Book of Common Prayer
מ Meemu
97 (A)Amateeka go nga ngagala nnyo!
Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
98 (B)Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange,
kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna,
kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
100 (C)Ntegeera okusinga abakadde;
kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
101 (D)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
nsobole okugondera ekigambo kyo.
102 Sivudde ku mateeka go,
kubanga ggwe waganjigiriza.
103 (E)Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo!
Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
104 (F)Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera;
kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
נ Nuuni
105 (G)Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange,
era kye kimulisa ekkubo lyange.
106 (H)Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza
nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
107 Nnumizibwa nnyo;
nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
108 (I)Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa;
era onjigirize amateeka go.
109 (J)Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala,
naye seerabira mateeka go.
110 (K)Abakola ebibi banteze omutego,
naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna;
weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
112 (L)Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo
ennaku zonna ez’obulamu bwange.
ס Sameki
113 (M)Nkyawa abalina emitima egisagaasagana,
naye nze njagala amateeka go.
114 (N)Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange;
essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
115 (O)Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu,
mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
116 (P)Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu;
nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe,
era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo;
weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
119 (Q)Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro;
nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
120 (R)Nkankana nzenna nga nkutya,
era ntya amateeka go.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.
81 (A)Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;
muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!
2 (B)Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa
n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.
3 Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,
era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.
4 Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,
lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.
5 (C)Yaliteekera Yusufu,
Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;
gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.
6 (D)“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;
n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.
7 (E)Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,
nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;
ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.
8 (F)Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.
Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!
9 (G)Temubeeranga na katonda mulala,
wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.
10 (H)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu nsi y’e Misiri.
Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.
11 (I)“Naye abantu bange tebampuliriza;
Isirayiri teyaŋŋondera.
12 (J)Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,
okugoberera ebyo bye baagala.
13 (K)“Singa abantu bange bampuliriza;
singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,
14 (L)mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,
ne mbawangula.
15 Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;
ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.
16 (M)Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,
ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”
Zabbuli ya Asafu.
82 (N)Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,
ng’alamula bakatonda.
2 (O)Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,
nga musalira abanafu?
3 (P)Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;
abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.
4 Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;
mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.
5 (Q)Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.
Batambulira mu kizikiza;
emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.
6 (R)Njogedde nti, Muli bakatonda,
era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.
7 (S)“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;
muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”
8 (T)Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;
kubanga amawanga gonna gago.
73 (A)Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abayimbi, n’abamu ku bantu, abaaweerezanga mu yeekaalu, ne Isirayiri yenna, ne batereera mu bibuga byabwe.
Ezera Asoma Etteeka
Awo mu mwezi ogw’omusanvu, 8 1 (B)abantu bonna nga bassa kimu ne bakuŋŋaanira mu kifo ekigazi ekyali mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi. Ne bagamba Ezera omuwandiisi, okuleeta Ekitabo ky’Amateeka ga Musa, Mukama ge yalagira Isirayiri.
2 (C)Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’omusanvu, Ezera kabona n’aleeta Ekitabo ky’Amateeka mu maaso g’ekibiina ekyalimu abasajja n’abakazi n’abalala abaali basobola okutegeera. 3 (D)N’akisomera mu kifo ekigazi mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi mu ddoboozi ery’omwanguka, okuva ku makya okutuusa essaawa mukaaga ez’omu tuntu, mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abalala abasobola okutegeera. Abantu bonna ne batega amatu okuwulira ebyava mu Kitabo ky’Amateeka.
5 (A)Awo Ezera n’abikkula ekitabo, abantu bonna nga bamutunuulidde kubanga ekifo we yali ayimiridde kyali waggulu w’abantu bonna, era bwe yali ng’ayanjuluza ekitabo, abantu bonna ne bayimirira. 6 (B)Ezera ne yeebaza Mukama Katonda omukulu; abantu bonna ne bayimusa emikono gyabwe ne baddamu nti, “Amiina! Amiina!” Ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka ne basinza Mukama.
7 (C)Yesuwa, ne Baani, ne Serebiya, ne Yamini, ne Akkubu, ne Sabbesayi, ne Kodiya, ne Masseya, ne Kerita, ne Azaliya, ne Yozabadi, ne Kanani ne Peraya, Abaleevi ne bannyonnyola abantu Amateeka, abantu nga bayimiridde mu bifo byabwe. 8 Ne basoma mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda, nga bataputa, era nga bannyonnyola amakulu, abantu bategeere ebyasomebwa.
9 (D)Naye Nekkemiya owessaza, ne Ezera kabona era omuwandiisi, n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu, ne bagamba abantu bonna nti, “Olunaku lwa leero lutukuvu eri Mukama Katonda wammwe; temunakuwala so temukaaba.”
10 (E)Nekkemiya n’abagamba nti, “Mugende mulye ebyassava, munywe n’ebiwoomerera, muweerezeeko n’abo abatalina kye bateeseteese. Leero lunaku lutukuvu eri Mukama, temunakuwala, kubanga essanyu eriva eri Mukama ge maanyi gammwe.”
11 Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna, nga boogera nti, “Mubeere bakkakkamu kubanga leero lunaku lutukuvu. Temunakuwala.”
12 (F)Oluvannyuma abantu bonna ne beddirayo ewaabwe ne balya ne banywa ne baweerezaako ne bannaabwe abatalina kyakulya, era ne basanyuka nnyo, kubanga baategeera amakulu g’ebigambo ebyabategeezebwa.
13 Ku lunaku olwokubiri olw’omwezi ogwo, abakulu b’ennyumba awamu ne bakabona n’Abaleevi, ne bakuŋŋaanira eri Ezera omuwandiisi okusoma n’okutegeera ebigambo by’Amateeka. 14 Ne basanga mu byawandiikibwa mu Mateeka, Mukama ge yalagira Musa, nga Abayisirayiri baali bateekwa okusulanga mu weema mu biseera eby’embaga ey’omwezi ogw’omusanvu, 15 era nga kibagwanidde okubunyisa amawulire ago n’okulangirira mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi, nga boogera nti, “Mugende mu nsozi mukuŋŋaanye amatabi ag’emizeeyituuni n’ago ag’emizeeyituuni egy’omu nsiko, n’ag’emikadasi,[a] n’ag’enkindu, n’ag’emiti emirala egirina ebikoola ebingi okuzimba weema nga bwe kyawandiikibwa.”
16 (G)Awo abantu ne bagenda ne bagaleeta ne beezimbira weema, abamu ku busolya bwabwe, ne mu mpya zaabwe, ne mu luggya lw’ennyumba ya Katonda, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gw’Amazzi, ne mu kibangirizi okuliraana Omulyango gwa Efulayimu. 17 (H)Awo ekibiina kyonna ekyakomawo okuva mu buwaŋŋanguse, ne beezimbira weema ne babeera omwo; kubanga okuva mu biro bya Yesuwa[b] mutabani wa Nuuni okutuusa ku lunaku olwo, Abayisirayiri baali tebakwatanga kiseera ekyo bwe batyo. Ne basanyuka nnyo nnyini.
18 (I)Buli lunaku, Ezera n’asomanga mu Kitabo ky’Amateeka ga Katonda okuva ku lunaku olwasooka okutuusa ku lunaku olwasembayo. Ne bakwata embaga okumala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana, ne bakola olukuŋŋaana, ng’ekiragiro bwe kiri.
21 (A)Awo malayika omu ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene eriri ng’olubengo n’alisuula mu nnyanja nga bw’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Bwe kityo Babulooni,
ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi n’amaanyi,
era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
22 (B)Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi,
n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe.
Mu ggwe temulisangibwamu muweesi
wadde okuweesa okw’engeri yonna,
newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa
tekuliwulirwa mu ggwe.
23 (C)Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka
tekirirabikira mu ggwe nate,
kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna,
era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.
24 (D)Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi,
n’abo bonna abattibwa ku nsi.”
Yesu Aliisa Enkumi Ennya
29 Yesu n’avaayo n’ajja emitala okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alinnya ku lusozi n’atuula eyo. 30 (A)Abantu bangi ne bajja gy’ali, ne bamuleetera, abakoozimbye, n’abatayogera n’abalala bangi ne babassa we yali n’abawonya. 31 (B)Abantu bangi ne beewuunya, nga balaba ababadde batayogera nga boogera, n’ababadde bakoozimbye nga bawonye, n’ababadde abalema nga batambula, n’ababadde abazibe b’amaaso nga balaba. Ne bagulumiza Katonda wa Isirayiri.
32 (C)Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be n’abagamba nti, “Abantu bano mbasaasira, kubanga baakamala nange ennaku ssatu ate tebalina kyakulya. Ssaagala kubasiibula ne bagenda enjala, si kulwa nga bagwa ku kkubo.”
33 Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Wano mu ddungu tunaggya wa emigaati emingi gye tunaaliisa abantu abangi bwe bati?”
34 Yesu n’ababuuza nti, “Mulinawo emigaati emeka?” Ne bamuddamu nti, “Tulinawo emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono.”
35 Yesu n’alagira abantu bonna batuule wansi, 36 (D)n’addira emigaati omusanvu n’ebyennyanja, bwe yamala okwebaza, n’abimenyaamenyamu, n’awa abayigirizwa be ne batandika okugabula ekibiina. 37 (E)Buli muntu n’alya n’akkuta. Ne babukuŋŋaanya obutundutundu obwasigalawo ne bujjuza ebisero musanvu. 38 Abaalya baawera abasajja enkumi nnya nga totaddeeko bakazi na baana. 39 Awo Yesu n’asiibula ekibiina, n’asaabala mu lyato n’agenda mu nsalo y’e Magadani.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.