Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 61-62

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

61 (A)Wulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
    wulira okusaba kwange.

(B)Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
    omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
    Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
(C)Kubanga gw’oli kiddukiro kyange.
    Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.

(D)Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
    ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
(E)Kubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
    ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.

(F)Oyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
    emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
(G)alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
    Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.

(H)Ndyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
    nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

62 (I)Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
    oyo obulokozi bwange mwe buva.
(J)Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
    ye kye kigo kyange siinyeenyezebwenga n’akatono.

(K)Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
    mmwe mwenna okwagala okumusuula wansi
    ng’ekisenge ekyewunzise era ng’olukomera oluyuuguuma?
(L)Bateesa okumuggya
    mu kifo kye ekinywevu,
    basanyukira eby’obulimba.
Basaba omukisa n’emimwa gyabwe
    so nga munda bakolima.

Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
    kubanga mu ye mwe muli essuubi lyange.
Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
    ye kye kigo kyange, siinyeenyezebwenga.
(M)Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
    ye lwe lwazi lwange olw’amaanyi era kye kiddukiro kyange.
(N)Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
    mumutegeezenga byonna ebiri mu mitima gyammwe,
    kubanga Katonda kye kiddukiro kyaffe.

(O)Abaana b’abantu mukka bukka,
    abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere;
ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani,
    n’omukka gubasinga okuzitowa.
10 (P)Temwesigamanga ku bujoozi
    wadde ku bintu ebibbe.
Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga,
    era temubumalirangako mwoyo gwammwe.

11 Katonda ayogedde ekintu kimu,
    kyokka nze nziggyemu ebintu bibiri nti:
Katonda, oli w’amaanyi,
12     (Q)era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.
Ddala olisasula buli muntu
    ng’ebikolwa bye bwe biri.

Zabbuli 68

Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba lwa Dawudi.

68 (A)Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane,
    n’abo abamukyawa bamudduke.
(B)Ng’empewo bw’efuumuula omukka,
    naawe bafuumuule bw’otyo;
envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro,
    n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda!
(C)Naye abatuukirivu basanyuke
    bajagulize mu maaso ga Katonda,
    nga bajjudde essanyu.

(D)Muyimbire Katonda,
    muyimbe nga mutendereza erinnya lye;
mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire.
    Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge.
(E)Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu;
    ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu.
(F)Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu,
    aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza;
    naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala.

(G)Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo,
    n’obayisa mu ddungu,
(H)ensi yakankana,
    eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda;
n’olusozi Sinaayi ne lukankana
    awali Katonda, Katonda wa Isirayiri!
(I)Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda;
    ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera;
10 (J)abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda,
    abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
11 Mukama yalangirira;
    ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti:
12 (K)“Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe;
    abantu ne bagabana omunyago.
13 (L)Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu!
    Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa
    ebiwaawaatiro byalyo.”
14 (M)Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka,
    ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni.
15 Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani;
    ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani!
16 (N)Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi?
    Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako?
    Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna.
17 (O)Mukama ava ku lusozi Sinaayi
    nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi
    n’ajja mu kifo kye ekitukuvu.
18 (P)Bwe walinnyalinnya olusozi,
    ng’abanyage bakugoberera;
    abantu ne bakuwa ebirabo
nga ne bakyewaggula mwebali;
    bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo.
19 (Q)Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe,
    eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku.
20 (R)Katonda waffe ye Katonda alokola;
    era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
21 (S)Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be,
    kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe.
22 (T)Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani,
    ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja,
23 (U)mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe,
    n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.”

24 (V)Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda,
    balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu;
25 (W)abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega
    ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa.
26 (X)Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene;
    mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri.
27 (Y)Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde,
    ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda,
    n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali.

28 Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda,
    otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde.
29 (Z)Bakabaka balikuleetera ebirabo
    olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi.
30 (AA)Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu,
    eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga.
Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza.
    Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo.
31 (AB)Ababaka baliva e Misiri,
    ne Kuusi aligondera Katonda.

32 Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna.
    Mutendereze Mukama.
33 (AC)Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda,
    eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu.
34 (AD)Mulangirire obuyinza bwa Katonda,
    ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri;
    obuyinza bwe buli mu bire.
35 (AE)Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu.
    Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi.

Katonda atenderezebwe.

Nekkemiya 12:27-31

Okutukuza Bbugwe wa Yerusaalemi

27 (A)Awo okutukuza kwa bbugwe wa Yerusaalemi bwe kwatuuka, ne banoonya Abaleevi okuva gye baabeeranga, ne baleetebwa e Yerusaalemi okujaguza nga bwe bayimba n’okukuba ebitaasa n’entongooli n’ennanga. 28 (B)Abayimbi nabo ne bajja okuva mu bitundu ebyetoolodde Yerusaalemi, nga bava mu byalo by’Abanetofa, 29 n’okuva mu Besugirugaali, n’okuva mu bitundu by’e Geba n’e Azumavesi; abayimbi baali beefunidde ebyalo okwetooloola Yerusaalemi. 30 (C)Bakabona n’Abaleevi bwe baamala okwetukuza olw’emikolo egyo, ne balyoka batukuza abantu, n’emiryango ne bbugwe.

31 (D)Ne ndyoka ntwala abakulembeze ba Yuda waggulu ku bbugwe, ne ndagira n’ebibinja bibiri eby’abayimbi okwebaza. Ekimu kyalaga waggulu wa bbugwe ku mukono ogwa ddyo, n’ekirala ne kiraga ku Mulyango gw’Obusa.

Nekkemiya 12:42-47

42 Maaseya, ne Semaaya, ne Eriyazaali, ne Uzzi, ne Yekokanani, ne Malukiya, ne Eramu, ne Ezera nabo baaliwo. Abayimbi ne bayimba, Yekulakiya nga ye mukulu waabwe. 43 Ku lunaku olwo, ne bawaayo ssaddaaka nnyingi nnyo nnyini, nga batendereza kubanga Katonda yali abawadde essanyu lingi nnyo nnyini. Abakazi n’abaana nabo ne basanyukira wamu nabo, era okujaguza okwo mu Yerusaalemi ne kuwulirwa mu bifo eby’ewala.

44 (A)Mu kiseera ekyo, abantu ne balondebwa okulabiriranga amawanika omwaterekebwanga ebyaleetebwanga, nga mwe muli ebibala ebibereberye, ne kimu kya kkumi, nga bireetebwa okuva mu bibanja ebyetoolodde ebibuga, nga bwe kyalagibwa mu Mateeka, ne biweebwa bakabona n’Abaleevi. Yuda baali basanyufu olw’obuweereza bwa bakabona awamu n’obw’Abaleevi. 45 (B)Bakabona n’Abaleevi ne bakwata embaga ya Katonda waabwe era ne bagitukuza, n’abayimbi awamu n’abakuumi ba wankaaki nabo ne bakola bwe batyo, ng’ekiragiro kya Dawudi ne Sulemaani mutabani we bwe kyali. 46 (C)Mu biro eby’edda, mu biseera bya Dawudi ne Asafu, waabangawo abakulu b’abayimbi, ate nga waliwo n’ennyimba ezaayimbibwanga okutendereza Katonda. 47 (D)Noolwekyo mu biro bya Zerubbaberi ne mu biro bya Nekkemiya, Isirayiri kyeyava ewaayo ebibinja by’abayimbi n’abakuumi ba wankaaki. Ne balonda n’ekibinja ky’Abaleevi abalala, n’Abaleevi nabo ne balondayo ekibinja ekyava mu bazzukulu ba Alooni.

Okubikkulirwa 11

Abajulizi Ababiri

11 (A)Ne mpeebwa olumuli oluli ng’omuggo okupima ne ŋŋambibwa nti, “Golokoka opime Yeekaalu ya Katonda n’ekyoto n’abo abasinziza mu Yeekaalu. (B)Naye oluggya olw’ebweru lwo tolupima kubanga luweereddwayo eri amawanga, era balirinnyirira ekibuga ekitukuvu okumala emyezi amakumi ana mu ebiri (42). (C)Era ndiwa abajulirwa bange ababiri nga bambadde ebibukutu ne bawa obunnabbi okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga (1,260).” (D)Abajulirwa abo ababiri gy’emiti emizeeyituuni ebiri era ebikondo by’ettaala ebibiri, abayimirira mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna. (E)Omuntu yenna agezaako okubakolako akabi azikirizibwe n’omuliro oguva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe; era omuntu yenna bw’ayagala okubakolako akabi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa. (F)Balina obuyinza okuggalawo eggulu enkuba n’etetonnya mu nnaku ez’obunnabbi bwabwe, era balina n’obuyinza okufuula amazzi omusaayi n’okuleeta buli kubonaabona kwonna ku nsi buli lwe banaabanga baagadde.

(G)Bwe balimala okuwa obujulirwa bwabwe, ensolo enkambwe eva mu bunnya obutakoma erirangirira olutalo ebalwanyise, era ebatte n’okubawangula ebawangule. (H)Emirambo gyabwe girisigala mu nguudo z’ekibuga ekinene, Mukama waabwe mwe yakomererwa ku musaalaba; ekibuga ekiyitibwa “Sodomu” mu mwoyo oba ensi eya “Misiri” mu mwoyo (I)Era okumala ennaku ssatu n’ekitundu emirambo gyabwe girirabibwa abantu abamu n’ebika, n’ennimi, n’amawanga mu nguudo z’ekibuga. Tewali n’omu alikkirizibwa kubaziika. 10 (J)Era walibaawo okusanyuka ku nsi, abantu bonna nga bajaguza n’okuweerezagana ebirabo, n’okwekulisa bannabbi abo ababiri abaliba bafudde abaali bababonyaabonya ennyo.

11 (K)Naye oluvannyuma lw’ennaku essatu n’ekitundu omwoyo gw’obulamu oguva eri Katonda ne gubayingiramu ne bayimirira. Awo okutya kungi ne kujjira buli muntu yenna eyabalaba. 12 (L)Awo ne bawulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu ggulu nga ligamba nti, “Mulinnye mujje wano.” Ne balinnya mu kire okugenda mu ggulu ng’abalabe baabwe babalaba.

13 (M)Mu ssaawa eyo y’emu ne wabaawo musisi eyasuula ekitundu ekimu eky’ekkumi eky’ekibuga, era abantu kasanvu ne bafa. Abaawona baatya nnyo era ne bagulumiza Katonda ow’eggulu.

14 (N)Eky’entiisa ekyokubiri ne kiyita, naye ekyokusatu kijja mangu.

Ekkondeere ery’Omusanvu

15 (O)Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,

“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse
    bwa Mukama waffe ne Kristo we,
    era anaafuganga emirembe n’emirembe.”

16 (P)Awo abakadde amakumi abiri mu abana abaali batudde ku ntebe zaabwe ne bavuunama mu maaso ga Katonda ne bamusinza 17 (Q)nga bagamba nti,

“Tukwebaza, ayi Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    ggwe aliwo kati era eyaliwo,
kubanga weddizza obuyinza bwo obungi ennyo,
    Era ofuga.
18 (R)Amawanga gaakunyiigira,
    naye kaakano naawe ky’ekiseera kyo okubayiwako ekiruyi kyo
era ky’ekiseera okusalira abo abaafa omusango,
    n’okuwa empeera abaweereza bo bannabbi,
n’abatukuvu bo, n’abo abatya erinnya lyo
    abakulu n’abato,
n’okuzikiriza abo abaaleeta okuzikirira ku nsi.”

19 (S)Awo Yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n’eggulwawo, n’essanduuko ey’endagaano n’erabika mu Yeekaalu ye. Ne wabaawo okumyansa n’okubwatuka kw’eggulu n’omuzira omungi ogw’amaanyi era ensi yonna n’ekankanyizibwa musisi ow’amaanyi ennyo.

Matayo 13:44-52

44 (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa[a] mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.

45 (B)“Ate era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’omusuubuzi w’amayinja ag’omuwendo omungi eyali anoonya amayinja ag’omuwendo, 46 bwe yazuula ejjinja erimu ery’omuwendo n’agenda n’atunda bye yalina byonna n’aligula.

Olugero lw’Akatimba

47 (C)“Era obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana ng’akatimba akategebwa mu nnyanja ne kakwasa ebyennyanja ebya buli ngeri, 48 akatimba bwe kajjula ne bakawalulira ku lubalama ne balondamu ebirungi nga babikuŋŋaanyiza mu bisero, ebibi nga babisuula. 49 (D)Bwe kiriba bwe kityo ne ku nkomerero y’ensi, bamalayika balijja ne baawulamu abantu abatuukirivu n’ababi. 50 (E)Ababi balibasuula mu nkoomi y’omuliro eriba okukaaba n’okuluma obujiji.”

51 Yesu n’ababuuza nti, “Ebintu bino byonna mubitegedde?”

Ne bamuddamu nti, “Weewaawo.”

52 Kyeyava abagamba nti, “Noolwekyo omuwandiisi eyayiga obulungi amateeka g’Ekiyudaaya ate n’afuuka omuyigiriza w’obwakabaka obw’omu ggulu, ali ng’omusajja nnyini nnyumba, aggyayo mu tterekero lye ebipya n’ebikadde.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.