Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 40

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

40 (A)Nalindirira Mukama n’obugumiikiriza,
    n’antegera okutu, n’awulira okukoowoola kwange,
(B)n’anziggya mu kinnya eky’entiisa,
    n’annyinyulula mu bitosi,
n’anteeka ku lwazi olugumu
    kwe nyimiridde.
(C)Anjigirizza oluyimba oluggya,
    oluyimba olw’okutenderezanga Katonda waffe.
Bangi bino balibiraba ne batandika okutya Mukama
    n’okumwesiganga.

(D)Balina omukisa
    abo abeesiga Mukama,
abatagoberera ba malala
    abasinza bakatonda ab’obulimba.
(E)Ayi Mukama Katonda wange,
    otukoledde eby’ewunyisa bingi.
Ebintu by’otuteekeddeteekedde
    tewali ayinza kubikutegeeza.
Singa ngezaako okubittottola,
    sisobola kubimalayo byonna olw’obungi bwabyo.

(F)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
    Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
    Naye onzigudde amatu.
Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
    nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
(G)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
    kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.

(H)Ntegeeza obutuukirivu mu lukuŋŋaana olunene.
    Sisirika busirisi,
    nga naawe bw’omanyi, Ayi Mukama.
10 (I)Bye mmanyi ku butuukirivu bwo sisirika nabyo mu mutima gwange,
    naye ntegeeza ku bwesigwa bwo n’obulokozi bwo.
Abantu nga bakuŋŋaanye,
    sirema kubategeeza ku mazima go n’okwagala kwo okungi.

11 (J)Onsasirenga bulijjo, Ayi Mukama,
    amazima n’okwagala kwo byeyongerenga okunkuuma.
12 (K)Kubanga ebizibu bye siyinza na kubala binneetoolodde;
    ebibi byange binsukiridde, sikyasobola na kulaba;
bisinga enviiri ez’oku mutwe gwange obungi,
    mpweddemu amaanyi.
13 (L)Onsasire ayi Mukama ondokole;
    Ayi Mukama, oyanguwe okumbeera.

14 (M)Abo abaagala okunzita batabuketabuke baswale;
    n’abo bonna abagenderera okummalawo bagobebwe nga baswadde.
15 Abo abankubira akasonso baswazibwe nnyo.
16 (N)Naye abo abakunoonya basanyuke
    era bajaguze;
abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
    Mukama agulumizibwenga.”

17 (O)Ndi mwavu, eyeetaaga ennyo.
    Mukama ondowoozeeko.
Tolwawo, Ayi Katonda wange.
    Ggwe mubeezi wange era Omulokozi wange.

Zabbuli 54

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”

54 (A)Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,
    n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.
(B)Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,
    owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

(C)Abantu be simanyi bannumba;
    abantu abalina ettima abatatya Katonda;
    bannoonya okunzita.

(D)Laba, Katonda ye mubeezi wange,
    Mukama ye mukuumi wange.

(E)Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,
    obazikirize olw’obwesigwa bwo.

(F)Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;
    ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,
    kubanga ddungi.
(G)Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;
    era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.

Zabbuli 51

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.

51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
    ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
    nziggyaako ebyonoono byange byonna.
(B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
    ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

(C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
    era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
(D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
    ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
    era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
(E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
    kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
(F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
    Ompe amagezi munda ddala mu nze.

(G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
    onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
(H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
    amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
(I)Totunuulira bibi byange,
    era osangule ebyonoono byange byonna.

10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
    era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
    era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
    era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
    n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
    ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
    olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
    n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
    n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
    Omutima ogumenyese era oguboneredde,
    Ayi Katonda, toogugayenga.

18 (R)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
    Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (S)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
    ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
    n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.

Nekkemiya 2

Alutagizerugizi Aweereza Nekkemiya e Yerusaalemi

(A)Awo mu mwezi gwa Nisani mu mwaka ogw’amakumi abiri ku mulembe gwa Kabaka Alutagizerugizi[a], nga bamuleetedde wayini, ne nzirira wayini ne muwa kabaka. Nnali sinakuwalirangako mu maaso ge. Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ekikunakuwazizza otyo ng’omulwadde? Kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw’omu mutima.”

Ne ntya nnyo, (B)naye ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abeere omulamu emirembe gyonna. Lwaki sinakuwala ng’ekibuga bajjajjange gye baaziikibwa kizise, nga ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro?”

Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” Awo ne nsaba eri Katonda w’eggulu, n’oluvannyuma ne nziramu kabaka nti, “Kabaka bw’anasiima, era omuddu wo bw’anaalaba ekisa mu maaso go, ansindike ŋŋende mu Yuda, mu kibuga bajjajjange gye baaziikibwa, nkiddaabirize.”

(C)Awo kabaka, ne mukyala we ng’amuli ku lusegere, n’ambuuza nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku meka, era olidda ddi?” Kabaka n’asiima okuntuma, ne neegerera ekiseera.

(D)Ne nsaba kabaka nti, “Kabaka bw’anaasiima, awandiikire abaamasaza abali emitala w’omugga Fulaati ebbaluwa, ntambule mirembe okutuuka mu Yuda. (E)Ate era nsaba ebbaluwa gye nnaatwalira Asafu omukuumi w’ekibira kya kabaka, ampe emiti gye ndikolamu embaawo ez’okubajjamu enzigi za yeekaalu, n’eza wankaaki wa bbugwe w’ekibuga, n’ekifo we nnaabeeranga.” Olw’omukono gwa Katonda wange ogwali nange, kabaka n’ampa bye namusaba. (F)Awo ne ndaga eri abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati ne mbakwasa ebbaluwa eziva ewa kabaka. Kabaka yampa abakungu b’eggye n’abeebagala embalaasi okumperekerako.

10 (G)Naye Sanubalaati[b] Omukoloni ne Tobiya omukungu Omwamoni bwe baakiwulira, ne banyiiga nnyo bwe baamanya nga waliwo omuntu afuddeyo ku mbeera y’abaana ba Isirayiri.

Nekkemiya Alambula Bbugwe wa Yerusaalemi

11 (H)Ne ntuuka e Yerusaalemi, ne mbeerayo ennaku ssatu, 12 ne ngolokoka mu kiro ne ntambulatambula n’abamu ku basajja, naye ne sibuulira muntu n’omu ku ebyo Katonda wange bye yali atadde ku mutima gwange okukolera Yerusaalemi. Twagenda n’ensolo emu yokka gye nnali neebagadde.

13 (I)Ekiro ekyo ne mpita mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu[c] ne njolekera Oluzzi olw’Omusege, n’Omulyango ogw’Obusa,[d] ne ŋŋenda nga neetegereza bbugwe wa Yerusaalemi eyali amenyeddwa, ne wankaaki waakyo eyayokebwa omuliro. 14 (J)N’oluvannyuma ne neyongerayo eri Omulyango ogw’Oluzzi n’eri Ekidiba kya Kabaka, naye ensolo yange n’eteyinza kuyitawo. 15 Kyennava nserengeta mu kiwonvu ekiro nga ŋŋenda neetegereza bbugwe. Bwe namaliriza ne nkyuka ne nkomawo nga mpitira mu Mulyango ogw’omu Kiwonvu. 16 Abakungu tebaamanya gye nnali ndaze newaakubadde kye nnali nkola; era nnali sinnabuulirako Bayudaaya newaakubadde bakabona, newaakubadde abakungu newaakubadde abakulu, n’abalala abaali bateekwa okukola omulimu.

17 (K)Awo ne mbagamba nti, “Mulaba akabi ke tulimu; Yerusaalemi kizise, ne wankaaki waakyo ayokeddwa omuliro. Mujje tuddaabirize bbugwe wa Yerusaalemi tuve mu buswavu bwe tulimu.” 18 (L)Ne mbategeeza omukono gwa Katonda ogw’ekisa bye gwali gunkoledde, ne kabaka bye yaŋŋamba. Ne baddamu nti, “Tugolokoke tutandike okuzimba.”

Era ne batandika omulimu.

19 (M)Naye Sanubalaati Omukoloni, ne Tobiya omukungu Omwamoni ne Gesemu Omuwalabu bwe baakiwulira ne batunyooma n’okutusekerera ne batusekerera. Ne batubuuza nti, “Kiki kye mukola? Mwagala kujeemera kabaka?”

20 (N)Ne mbaddamu nti, “Katonda w’eggulu alituyamba okukituukiriza, era ffe abaddu be tulitandika okuzimba, naye mmwe temulina mugabo newaakubadde obusika newaakubadde ekijjukizo mu Yerusaalemi.”

Okubikkulirwa 6:12-7:4

12 (A)Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi. 13 (B)Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi, 14 (C)n’eggulu ne lyezingako ng’omuzingo gw’ekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.

15 (D)Bakabaka b’ensi, n’abafuzi ab’oku ntikko n’abantu abagagga, n’abakulu b’amaggye n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi z’ensozi. 16 (E)Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga. 17 (F)Kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”

144,000 bateekebwako Obubonero obw’Envumbo

(G)Oluvannyuma lw’ebyo, ne ndaba bamalayika bana nga bayimiridde ku njuyi ennya ez’ensi, nga bakutte empewo ennya ez’ensi zireme okukunta, waleme kubaawo mpewo ekunta ku nsi, wadde ku nnyanja wadde ku muti gwonna. Ne ndaba malayika omulala ng’ava ebuvanjuba ng’akutte akabonero k’envumbo aka Katonda omulamu, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba bamalayika abana abaali baweereddwa obuyinza okwonoona ensi n’ennyanja nti, (H)“Temukola kintu kyonna, ekinaayonoona ensi, n’ennyanja oba emiti, okutuusa nga tumaze okuteeka akabonero k’envumbo ka Katonda akakulu ku byenyi by’abaweereza ba Katonda waffe.” (I)Awo ne mpulira omuwendo gw’abo abaateekebwako akabonero k’envumbo nga baali emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya (144,000) okuva mu bika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri.

Matayo 13:24-30

24 (A)N’abagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye, 25 naye ekiro nga yeebase abasajja abalabe ne bajja ne basiga omuddo wakati mu ŋŋaano ye ne bagenda. 26 Naye eŋŋaano ennungi bwe yamera, n’omuddo ne gumerera wamu nayo.

27 “Naye abaddu b’omwami w’ennyumba bwe baamusemberera ne bamugamba nti, ‘Mukama waffe, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? Naye ate omuddo guvudde wa?’

28 “Ye n’abaddamu nti, ‘Omulabe ye yakola ekyo.’ Abaddu kyebaava bamubuuza nti, ‘Tugende tugukoolemu?’

29 “N’abaddamu nti, ‘Nedda, kubanga bwe munaaba mukuulamu omuddo mujja kukuuliramu n’eŋŋaano. 30 (B)Kale mubireke byonna bikulire wamu, okukungula bwe kulituuka ne ndyoka ndagira abakunguzi basooke bakuŋŋaanye omuddo bagusibeko n’oluvannyuma bagwokye, naye yo eŋŋaano bagikuŋŋaanyize mu tterekero lyange.’ ”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.