Book of Common Prayer
147 (A)Mutendereze Mukama!
Kubanga kirungi okutenderezanga Katonda waffe;
kubanga ajjudde ekisa, n’oluyimba olw’okumutenderezanga lumusaanira.
2 (B)Mukama azimba Yerusaalemi;
era akuŋŋaanya Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse.
3 Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
era ajjanjaba ebiwundu byabwe.
4 (C)Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
era buli emu n’agituuma erinnya.
5 (D)Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
n’okutegeera kwe tekuliiko kkomo.
6 (E)Mukama awanirira abawombeefu,
naye abakola ebibi abasuulira ddala wansi.
7 (F)Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
mumukubire entongooli ezivuga obulungi.
8 (G)Mukama abikka eggulu n’ebire,
ensi agitonnyeseza enkuba,
n’ameza omuddo ne gukula ku nsozi.
9 (H)Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
10 (I)Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
wadde mu magulu g’omuntu,
11 wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
era abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo.
12 Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
tendereza Katonda wo ggwe Sayuuni,
13 kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
n’abantu bo abasulamu n’abawa omukisa.
14 (J)Aleeta emirembe ku nsalo zo;
n’akukkusa eŋŋaano esinga obulungi.
15 (K)Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
ekigambo kye ne kibuna mangu.
16 (L)Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
n’omusulo ogukutte n’agusaasaanya ng’evvu.
17 Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
bw’aleeta obutiti ani ayinza okubusobola?
18 (M)Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
n’akunsa empewo, amazzi ne gakulukuta.
19 (N)Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
Isirayiri n’amanya amateeka ga Mukama n’ebiragiro bye.
20 (O)Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;
amawanga amalala tegamanyi mateeka ge.
Mutendereze Mukama!
Ebibala eby’Amakungula ag’Olubereberye
26 Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi, 2 (A)oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye. 3 Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.” 4 Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya Mukama Katonda wo. 5 (B)Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe[a] yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo. 6 (C)Naye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu. 7 (D)Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna. 8 (E)Bw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo. 9 (F)Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10 Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge. 11 (G)Kale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna.
26 (A)Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti munnoonya si lwa kubanga mwalaba obubonero, naye lwa kubanga mwalya emigaati ne mukkuta. 27 (B)Temukolerera mmere eggwaawo, wabula munoonye emmere ebeerera era etuusa mu bulamu obutaggwaawo, Omwana w’Omuntu gy’alibawa, kubanga Kitaawe w’Omwana amussizaako akabonero.”
28 Awo ne bamubuuza nti, “Tukole ki okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala?”
29 (C)Yesu n’abaddamu nti, “Katonda ky’ayagala mukole kwe kukkiriza oyo gwe yatuma.”
30 (D)Ne bamugamba nti, “Kale kabonero ki ggwe k’okola, tulabe tukukkirize? Onookola kabonero ki? 31 (E)Bajjajjaffe baalya emmaanu mu ddungu nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Yabawa emmere okuva mu ggulu balye.’ ”
32 Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eva mu ggulu, wabula Kitange ye yabawa emmere ey’amazima eva mu ggulu. 33 (F)Emmere ya Katonda ye eva mu ggulu, era ye awa ensi obulamu.”
34 (G)Ne bamugamba nti, “Mukama waffe, tuwenga emmere eyo buli lunaku.”
35 (H)Yesu n’abaddamu nti, “Nze mmere ey’obulamu. Ajja gye ndi enjala teriddayo kumuluma, era abo abanzikiriza tebaliddayo kulumwa nnyonta.
Oluyimba lwa Dawudi olw’okutendereza.
145 (A)Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
era nnaatenderezanga erinnya lyo buli lunaku emirembe n’emirembe.
2 (B)Nnaakutenderezanga buli lunaku;
era nnaasuutanga erinnya lyo emirembe n’emirembe.
3 (C)Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
n’obukulu bwe tebwogerekeka.
4 (D)Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
era gunaatendanga emirimu gyo egy’amaanyi.
5 (E)Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
era nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
6 (F)Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
nange nnaatendanga obukulu bwo obw’ekitiibwa.
7 (G)Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
era banaayimbanga olw’obutuukirivu bwo.
8 (H)Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
alwawo okusunguwala era ajudde okwagala okutaggwaawo.
9 (I)Mukama mulungi eri buli muntu,
era okusaasira kwe kubuna byonna bye yatonda.
10 (J)Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
n’abatukuvu bo banaakugulumizanga.
11 Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
era banaatendanga amaanyi go.
12 (K)Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
n’ekitiibwa ky’obukulu obw’obwakabaka bwo.
13 (L)Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
n’obufuzi bwo bwa mirembe na mirembe.
Mukama by’ayogera byonna bya bwesigwa,
n’ebikolwa bye bijjudde okusaasira.
14 (M)Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
era ayimusa bonna abagwa.
15 (N)Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
era bonna gw’obawa ebyokulya mu biseera byabyo.
16 (O)Oyanjuluza engalo zo,
ebiramu byonna n’obigabira bye byetaaga ne bikkuta.
17 Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
era ayagala byonna bye yatonda.
18 (P)Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
abo bonna abamukoowoola mu mazima.
19 (Q)Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
era awulira okukaaba kwabwe n’abawonya.
20 (R)Mukama akuuma bonna abamwagala,
naye abakola ebibi alibazikiriza.
21 (S)Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,
era na buli kitonde kinaatenderezanga erinnya lye ettukuvu
emirembe n’emirembe.
Ebiragiro Ebisembayo
12 (A)Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira, 13 (B)mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe. 14 (C)Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna. 15 (D)Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna. 16 (E)Musanyukenga ennaku zonna.
Musabenga
17 Musabenga obutayosa. 18 Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu. 19 (F)Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu, 20 (G)era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi, 21 (H)naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga. 22 Mwewalenga buli ngeri ya kibi.
23 (I)Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo. 24 (J)Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.