Book of Common Prayer
33 (A)Afuula emigga amalungu,
n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
34 (B)ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo
olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
35 (C)Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi,
n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
36 abalina enjala n’abateeka omwo,
ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
37 (D)ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu,
ne bakungula ebibala bingi.
38 (E)Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi;
n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.
39 (F)Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa
olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
40 (G)oyo anyooma n’abakungu,
n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
41 (H)Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona,
n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
42 (I)Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka;
naye abakola ebibi bo basirika busirisi.
43 (J)Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino
era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi.
108 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
2 Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
nzija kuyimba okukeesa obudde.
3 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
4 Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
5 (K)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
abo booyagala banunulibwe.
7 Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
“Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu,
era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
8 (L)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira;
ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
9 Mowaabu be baweereza bange abawulize;
ate Edomu be baddu bange;
Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”
10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11 (M)Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;
kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Zabbuli ya Dawudi.
33 (A)Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
2 (B)Mutendereze Mukama n’ennanga,
mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
3 (C)Mumuyimbire oluyimba oluggya;
musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.
4 (D)Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
mwesigwa mu buli ky’akola.
5 (E)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
6 (F)Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
7 Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
8 (G)Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
9 (H)kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
n’alagira n’eyimirira nga nywevu.
10 (I)Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11 (J)Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.
12 (K)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (L)Mukama asinziira mu ggulu
n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (M)asinziira mu kifo kye mw’abeera
n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (N)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
ne yeetegereza byonna bye bakola.
16 (O)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (P)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (Q)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (R)abawonya okufa,
era abawonya enjala.
Eggulu Epya n’Ensi Empya
17 (A)“Laba nditonda eggulu eriggya
n’ensi empya.
Ebintu eby’edda tebijja kujjukirwa
wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 (B)Naye musanyukire ekyo kye ntonda
mujaguze emirembe n’emirembe,
kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu
n’abantu baamu okuba okujaguza.
19 (C)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
tegaliddayo kuwulirwamu.
20 (D)“Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere
anaaberawo ennaku obunaku,
oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye;
oyo alifiira ku myaka ekikumi
alitwalibwa ng’omuvubuka obuvubuka.
Oyo atalituusa kikumi
abalibwe ng’eyakolimirwa.
21 (E)Balizimba ennyumba bazisulemu,
balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 (F)Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu,
tebalisimba ate omulala abirye.
Kubanga emyaka gy’emiti nga bwe giba
bwe gityo bwe giribeera emyaka gy’abantu bange.
Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa
emirimu gy’emikono gyabwe.
23 (G)Tebalikolera bwereere
oba okuzaala abaana ab’okugwa mu katyabaga,
kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa,
bo awamu n’ab’enda yaabwe.
24 (H)Nga tebanakoowoola ndibaddamu,
nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 (I)Omusege n’omwana gw’endiga biriire wamu,
era empologoma erye omuddo ng’ennume,
era ettaka libeere emmere y’omusota.
Tewaliba kulumya
wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
14 (A)“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu. 15 (B)Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.
16 (C)“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”
17 (D)Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.
18 (E)Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 (F)Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.
20 (G)Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”
Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!
21 (H)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.
Olugero lw’Omuddu Atasonyiwa
21 (A)Awo Peetero n’ajja n’abuuza Yesu nti, “Mukama wange, muganda wange bw’ansobyanga musonyiwanga emirundi emeka? Emirundi musanvu?”
22 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Sikugamba nti emirundi musanvu naye emirundi nsanvu emirundi musanvu.”
23 (C)Awo Yesu n’agamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa nga kabaka eyayagala okubala ebitabo bye eby’ensimbi, n’abaddu be. 24 Bwe yatandika okubikebera ne bamuleetera gw’abanja ettalanta[a] omutwalo gumu. 25 (D)Naye olw’okuba ng’omusajja teyalina nsimbi za kusasula bbanja eryo, mukama we kyeyava alagira batunde omusajja oyo ne mukazi we n’abaana be n’ebintu bye byonna ebbanja liggwe.
26 (E)“Naye omuddu oyo n’agwa wansi mu maaso ga mukama we, n’amwegayirira nti, ‘Ngumiikiriza, nzija kukusasula ebbanja lyonna.’
27 “Mukama we n’asaasira omuddu oyo n’amusonyiwa ebbanja lyonna!
28 “Omuddu oyo bwe yafuluma n’asanga munne gwe yali abanja eddinaali[b] kikumi, n’amugwa mu bulago nga bw’amugamba nti, ‘Ssasula kye nkubanja.’
29 “Naye munne n’agwa wansi, n’amwegayirira ng’agamba nti, ‘Ngumiikiriza, nnaakusasula.’
30 “Naye amubanja n’agaana okumuwuliriza, n’amuteeka mu kkomera akuumirwe omwo okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna. 31 Awo baddu banne bwe baakiraba ne banakuwala nnyo, ne bagenda bategeeza mukama we ebigambo bye balabye.
32 “Awo mukama we n’atumya omuddu gwe yali asonyiye n’amugamba nti, ‘Oli muddu mubi nnyo. Nakusonyiye ebbanja eryo lyonna, kubanga wanneegayiridde, 33 naye ggwe kyali tekikugwanira kusaasira muddu munno nga nange bwe nakusaasidde?’ 34 Mukama we kyeyava asunguwala nnyo, n’amukwasa abaserikale bamusse mu kkomera okutuusa lw’alisasula ebbanja lyonna.
35 (F)“Kale ne Kitange ali mu ggulu bw’atyo bw’alibakola singa mmwe abooluganda temusonyiwa okuva mu mitima gyammwe.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.