okwagala okutaggwaawo okw’oyo Ali Waggulu Ennyo,
kabaka tagenda kunyeenyezebwa.
8 (P)Omukono gwo guliwamba abalabe bo bonna;
omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo abakukyawa.
9 (Q)Bw’olirabika, Ayi Mukama,
olibasiriiza n’omuliro ng’ogw’omu kyoto ekyengeredde.
Mukama, ng’ajjudde obusungu, alibamira bonna,
era alibamalirawo ddala.
10 (R)Olizikiriza ezzadde lyabwe ku nsi,
n’abaana baabwe bonna n’obamalawo mu baana b’abantu.
11 (S)Newaakubadde nga bakusalira enkwe,
ne bateekateeka ebikolwa ebibi, kyokka tewali kye basobola kutuukiriza.
12 (T)Balikyuka ne bakudduka bwe baliraba
ng’obaleezeemu omutego gwo ogw’obusaale.
13 Ogulumizibwenga, Ayi Mukama, mu maanyi go.
Tunaayimbanga nga tutendereza obuyinza bwo.
Zabbuli ya Dawudi.
23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
2 (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
3 (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
4 (D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
Zabbuli ya Dawudi.
27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?
2 (B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
ne bagwa.
3 (C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
nnaabanga mugumu.
4 (D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
5 (E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
6 (F)Olwo ononnyimusanga
waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
7 (G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8 Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
9 (H)Tonneekweka,
so tonyiigira muweereza wo,
kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
era onkulembere mu kkubo lyo,
kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
okunkambuwalira.
17 Bwe waayitawo ebbanga, omwana wa nnamwandu n’alwala nnyo, obulwadde ne bweyongera okutuusa lwe yafa. 18 (A)Nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kiki ky’onnanga, omusajja wa Katonda? Wajja okunzijukiza ekibi kyange n’okutta omwana wange?”
19 Eriya n’amuddamu nti, “Mpa omwana wo.” N’amuggya mu kifuba kye, n’amusitula n’amutwala mu kisenge ekya waggulu[a] gye yabeeranga, n’amugalamiza ku kitanda kye. 20 N’akoowoola Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, ne nnamwandu ono gwe mbeera naye omuleeseko ekikangabwa kino, n’otta omwana we?” 21 (B)Eriya ne yeegololera ku mulenzi emirundi esatu, n’akaabira Mukama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Katonda wange, obulamu bw’omulenzi ono bukomewo nate!”
22 Mukama n’awulira okukaaba kwa Eriya, obulamu bw’omulenzi ne bumuddamu, era n’alama. 23 Awo Eriya n’asitula omwana n’amuserengesa okuva mu kisenge n’amuleeta mu nnyumba, n’amuwa nnyina, n’amugamba nti, “Laba mutabani wo mulamu!”
24 (C)Awo nnamwandu n’agamba Eriya nti, “Kaakano ntegedde ng’oli musajja wa Katonda, era n’ekigambo kya Mukama ekiva mu kamwa ko kiba kya mazima.”
1 (A)Nze, Omukadde, mpandiikira ggwe Gayo omwagalwa, gwe njagala mu mazima.
2 Munnange omwagalwa, nkusabira okole bulungi ebintu byonna era obeere mulamu mu mubiri, nga bw’oli mu mwoyo. 3 (B)Abooluganda bwe nabatuukako kya nsanyusa nnyo bwe bambuulira nti onyweredde mu mazima, era nti mw’otambulira. 4 (C)Tewali kindeetera ssanyu lisinga ng’eryo lye nfuna bwe mpulira nti abaana bange batambulira mu mazima.
5 (D)Omwagalwa, okola ekintu kya bwesigwa buli lw’okolera abooluganda ebirungi na ddala ababeera ku ŋŋendo ne bw’oba tobamanyi. 6 Baategeeza Ekkanisa omukwano gwe wabalaga awamu ne bye wabakolera. Kibeera kirungi singa obasiibuza ekirabo ekiba kisaanidde. 7 (E)Kubanga baatambulira mu linnya lya Mukama, nga tebakkiriza ebyo abatali bakkiriza bye baabawanga. 8 Noolwekyo ffe ffennyini, ffe tusaana okubalabirira tulyoke tufuuke bakozi bannaabwe mu mazima.
Diyotuleefe ne Demeteriyo
9 Nawandiikira Ekkanisa ku nsonga eyo, kyokka Diyotuleefe, olw’okwagala okwefuula omukulembeze tatwagala. 10 (F)Bwe ndijja ndibategeeza ebimu ku bintu by’akola, n’ebintu by’atwogerako ebitali birungi, era n’olulimi oluvuma lw’akozesa. Takoma ku kugaana kwaniriza abooluganda abatambuze kyokka, naye n’okulagira alagira abantu abalala nabo, baleme okubaaniriza era abo ababaaniriza agezaako okubagoba mu Kkanisa.
11 (G)Mukwano gwange, togobereranga kyakulabirako ekibi wabula eby’obutuukirivu. Gobereranga ebyo byokka by’olaba nga bya butuukirivu. Kirungi ojjukirenga nti abo abakola eby’obutuukirivu baba bakakasiza ddala nga bwe bali abaana ba Katonda; naye abakola ebitali bya butuukirivu balaga nga bwe bali ewala ne Katonda. 12 (H)Naye buli omu ayogera bya mazima ku Demeteriyo. Nange mwogerako bya mazima byereere. Naye omanyi nga nze njogera mazima.
13 Mbadde na bingi eby’okukugamba, kyokka saagala kubikuwandiikira mu bbaluwa, 14 (I)kubanga nsuubira okukulaba mu bbanga ttono. Kale olwo tuliba na bingi eby’okwogerako ffembi nga tulabaganye amaaso n’amaaso.
15 Emirembe gibeerenga naawe.
Ab’emikwano abali wano bakulamusizza. Nange, mikwano gyange abali eyo, buli omu munnamusize.
46 (A)Yesu n’akomawo mu Kaana eky’e Ggaliraaya, gye yafuulira amazzi wayini. Waaliyo omukungu wa gavumenti ow’e Kaperunawumu eyalina mutabani we nga mulwadde. 47 (B)Omukungu bwe yawulira nga Yesu avudde e Buyudaaya azze e Ggaliraaya, n’agenda gy’ali n’amusaba agende amuwonyeze mutabani we eyali okumpi n’okufa.
48 (C)Yesu n’amugamba nti, “Temusobola kunzikiriza nga temulabye ku bubonero na byamagero?”
49 Omukungu n’amugamba nti, “Mukama wange, nkusaba oserengete ojje ng’omwana wange tannafa!”
50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Ggenda mutabani wo awonye!” Omusajja n’akkiriza Yesu ky’amugambye n’agenda.
51 Naye bwe yali ng’akyali mu kkubo abaddu be ne bamusisinkana ne bamutegeeza nti mutabani we awonye. 52 N’ababuuza ekiseera omulenzi we yassuukidde. Ne bamuddamu nti, “Jjo olw’eggulo essaawa nga musanvu omusujja ne gumuwonako!”
53 (D)Awo Kitaawe w’omulenzi n’ajjukira nga ky’ekiseera ekyo Yesu we yamugambira nti, “Mutabani wo awonye.” Awo omukungu oyo n’ab’enju ye bonna ne bakkiriza.
54 (E)Kino kye kyamagero ekyokubiri Yesu kye yakola ng’akomyewo e Ggaliraaya ng’avudde e Buyudaaya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.