Book of Common Prayer
148 Mutendereze Mukama!
Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 (A)Mumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3 Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 (B)Tendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.
5 (C)Leka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 (D)Yabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.
7 (E)Mumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 (F)mmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 (G)mmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10 ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11 bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12 abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.
13 (H)Bitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 (I)Abantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.
Mutendereze Mukama.
149 (J)Mutendereze Mukama!
Muyimbire Mukama oluyimba oluggya,
mumutenderereze wamu n’ekibiina ky’abatukuvu.
2 (K)Isirayiri asanyukirenga eyamutonda;
n’abantu ba Sayuuni bajagulize Kabaka waabwe!
3 (L)Batenderezenga erinnya lye nga bwe bazina,
bamutenderezenga nga bwe bakuba ennanga n’ebitaasa.
4 (M)Kubanga Mukama asanyukira abantu be,
n’abawombeefu abawa engule ey’obulokozi.
5 (N)Abatuukirivu bajagulizenga mu kitiibwa kino;
bayimbire ku bitanda byabwe olw’essanyu.
6 (O)Batenderezenga Katonda waabwe,
bakwate ekitala eky’obwogi obubiri,
7 bawoolere eggwanga,
babonereze n’amawanga,
8 bateeke bakabaka baago mu njegere,
n’abakungu baago babasibe amagulu n’ebyuma,
9 (P)babasalire omusango ogwabawandiikirwa.
Kino kye kitiibwa ky’abatukuvu be bonna.
Mutendereze Mukama.
150 (Q)Mutendereze Mukama!
Mutendereze Katonda mu kifo kye ekitukuvu;
mumutenderereze ne mu ggulu lye ery’amaanyi.
2 (R)Mumutendereze olw’ebikolwa bye ebiraga amaanyi ge;
mumutendereze olw’obukulu bwe obusukkiridde.
3 (S)Mumutendereze n’eddoboozi ery’ekkondeere,
mumutendereze n’ennanga ey’enkoba n’endere.
4 (T)Mumutendereze n’ebitaasa n’amazina;
mumutendereze n’ebivuga eby’enkoba n’endere!
5 (U)Mumutendereze nga mukuba ebitaasa;
mumutendereze n’ebitaasa ebivuga ennyo!
6 (V)Buli ekissa omukka kitenderezenga Mukama!
Mutendereze Mukama.
114 (A)Isirayiri bwe yava mu Misiri,
abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;
2 Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,
Isirayiri n’afuuka amatwale ge.
3 (B)Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;
Omugga Yoludaani ne gudda emabega.
4 Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,
n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.
5 Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?
Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?
6 Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,
nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?
7 (C)Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,
mu maaso ga Katonda wa Yakobo,
8 (D)eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,
n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.
115 (E)Si ffe, Ayi Mukama, si ffe.
Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa,
olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2 (F)Lwaki amawanga gabuuza nti,
“Katonda waabwe ali ludda wa?”
3 (G)Katonda waffe ali mu ggulu;
akola buli ky’ayagala.
4 (H)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5 (I)Birina emimwa, naye tebyogera;
birina amaaso, naye tebiraba.
6 Birina amatu, naye tebiwulira;
birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7 Birina engalo, naye tebikwata;
birina ebigere, naye tebitambula;
ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8 abakozi ababikola,
n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9 Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 (J)Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama,
ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa.
Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa;
ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 (K)n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa,
Mukama anaabawanga omukisa.
14 (L)Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi,
mmwe n’abaana bammwe.
15 (M)Mukama, eyakola eggulu n’ensi,
abawe omukisa.
16 (N)Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama,
naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 (O)Abafu tebatendereza Mukama,
wadde abo abaserengeta emagombe.
18 (P)Naye ffe tunaatenderezanga Mukama,
okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
Mutendereze Mukama!
Mukama anenya abali mu Mirembe
6 (A)Zibasanze abo abateefiirayo mu Sayuuni,
n’abo abawulira emirembe ku lusozi lw’e Samaliya.
Mmwe abasajja abeekitiibwa ab’ensi enkulembeze,
abantu ba Isirayiri gye beeyuna.
2 (B)Mugende mulabe e Kalune;
muveeyo mulage mu Kamasi ekikulu,
ate era muserengete mu kibuga ky’Abafirisuuti eky’e Gaasi.
Basinga obwakabaka bwammwe obubiri?
Ensi yaabwe esinga eyammwe obunene?
3 (C)Mulindiriza olunaku olw’ekibi,
ate ne musembeza effugabbi.
4 (D)Mugalamira ku bitanda ebyakolebwa mu masanga
ne muwummulira mu ntebe ennyonvu
nga muvaabira ennyama y’endiga
n’ey’ennyana ensava.
5 (E)Mwekubira ennanga nga Dawudi bwe yakolanga,
ne muyiiya n’ennyimba ku bivuga.
6 (F)Mwekatankira wayini,
ne mwesiiga n’ebizigo ebirungi,
naye temukaabira kubonaabona kwa Yusufu.
7 Noolwekyo mmwe mulisooka okugenda mu buwaŋŋanguse.
Era embaga zammwe n’okwewummuza birikoma.
8 (G)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde, Mukama Katonda Ayinzabyonna agamba nti,
“Neetamiddwa amalala ga Yakobo,
nkyawa ebigo bye,
era nzija kuwaayo ekibuga
ne byonna ebikirimu eri abalabe baakyo.”
9 (H)Era singa ennyumba eneeba ekyalinawo abasajja ekkumi abasigaddewo, nabo balifa. 10 (I)Era singa ow’ekika akola ku by’okuziika, anaaba afulumya amagumba n’abuuza oba waliwo omuntu yenna eyeekwese munda mu nnyumba, oba alina gwe yeekwese naye, n’addamu nti, “Nedda,” olwo omuziisi anaamusirisa ng’agamba nti, “Sirika; tetwogera ku linnya lya Mukama.”
11 (J)Laba Mukama alagidde,
ennyumba ennene erimenyebwamenyebwa,
n’ennyumba entono erimenyebwamenyebwa.
12 (K)Kisoboka embalaasi okuddukira ku mayinja?
Waali wabaddewo abalima ku mayinja n’enkumbi ezisikibwa ente?
Naye obwenkanya mubufudde obutwa
n’ekibala eky’obutuukirivu ne mukifuula ekikaawa.
13 (L)Mwenyumiririza bwereere nti muli b’amaanyi olw’okuba nga mwawamba ekibuga Lodeba.
Mwogera nti, “Tetwawamba Kanayimu n’amaanyi gaffe?”
14 (M)Mukama Katonda ow’Eggye agamba nti,
“Ndibasindikira eggwanga libalumbe, mmwe ennyumba ya Isirayiri;
liribajooga ebbanga lyonna
okuva e Lebo Kamasi okutuuka mu kiwonvu kye Alaba.”
5 (A)Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera, 6 (B)ate ng’abo ababanyigiriza alibabonereza nga bwe kibagwanidde. 7 (C)Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi, 8 (D)mu muliro ogwaka, n’abonereza abo abatamanyi Katonda era abajeemera Enjiri ya Mukama waffe Yesu. 9 (E)Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge. 10 (F)Bw’alijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.
11 (G)Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi, 12 (H)erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.
Okuzaalibwa kwa Yokaana
57 Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. 58 Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.
59 (A)Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60 (B)Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”
61 Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”
62 (C)Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 63 (D)N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! 64 (E)Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. 65 (F)Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. 66 (G)Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
Oluyimba lwa Zaakaliya
67 (H)Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,
68 (I)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.