Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 30

Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.

30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
    kubanga wannyimusa;
    n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
(B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
    n’omponya.
(C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
    n’omponya ekinnya.

(D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
    mutendereze erinnya lye ettukuvu.
(E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
    naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
    essanyu ne lijja nga bukedde.

Bwe namala okunywera
    ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
(F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
    wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
    ne neeraliikirira.
Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
    ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
(G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
    ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
    n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
    Ayi Mukama, onnyambe.”

11 (H)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
    onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12 (I)Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.
    Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Zabbuli 32

Zabbuli ya Dawudi.

32 (A)Alina omukisa oyo
    asonyiyiddwa ebyonoono bye
    ekibi ne kiggyibwawo.
(B)Alina omukisa omuntu oyo
    Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
    ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

(C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
    ne nkogga,
    kubanga nasindanga olunaku lwonna.
(D)Wambonerezanga
    emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
    ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.

(E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
    ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
    “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
    n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

(F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
    bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
    ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
(G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
    ononkuumanga ne situukwako kabi
    era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

(H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
    nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
(I)Temubeeranga ng’embalaasi
    oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
    ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
    naye abeesiga Mukama bakuumirwa
    mu kwagala kwe okutaggwaawo.

11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
    era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

Zabbuli 42-43

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
    omponye eggwanga eritatya Katonda
    ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
(K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
    Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
    nga nnyigirizibwa omulabe?
(L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
    binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
    mu kifo mw’obeera.
(M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
    eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
    Ayi Katonda, Katonda wange.

(N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era Katonda wange.

Kaggayi 2:1-9

Ekitiibwa ekyasuubizibwa eky’Ennyumba Empya

Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti, “Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti, (A)‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu? (B)Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (C)‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’

(D)“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu. (E)Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. ‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bw’ayogera Mukama ow’eggye. (F)‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”

Okubikkulirwa 3:1-6

Ebbaluwa Eyawandiikirwa ab’omu Kkanisa ya Saadi

(A)(B) “Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti:

Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda n’emmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu. Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange. (C)Kale jjukira bye wayigirizibwa ne bye wawulira obikwate era weenenye. Bw’otegendereze ndijja mangu ng’omubbi, so tolimanya ssaawa gye ndijjiramu gy’oli.

(D)Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde. (E)Na buli awangula alyambazibwa engoye enjeru nga bali, era sirisangula linnya lye mu kitabo ky’obulamu, naye ndyatula erinnya lye mu maaso ga Kitange ne bamalayika be nti oyo muntu wange. (F)Alina amatu awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo.

Matayo 24:1-14

Ebikangabwa n’Omulembe Okuggwaako

24 Awo Yesu bwe yali ng’ava mu luggya lwa Yeekaalu, abayigirizwa be ne bajja w’ali okumulaga enzimba ya Yeekaalu, (A)naye n’abagamba nti, “Bino byonna temubiraba? Ddala ddala mbagamba nti tewaliba jjinja na limu eririsigala nga litudde ku linnaalyo eritalibetentebwa.”

(B)Awo Yesu bwe yali ng’atudde ku lusozi olwa Zeyituuni, abayigirizwa be ne bajja gy’ali ne bamubuuza mu kyama nti, “Ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akalitegeeza okujja kwo n’enkomerero y’ensi nti eri kumpi?”

Yesu n’abaddamu nti, “Temukkirizanga muntu yenna kubalimbalimba. (C)Kubanga bangi balijja mu linnya lyange nga bagamba nti, ‘Nze Kristo’, era balirimba bangi. Munaatera okuwulira entalo n’eŋŋambo z’entalo. Temwekanganga, kubanga ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. (D)Amawanga galirwana ne gannaago, n’obwakabaka bulirwana n’obwakabaka, era walibaawo enjala mu bifo bingi ne musisi aliyuuguumya ebifo bingi. Naye bino byonna biriba ntandikwa butandikwa ng’ey’okulumwa okuzaala.”

(E)“Muliweebwayo ne mubonyaabonyezebwa era ne muttibwa, era mulikyayibwa amawanga gonna olw’erinnya lyange. 10 Era bangi balisendebwasendebwa okukola ebibi, n’abalala baliryamu bannaabwe olukwe, n’abalala ne bakyawagana. 11 (F)Era bannabbi ab’obulimba bangi balijja ne bawubisa abantu bangi. 12 Olw’obujeemu okuyinga obungi, era bangi okwagala kwabwe kuliwola. 13 (G)Naye abo abaligumiikiriza okutuuka ku nkomerero be balirokolebwa. 14 (H)Era Enjiri ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi yonna, nga bwe bujulirwa eri amawanga gonna n’oluvannyuma enkomerero n’eryoka etuuka.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.